Bya Ritah Kemigisa
Eyavuganya ku bukulembeze bwe gwanga, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine alagidde bannamateeka be okujjayo omusango mu kooti ensukulumu, gwabadde yawaaba oguwakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni owa NRM, ku kisanja ekyomukaaga.
Kyagulanyi abadde ayagala kooti esazeemu okulondebwa kwa Museveni, ngagamba nti okulonda kwa bonna okwaliwo nga 14 January kwalimu…
Bya Juliet Nalwoga
Poliisi mu disitulikiti ye Rukiga etandise okunonyereza kungeri omusajja owemyaka 62, gyeyatiddwamu.
Omugenzi ye Frank Byarugaba ngabadde ssentebbe ku kyalo Kagorogoro mu muluka gwe Nyakasiru mu gombolola ye Bukinda.
Kigambibwa nti waliwo ekibinja kyabavubuka abamutemyetemye, okutuusa lweyasizza ogwenkomerero.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Maate agambye ntoi omugenzi aliko akabaala keyaenzeemu, okusatulula abavubuka ababadde…
Bya Daily Monitor
Omugatte obujulizi bwabantu 238 bwebugenda okubeera mu musango gwakulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi mwawakanyiriza okulondebwa kwa Yoweri Museveni, ku kisanja ekyomukaaga.
Kati olwaleero Daily monitor eriko emboozi eyenjawulo gyewandiise, ekwata ku musano guno.
Kati Museveni ataddeyo okwewozaako 185 songa Kyagulanyi yaleeta obujulizi bwabantu 53 bokka, obusigadde babugoba bwebwatusibwa mu kooti kikerezi.
Mu musango guno Bobi…
Bya Ritah Kemigisa
Abessiga eddamuzi beganye byebayis obulimba, ebibogerwako nti Ssabalamuzi we gwanga Alfonso Owinny Dollo, ne banne basisinkana omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni mu maka gobwa pulezidenti Entebbe, mu biseera byebimu ebyomusango gwa Robert Kyagulanyi oguwakanya okulondebwa kwa Museveni.
Amawulire ku mutimbagano gaze gasasana, nga galaga nti ensisisnkano eyekyama yaliwo, songa nabasirikale absomola ebifanayi bya Dollo…
Bya Ivan Ssenabulya
Zzi gavumenti nabantu abakwatibwako, basabiddwa okutumbula ennimi enzaliranwa okubeera n’ekintabuli.
Basabidwa okukubiriza abaana okukozesa ennimi zaabwe enzaliranwa, ku masomero, awaka nemu bitundu awamu gyebabeera.
Omulanga gukubiddwa Audrey Azoulay, tsenkulu wekitongole kya UNESCO, ku lunnaku luno ngensi yonna ekuza olunnaku lwe nnimi enzaliranwa oba International Mother Language Day.
Ono agambye nti kikulu nnyo mu kiseera kino, kubanga…
Bya Musasi waffe
Abamu ku bantu abkosebwa, mu kubumbulukuka kwe ttaka e Bududa, nebabsengula okubatwala e Bunambutye mu disitulikiti ye Bulambuli badduse mu myumba gaabwe lwa njala.
Amaka agasoba mu 240 omuli abantu 4,000 okuva e Bududa ne dstulikiti za Bugisu endala, kinajjukirwa nti basengulwa mu 2019 ne 2020.
Omwetoloolo ogusooka gwaliwo mu May wa 2019 ate abalala…
Bya Benjamin Jumbe,
Akakiiko ke byokulonda kagamba nti bonna abavuganya ku bubaka bwa palamenti mu kulonda akwakagwa ne batakkiriziganya ne byavamu baddembe okugenda mu mbuga za mateeka bafune obwenkanya.
Kino kidiridde okutongoza ababaka abayitamu okukiika mu palamenti eyómulundi ogwe 11.
Mu kwogerako ne lediyo eno, akolanga omwogezi wákakiiko ké byókulonda Paul Bukenya,agambye nti kino kye kiseera bonna abatamatira…
Bya Abubaker Kirunda,
Omusajja atemera mu gyóbukulu 52 awonedde watono okugajambulwa abatuuze ababadde batamye obugo oluvanyuma lwókumusanga lubona nga yerigomba ne muka mutabaniwe.
Bino bibadde ku kyalo Nakawoizaa mugombolola ye Buyanga mu disitulikiti eyé Bugweri
Ono atasiddwa ssentebe wékitundu Tibiita Kitaita, anyonyodde nti ssemaka asangibwa mu kikolwa ne mukazi wa mutabaniwe.
Ono bamusikasikanye okumugya munju nga ali bute, abatuuze…
Bya Prossy Kisakye,
Bannaminisita abavunanyizibwa ku by'amateeka mu mukago gwa Commonwealth basabye wabeewo okukwatira awamu okulaba nti eddagala erigema ekirwadde kya ssenyiga omukambwe lituuka ku buli muntu
Bino byatukidwako mu lukungana lwe babademu okuyita ku mutimbgano okukubaganya ebirowoozo ku butya ekirwadde kya ssenyiga omukambwe gye kyakosamu enfuga eya mateeka, obwenkanya ne ngeri gye kyakugiramu abantu okutuusibwako enzijanjaba…
Bya Ivan Ssenabulya,
Ekibiina omwegatira bannyini masomero agobwannanyini ki Federation of Non-State Education Institutions, kiwagidde entekateeka ya minisitule eye byenjigiriza obutassa bubonero okwókuyisiza abayizi abagenda okukola ebigezo ebyakamalirizo.
Olunaku lweggulo ekitongole ekivunanyizibwa okutegeka ebigezo bya bayizi ekya UNEB kyafulumiza time table erambika ddi ebibuuzo webitandika.
Abayizi be kyomusanvu bakukola ebigezo nga 30th -31st March 2021, aba siniya 4…