Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Aba NUP basabidde bannauganda abawambibwa

Bya Prossy Kisakye, Senkagale wékibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi alambalidde bannadiini bagamba nti besulideyo gwannagamba ku butali bwenkanya obugenda mu maaso mu ggwanga. Bino Kyagulanyi abyogeredde ku mukolo ogwokusabira abantu bonna abawambibwa mu biseera byokulonda nga nokutuusa kati tebamanyidwako mayitire , nabo abali mu malwarilo oluvanyuma lwokutulugunyizibwa teberabiddwa. Abamu kubawambibwa ne batebwa baliko bye bogedde Kyagulanyi wano…

Read More

Aba ANT sibakuwagira Mayambala okutwala omusango gwa Kyagulanyi

Bya Prossy Kisakye, Eyakulira tiimu eyanonya akalulu ka Gen Mugisha Muntu, owa Alliance for National Transformation omubaka omukyala owe Kasese Winnie Kiiza, agamba nti bbo tebasobola kuwagira Willy Mayambala okutwala omusango gwe byokulonda ogwaloopya munna NUP Robert Kyagulanyi. Kino kidiridde Mayambala okulaga obwagazi bwokutwala omusango guno oluvanyuma lwa Kyagulanyi okubigyamu enta nga agamba nti tasuubira bwenkanya kuva…

Read More

Abóbuyinza e Jinja bakugema abasomesa bonna ekirwadde kya covid

Bya Abubaker Kirunda, Ab'obuyinza mu kibuga e Jinja batandise okuwandiika abasomesa bonna, okusobola okubagema Covid-19 wakati mu kwetegekera okuggulawo amasomero. Akulira eby'enjigiriza mu kibuga kino Amina Mutesi agamebye nti okuwandiisa kuno kukwata ku masomero ga gavumenti nobwananyini. Abasomesa bennyini batekeddwa okujjayo empapula zokwewandiisa, ku wofiisi zebyenjigiriza. Okuwandiisa kuno kugenda kubeera kwa bwerere, nga bwakugemebwa ku ddagala lya gavumenti. Wabula n’okutuusa…

Read More

Museveni alabudde abakuuma ddembe

Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze wegwanga Yoweri Museveni ayisizza ebiragiro eri abasirikale ba poliisi, bye balina okugoberera nga bakola emirmu gyabwe naddala mu kukakanya obujagalalo. Abakuutidde nti batekeddwa okujjukira nobukugu obubasomesebwa mu kutendekebwa. Bwabadde asisinkanye abasirikale ba poliisi mu maka gobwa pulezidenti Entebbe amakya ga leero, omukulembeze weggwanga nga ye muddumizi webitongole ebikuuma ddembe ow’okuntikko, abafalasidde okweyisa obulungi. Bino webijidde…

Read More

Ssentebe afudde ekibwatukira

Bya Ivan Ssenabulya, Entiisa ebutikidde abatuuze mu division ye Goma e Mukono, ssentebe wabavubuka mu muluka gwe Nantabulirwa Agnes Babirye owemyaka 29 abadde yakalondebwa ku kaadi ya NRM bwafudde ekibwatukira. Kitegezeddwa nti ono aumbiddwa omutwe ogwamaanyi, nga gwegumuviriddeko okufa. Omugenzi era yabadde ssentebe wabavubuka ku kyalo Kiwanga e Kasokoso, nga mu kiseera kyekimu yabadde omuwanika wa SACCO yabavubuka…

Read More

Kkooti ewabudde Mayambala ku musango gwa Kyagulanyi

Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekiramuzi kiwabudde eyavuganya kubukulembeze bwe ggwanga Eng Willy Mayambala,okuteekayo eokusaba mu butongole okuyita mu bannamateeka okusobola okwediza omusango gwe byokulonda senkagale we kibiina ki NUP Robert Kyagulanyi gweyasudewo. Mu bbaluwa Mayambala gyeyawandikidde kkooti ensukulumu olunaku lweggulo, yawakanyiza ekya Kyagulanyi okugyayo omusango oguwakanya obuwanguzi bwamunna NRM Yoweri Museveni mu kulonda okwaliwo nga 14th January. Yasabye…

Read More

Abakosebwa olwa SGR e Mukono bawadde gavumenti emyezi 4 okubaiyirirra

Abatuuze 136 ku kyalo Kigombya mu district ye Mukono abalina ettaka nebibanja, awagenda okuyita, oluguudo lw egwaali yomukka olwa Standard Gauge Railway bawadde gavumenti emyezi 4 okuba nga basasudwa, bwekinagaana baaakuddamu okukozesa ettaka lyabwe. Bano bagamba oluvanyuma lwabakunga okuva mu SGR mu 2016 okulambula ebitundu byabwe, tebadda onga babategeza nti buli kimu kyebabadde bakolera mu bifo bakiveeko. Mu…

Read More

Abavunanwa 11 mu musango gwa Maj Kiggundu babajerezza

Bya Ruth Anderah Ssabawaabi wa gavumenti Jane Frances Abodo aliko abantu 11 bajeeko emisango gyobutujju, abaali bakwatibwa ku butemu obwakolebwa ku Major Muhammad Kiggundu. Bano kuliko Abdulaziz Abdushakur Musoke, Sulaiman Wayaba, Bashir Nyangisho, Abdallah Katata Byansi, Sulait Majid Lukwago, Fikil Yusuf Alqaeda Abasi, Abubaker Katende, Lukia Namulondo, Malik Senabulya, Yasin Galiwango Kagwa, Usama Aula Mugozi ne Asuman…

Read More

Abakazi abatunda amagumba g’ebyenyanja babakutte

Bya Juliet Nalwoga Poliisi e Kabale eriko abakazi 6 begalidde, nga kigambibwa nti babaddenga batunda emmere atenga baliko ebirala byebajitabuddemu. Bano babakutte okuva mu katale ka Kabale central market, nga poliisi egamba nti babasanze nebyenyanja ebisiike nga babisizeeko ebintu ebiralala. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kye Kigezi, Elly Maate agambye nti abakzi bano bwebakanyizza bakirizza nti babaddenga basiiga…

Read More

Omubaka Fungaroo y’ekubidde enduulu obulamu bwe buli mu matiga

Bya Benjamin Jumbe, Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga alagidde ssabapoliisi okuwa obukuumi omubaka wa Obongi county Kaps Hasan Fungaroo. Kino kidiridde omubaka ono okwekubira enduulu mu palamenti nga agamba nti amaze ebbanga nga alina abantu abamuwondera buli wadda naye nga batambulira mu motoka za bebyokwerinda eza drone. Fungaroo anyonyodde nti ye ne famile ye bali mu kutya…

Read More