Bya Juliet Nalwoga
Poliisi mu distulikiti ye Zombo etandise okunonyereza, kungeri omwana owemyaka 4 gyeatiddwamu.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya West Nile, Josephine Angucia agambye nti omugenzi ye Lajua Afoyorwoth, ngabadde muwala wa Shamim Ozele owemyaka 30 omutuuze ku kyalo Awangkwa mu tawuni kanso ye Padea e Zombo.
Kigambibwa nti omukyala ono, yalese abaana babiri nga bebase, wabula…
Bya Ritah Kemigisa
Egwanga lya America, lilabudde okukaliga Uganda, naddala ku bakungu ssekinoomu abavunayizbwa ku bikolwa ebityoboola eddembe lyobuntu nebiralala ebirumira, ebyetobeka mu kulonda kwa bonna okuwedde.
Omwogezi wkeitongole ekikola ku nsonga ze gwanga lino namawanga amalala, Ned Price agambye nti okulonda kwanga 14 January 2021 kwalimu ebikolwa ebitayogerekeka, okwali okutyoboola eddembe lyobuntu nokukozesa obubi wofiisi naddala…
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu distulikiti ye Sembabule eriko omusajja gwekutte, ng kigambibw nti yasse mukazi we ngamulanga obwenzi.
Omukwate ye Barugira Yampindi nga mutuuze ku kyalo Kyamabogo mu gombolola ye Kawanda e Sembabule.
Ono abadde aliira ku nsiko okumala wiiki namba, nga kigambibwa nti yadduka oluvanyuma lwokutta kabiite we Josephine Mukankobano gwabaddenga obwenzi, okuganza omusajja omulala songa babadde…
File photo: Ababaka ba Palimenti
Bya Ivan Ssenabulya,
Omukubiriza wólukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga ayongezayo okukubaganya ebirowoozo ku bbago lye tteeka erirubirira okukola ennongosereza mu ssemateeka erya Constitutional Amendment Bill 2020, okutuusa olunaku lwenkya.
Kino kidiridde palamenti okubugumirira ababaka bwebabadde bateesa ku bbago lino eryaleetebwa omubaka wa Ndorwa East, Wilfred Nuwagaba, nga muno mwemuli okyokuzaawo ekkomo ku bisanja…
Bya Mbogo Sadat,
Ekikangabwa kigudde mu town y'e Mpigi omukuumi wa yafeesi z'ekitongole kya Umeme bw'atemyetemye muganziwe n'amutta.
Jacob Kule, 28 omukuumi ne kampuni eya Ultimate Security Limited y'atemyetemye Sharon Amollo, 24 ng'ono kigambibwa yavudde mu district y'e Oyam ku kyalo Odyeyo okujja okulaba ku bba.
Kigambibwa nti bandibanga baafunye obutakkanya Sharon n'atemwako emikono ebiri ogumu negusuulibwa ku…
Bya Damali Mukhaye ne Ivan Ssenabulya,
Ekibiina omwegatira abasomesa abaana abato ki Early Childhood Development Association kidukidde ewa sipiika wa palamenti Rebecca Kadaga nga bemulugunya kukya gavt okuggala amasomero ga nasale.
Pulezidenti wekibiina kino, Manuela Mulondo, agambye nti okunonyereza kulaga nti akawuka ka corona tekatambuliranyo mu baana abato kati ngokubaggala kyakubalumya bulumya.
Mu kubanukula Kadaga asuubiza okwanja ensonga…
Bya Prossy Kisakye,
Abatandisi bamasomero ag’obwannanyini mu ggwanga wansi wékibiina kyabwe ki Proprietors of Private Educational Institutions’ Association in Uganda, bakkiriziganyiza okuggulawo amasomero nga gavumenti bweyalagira yadde nga babadde bakomba kwerima nti sibakugagula singa gavt tekola ku byetaago byabwe.
Omukulembeze weggwanga yali yabasuubiza okubawa obusse 2 nekitundu basobole okwedabulula engeri gye bakosebwa ekirwadde kya covid-19 ezitabaweebwanga na…
File Photo : ssabalamuzi Alfonse Owiny Dollo
Bya Ruth Anderah,
Ssabalamuzi Alfonse Owinyi Dollo agaanye okuva mu kuwulira omusango gwe bye kulonda ogwawabwa senkagale we kibiina ki NUP Robert Kyagulanyi mwawakanyiza obuwanguzi bwa president Museveni mu kulonda okwaliwo nge nnaku zomwezi January 14th January.
Ono agamba nti okwemulugunya okumusaba okuva mu musango guno tekulina nsa
Kino kidiridde munnamateeka Male…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kye byóbufuzi ki Democratic Party kitendereza munnakibiina ki NUP era ngayavuganya kubwa pulezidenti mu kulonda okwakagwa, Robert Kyagulanyi okugyayo omusango mu kkooti oguwakanya obuwanguzi bwa Museveni kuba gubadde gwakumala biseera.
Kyagulanyi okuyita mu bannamteekabe yali yaddukira mu kkooti nga awakanya ebyava mu kulonda okuwedde.
Wabula olunaku lweggulo Kyagulanyi yalagidde omusango guvve mu kkoti kuba…
Bya Gertrude Mutyaba
Ab’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Kalungu baliko ente zebakutte ezisoba mu 20, nga kigambibwa nti babadde baziggye mu gwanga lya Tanzania, songa eno balangirirayo kalantini.
Akuliddemu ekikwekweto kino Barnabus Rugyenda okuva mu ministule yebisolo agambye, nti ente ezikwatiddwa ziriko obulambe bwe Tanzania.
Rugyenda wano wasinzidde naakukkulumira abasawo b’ebisolo okumala gagaba mabaluwa nga tebamaze kwekenenya nte.
Ye nannyini…