Amawulire
Taata afunyisizza omwana olubuto
Omuzadde abadde afuuse namunswa akwatiddwa Omusajja ono ategerekese nga Robert Kaye abadde asooberera muwala we n’amusobyaako ng’atuuse n’okumutikka ettu Omusajja ono yeeyasoose okuwaaba ku poliisi nti muwala we ali lubuto kyokka ng’omuwala ono amuwemukidde n’amusongamu nga bulijjo bw’amukozesa. Omwana ono takomye awo n’asonga mu musomesa […]
Enyanja etuze 9
Abantu 9 bafudde oluvanyuma lw’okugwa mu Nyanja . Bano beebamu kw’abo 16 ababidde mu Nyanja Nalubaale mu kitundu kye Kavu Nyanja mu gombolola ye Bussi . Omuwandiisi w’ekyalo kino Emmanuel Basaanya agamba bano baabadde bagenze kuvuba omuyaga ogwamanyi negubasena okuva ku maato gaabwe nebamira. Abantu […]
Aronda awera
Minister w’ensonga z’omunda omuggya Gen Aronda Nyakairima, aweze okufafagana ne bannabyabufuzi abakuba enkungaana mu nguudo, obutale n’ebifo ebirala ebitakirizibwa. Bw’abadde akwasibwa ebikola bya ofiisi olwaleero, asuubizza okukuuma eddembe ly’obuntu n’okuwuliriza eddoboozi ly’abangi. Ye Hillary Onek nga gw’adidde mu bigere amusabye okusooka okufa ku mbeera y’abakozi […]
Katemba nga bakansala bakunyizibwa
Abadde katemba mu kakiiko akatekebaawo okuwulira okwemulugunya kwa ba kansala 17 abagala okuggya obwesige mu lord mayor wa kampala Erias Lukwago. Lord mayor yeyasoose okwekandaga nava awatula akakiiko kano oluvanyuma lw’okuganibwa okuyingira munda. Banamateeka ba Lukwago bagenze maaso n’okusoya bakansala abasoosewo ebibuuzo era kansala Hope […]
Tutujja kupondoka-basomesa
Abasomesa balayidde obutasirisa ku maloboozi agasaba nti omusaala gwaabwe gwongezebwe Kiddiridde ababaka mu kibiina kya NRM okusisinkana nebakkiriziganya nti omusaala gwakusigala nga gwegumu Wansi w’ekibiina ekibagatta ekya UNATU, abasomesa bagambanti ekya gavumenti okubamalamu amaanyi nti tewali nsimbi tekigenda kubaggya ku mulamwa Ssabawandiisi w’ekibiina kino James […]
Mukomye enjawukana-Katikkiro
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga asabye abaganda okukola nyo, okuyitimula ekitiibwa kya Buganda. Katikkiro bino abyogedde ng’asisinkanye abantu okuva mu ssaza lye Kyaggwe, Buwekula, ne Kyadondo abakiise embuga. Abe kyagwe bawaddeyo bukadde,32 ate abe Buwekula obukadde 2 okuddukirira omulimu gw’okuzimba amasiro. Katikiro era abasabye […]
Abaagudde ku kabenje bakyaali bubi
Abantu bataano kw’abo abaagudde ku kabenje e Masanafu basiibuddwa 28 bakyaali mu mbeera mbi. Omwogezi w’eddwaliro lye Mulago, Enock Kusaasira agamba nti abali obubi bamenyese nnyo Omu ku bano ye conductor wa coaster eyamenyese amagulu gombi Gwetwogeddeko naye Moses Muganga agamba nti coaster eno yabadde […]
Omwana agudde mu muliro
Omwana ow’omwezi ogumu agudde mu sigiri n’aggya omutwe gwonna. Nyina w’omwana ono kigambibwa okuba ng’aliko obulwadde obumulumba nebumukuba wansi era nga ku luno bumusudde mu sigiri Omukyala ono mutuuze we Kasubi ng’omwana omulenzi gw’asudde mu sigiri akyajjanjabibwa mu ddwaliro e Mulago. Kitaawe womwana ono mu […]
Eyayiridde munne Acid akwatiddwa
Poliisi e Mukono kyaddaki ekutte omusajja eyayiiridde munne acid Badru Kawuki ono kigambibwa okuba nga yalumbye Siraje Ssenyonjo mu dduuka lye n’amuyiira acid yenna Mukyala wa senyonjo ali ku kitanda agamba nti entabwe yavudde ku kakadde kamu omusajja ono ke yewola ku bba ng’abadde azimubanja […]
Ogwa Taxi gugobeddwa
Omusango ogwawaabwa ba dereeva ba takisi nga bawakanya omusolo ogwassibwaawo aba KCCA, gugobeddwa. Omulamuzi wa kkoti enkulu Benjamin Kabiito abagambye nti baakolamu ensobi mu kuwaaba omusango guno bwe baawaabira KCCA , mu kifo kya minista eyakola ekiragiro. Ba Dereeva bawaaba mu kkooti nga bawakanya omusolo […]