Amawulire
Omusajja asse mukyala we
Omusajja asse mukyala we. Goefrey Konde y’akubye mukyala we Ruth Nagawa emiggo egimusse oluvanyuma lw’okufuna obutakaanya. Abafumbo ababairi bano batuuze ne Ngobere Kagaba . Omusajja ono okutta mukyala we efunye olugambo nga mukyala we bw’abadde alinayo omusajja omulala. Akulira okunonyereza ku poliisi […]
Babawadde obutwa
Omuntu omu afudde abanu b’omu maka gamu bwebategedwa obutwa. Abantu bataano beebalidde obutwa buno ng’abana bali ku bitanda bapooca. Bino bibadde ku kyaalo Bajjo mu district ye Mukono. Afudde mwana way aka 9 ye Eva Kisakye ng’abadde muyizi ku Mukono Junior school. […]
Abaana 20 bafudde
Mu India abaana 20 bafudde n’abalala nkuyanja bali mu mbeera mbi oluvanyuma lw’okulya emmere erimu obutwa. Bino bigudde mu buvanjuba bwa India mu kitundu ekiyitibwa Bihar mu ssomero lya gavumenti eriri ku kyalo Marakh mu District y’e Saran. Akaiiko kassiddwawo okunoonyereza mu kyavuddeko embetezi. Gavumenti […]
Ebivudde mu kukebera emirambo bifulumye
Ebyava mu kukebera obunyama n’omusaayi gw’abantu ababiri abafiira mu muliro gwe Namungoona mu nkola ya DNA bifulumye . Bano beebamu ku 29 abafirawo mu muliro oluvanyuma lw’ekimotoka ky’amafuta okukwata omuliro naye nokutuusa kati babadde bakyabuliddwaako abaabwe. Omusawo wa police eyekebejja emirambo Dr Moses Byaruhanga, agamba […]
Entalo mu Owino tezinaggwa
Sentebe w’akatale ka owino Geoffrey Kayongo wakunonyerezebwako ku bigambibwa nti yalagira abasuubuzi abamuwakanya okukubwa, n’okuwa aba police enguzi . Bino by’ebimu ebiri mu alipoota y’akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’obwa president akatekebwaawo okunonyereza ku mivuyo egiri mu katale ka S.t Balikudembe abangi ke bayita […]
Poliisi ekugidde abasiraamu
Police erinye eggere mu nteekateka z’ekabinja ky’abasiramu b’omuzikiti gwa SPIDIKA wali mu kisenyi ababadde beesomye okulumba omugagga Bosco Muwonge eyagula ettaka okuli omuzikiti gwaabwe. Abaddu ba Allah bano, Muwonge bamulanga kwekobana n’abamu kubakulembeze baabwe n’agula ettaka lino obuwumbi bubiri nekitundu. Police ng’ekulembeddwamu aduumira police yo […]
Tujja kuyingiza kifuba
Abagoba ba taxi baweze okuyingira paaka ya tax empya ekyali mu kuddabiriza ku kifuba nga omwezi guno guweddeko. Kino kiddiridde akulira ekibuga Jeniffer Musisi okwongezayo okugulwawo kwa paaka eno mu mwezi gw’ekumi okubadde okw’omwezi guno Kino kyavudde kukukyusa plan ya paaka eno nga kati yakuberako […]
Paaka empya ssiyakuggwa kati
Okuddabiriza paaka empya kwakutwala ekiseera kiwanvu ko okusinga nga bwekyaali kisubirwa. Paaka eno yalina okugulwawo omweezi guno wabula nsalasale ayongezeddwayo okutuusa omwezi gw’ekumi. Akulira ekibuga Jeniffer Musisi agamba bongzayo olw’okukyuusa pulaani ya paaka eno ,nga kati yakutekebwako emyaliriro egy’enjawulo okusuubirwa okubeera zi banka, plice […]
Omuliro gukutte ekisulo ky’abayizi
Omuliro gukutte ekisulo ky’esomero essomero lya St Joseph Senior Secondary School, e Villa Maria, mu district ye Kalungu negusanyawo bya bukadde. Omuliro guno gwatandise ku sawa nga biri ezekiro nga abayizi bali mu bibiina basoma negusanyawo ebintu byabayizi abasoba mu 65, Amyuka omukulu w’esomero […]
Omupoliisi bamusse
Omupoliisi abadde mu kikwekweto ekubiddwa amasasi. Geoefry Sekajigo ng’ono akolera ku poliisi ye Kireka Abazigu ababadde bagenze okubba mu supermarket beebamukubye amasasi. Mukyala we agamba nti babadde ne bba ewaka nebabakubira essimu nga waliwo abazigu balumbye supermarket emanyiddw anga Star era nga yasitukiddemu. […]