Bya Charity Akullo
Omugatte abayizi 845 bandiremererwa okukola ebigezo ebyakamalirizo ebeykyomusanvu, ku bayizi 6,149 abewandiisa mu distulikiti ye Lira.
Ebigezo bya PLE bigenda kutandika wiiki ejja nga 30 March ate bikomekerzebwe enkeera waalwo nga 31 March 2021.
Kati okusinziira kumusasi waffe mu kitundu kino, ebibalo biraga nti abayizi 6,149 bebanadiisa okutuula mu bifo ebikolerwamu ebigezo 110 wabula amsomero…
Bya Elizabeth Kamurungi
Abamu ku babaka ba palamenti balumirizza minisita webyensimbo Matia Kasiaja, okuwabya omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni olwokuwabula kweyakoze, ngamusaba obutateeka mukono ku bbago erye nnongosereza mu tteeka lyekitavvu kyabakozi, erye NSSF Amendment Bill.
Amawulire gawandiise nti Kasaija yawandikira omukulembeze we gwanga namuwabula, obutateeka mukono ku bbago lino eryayisi bwa palamenti gyebuvuddeko.
Kati obuwayiro obuliko…
Bya Gertrude Mutyaba
Kooti ento e Masaka esindise Patience Wimana ow’emyaka 23 mu kkomera yeebakeyo emyaka 2 ku misango gy’okutulugunya omwana we ow’emyaka 5.
Omulamuzi wa kooti e Masaka Christine Nantege asingisizza Wimana omusango gw’okutulugunya mutabani we Alvin Ssebandeke oluvannyuma lw’okukkiriza omusango guno.
Omuvunanwa mutuuze ku kyalo Byuma mu gombolola ye Kyazanga mu district ye Lwengo, kigambibwa nti…
File Photo: Abakyala nga baali mukibinja
Bya Benjamin Jumbe,
Gavt esabiddwa okwongera ensimbi muntekateeka esobozesa buli muntu okuba n’obwannayini ku ttaka.
Kino kidiridde alipoota efulumizidwa ekibiina kya
Oxfam okulaga nti oluvanyuma lwa gavt okuvaayo ne ntekateeka egaba satifiketi eraga obwannanyini kuttaka, abakyala abalina ettaka tebakyanyigirizibwanyo.
Alipoota eraze nti bukya ntekateka eno ebagibwawo omuwendo gwa bakyala abawambibwako ettaka lyabwe gukendedde okuva…
Bya Prossy Kisakye,
Ababaka ba palamenti abatuula ku kakiiko kakola kunsonga zómukago gwa East African Community banenyeza bannabyabufuzi abali ku ludda oluvuganya gavt mu ggwanga erya Tanzania olwokudda ku mikutu gya social media ne bogerera omugenzi John Pombe Magufuli amafukuule.
Kino kidiridde bannabyabufuzi bano okwogerera abadde omukulembeze wensi yabwe nga bwabadde nnakyemalirira era nga emyaka etaano gyamaze…
Bya Ndaye Moses,
Gavt esabye abakozi baayo okukopa bannekolera gyange mungeri gye badukanyamu emirimu gyabwe ngessira baliteeka nyo ku bavubuka
Okusinzira ku minister owebyensimbi Matia Kasaijja, abakozi ba gavt balemererwa okuteeka munkola pulojekiti za gavt kuba bagayaavu
Bino abyogedde bwabadde mu kutongoza entekateeka eyenkulakula eya bannekolera gyange ngentambulidde wansi womulamwa ogugamba nti okwanjala entekateeka ya gavt eye nkulakulana…
Bya Ruth Anderah
Kooti enkulu ewoza emisango gyamaka etaddewo olunnaku olwanga 26 March 2021 okulamula wa munnamateeka, Bob Kasango wanazikibwa.
Omulamuzi Lydia Mugambe yataddewo olunnaku luno, oluvanyua lwokuwuliriza omusango guno.
Omusango guno gwawaabwa kizibwe namwandu Nice Kasango Bitarabeho ayagala eyali kabiite we bamuziike mu disitulikiti ye Kabalore, maama w’omugenzi Rosie Kabise naboluganda abalala kyebawakanya.
Namwandu Nice Kasango, nga mujulizi…
Bya Ivan Ssenabulya
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga ayambalidde omumyuka we Jacob Oulanya, bwebali mu lwokaano ku kifo kya sipiika mu palamenti emmpya eye 11.
Bwabadde atongoza kampeyini ze, Kadaga agambye nti Oulanya enfuna eziwera ayolesezza obunafu lubogye nokwebulankanya ku mirmu gye.
Bino webijidde nga waliwo okwemulugunya lwaki Oulanya yatwala omwaka mulamb nga takubirizza palamenti, nokuwanuuza nti Kdaga…
Bya BenjaminJumbe ne Ritah Kemigisa
Gavumenti esabiddwa okulowooza ku baliko ababaka ba palamenti okubawaayo ettu.
Bwebabadde mu kukubaganya ebirowoozo, okwejukanya ku mirimu gya palamenti eyawezezza emyaka 100, omubaka wa Bunyole West James Waluswaka agambye nti ababaka abakiika wakati wa 1986 ne1996 wetwogerera nga bakadde nnyo era abasing bawangaliira mu bwavu bubafumukakao nga vvu.
Agambye nti waliwo obwetaavu kino…
Bya Damalie Mukhaye
Ettendekero ekkulu mu gwanga, Makerere University bongezaayo amatytikira agomulundi ogwe 71 agabadde gagenda okuberawo mu May, okusooka okuleka omukolo gwokulayiza omukulembeze we gwanga guyite.
Guno gwemuylundi ogwokubiri, nga Makerere bongezaayo amattikira gano.
Bano baali balangiridde amattikira okuberawo mu March wakati wa 16 ne 19 wabula nebongezaayo mu May wakati wa 10 ne 14 kubanga ebigezo…