Bya Damalie Mukhaye
Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National examination board kitegezezza nti abayizi abaliko obulemu, nabembuto abagenda okukola P7 bagenda kubongeramu edakiika 45.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire, Ssabawandiisi wa UNEB Daniel Odongo agambye nti abayizi 1,599 bebawandisibwa nga baliko bulemu, nga betaaga obuyambi obwenjawulo.
Kino agambye nti kyakukolebwa kubanga embeera yaabwe ssi nnungi bwogerageranya ku banaabwe abalala.
Olwlaeero wabaddewo…
Bya Ritah Kemigisa
Omumyuka w’omukubiriza wa palamenti Jacob Oulanyah ayanukudde, sipiika Rebecca Kadaga eyamulumiriza obunafu nokwebulankanya ku mirimu.
Bweyali atongoz kampeyini ze ku kifo naye ekyomukubiriza wa palamenti, Kadaga yayanukula ku byogerwa nti abadde tawa Oulanya mukisa nga kyekyamuvirako okutwala omwaka mulamba nga takubiriza ntuula za palamenti.
Kadaga yategeeza nti Oulanya amwekubyeko enfunda eziwerako, ngamutegeeza nti taliiwo agenda…
Bya Ruth Anderah
Ekitongole kyebyengudo mu gwanga, Uganda National Roads Authority bakiwawabidde mu mbuga.
Waliwo omusubuzi abatutte mu mbuga ngayagala kumuliyirira obuwumbi 2 nobukadde 100 nga yoomu ku bakosebwa mu polojekiti yokukola oluguudo lwa Kira-Matugga.
Ettaka mwebayisa oluguudo lisangibwa ku block 185, plot 967 a Namugongo ku luguudo oluva e Kira okudda e Kasangati.
John Mugisha mu mpaaba gyeyatadde mu…
Bya Ruth Anderah
Munnamwulire wa Ghetto TV Ashraf Kasirye, ajjeeyo omusango gweyali yawawabira gavumenti mwabadde ayagalira okumuliyirirra, olwokumutusaako obuvune nokwonoona ebikozesebwa bye.
Omulamuzi wa kooti enkulu Esta Nambayo akitegeddeko okuyita mu munnamateeka wa Kasirye, John Mpambale nti eyali yawaaba alai mu mbeera mbi nnyo etabasobozesa kugenda mu maaso nomusango.
Kati omuwaabi wa gavumenti Allan Mukama naye takiwakanyizza, omulamuzi…
Bya Benjamin Jumbe
Abadde omubaka we gwanga lya China, Zheng Zhuqiang tenderezza nokusiima minisitule yensonga ze bweru we gwanga saako gavumenti ya kuno olwenkolagana ennungi, muobozesezza okuvaamu ebibala bwabadde akola emirimu gye.
Amb. Zheng amaze kuno emyaka 4, nga gyaweddeko agenda kusitula okudda ku butaka.
Buno bwebubaka bwawadde minisita omubeezi owensonga ze bweru we gwanga Henry Okello Oryem,…
Bya Ritah Kemigisa
Minisitule yebyobulamu etegezezza nti egenda kutandika okukiriza ebitongole abayingiza mu gwanga, eddagala erigema ssenyiga omukambwe COVID-19 okugema abakozi baabwe.
Bweyabadde anyonyola ku ntekateeka yokugema bwetamabula, minisita webyobulamu Dr Jane Ruth Aceng yagambye nti okusalwo bwebati kidirirdde okusaba okwenjawulo okubadde kujja gyebali ku nsonga eno.
Wabula minisita agambye nti eddagala erigenda okuyingira mu gwanga, lijja kuba…
Bya Ivan Ssenabulya
Abakulembeze bkibiina ekivuganya gavumenti, mu ttundtundu lya Greater Mukono mu kibiina ky National Unity Platform (NUP) balangirirdde okwekalakaasa okwemirembe, nga kwakuberawo wiiki ejja.
Bwebabadde bogera ne bannamwulire ku wogfiisi zekibiina e Mukono, omukwanaganya wemirimu nga ye mubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze agambye nti mu kwekalakaasa kuno, baakubanja abeyokwerinda bayimbule abawagizi baabwe abazze…
Bya Malikh Fahad
Ekitongole kye ddagala mu gwanga, National Drug Authority baliko obulwaliro 73 bwebagadde e Masaka nga babadde bakola nga tebalina layisinsi.
Kino kidirirdde ekikwekweto ekikoleddwa mu disitulikiti ezikola obwagagavu bwe Msaaka okubadde Kalungu, Masaka, Sembabule, Bukomansimbi ne Kyotera.
Ku bulwaliro obutonotono 207, bwebalambudde bazudde nga 73 tebatekeddwa kukola.
Kyomukama Samuel akulira ebyokukwasisa amateeka mu NDA, agambye 184…
Bya Benjamin Jumbe
Ab’ekigaana abakola obusubuzi obwokumutimbagano, E- Trade Association bakubidde gavumenti omulanga eggulewo Facebook nokudirirza ku budde bwa kafwi.
Bwabadde ayogera ne bannamawulire mu Kampala ssenkulu wa kampuni ya Jumia Uganda Ron Kawamara agambye nti okuva omukutu gwa Facebook lwegwajibwako, nabakola obuguzi nobutunzi ku mitimbagano bakosebwa.
Kino agambye nti kyakugira abantu bangi era bakendeera, ngasabye nti wakiri…
Bya Juliet Nalwooga
Abantu 3 abateberezebwa okuba nti bebali emabega wobutemu obwakolebwa ku mpologoma 6, mu kkumiro lyebisolo erya Queen Elizabeth National Park mu disitulikiti ye Kanungu baleteddwa ku kitebbe kyaba mbega e Kibuli, mu Kampala.
Omwogezi wa poliisi mu gwanga Fred Enanga agambye nti abakwate kuliko Vincent Timuhirwe owemyaka 48, Robert Ariho owemyaka 40 ne David…