Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abagambibwa okuba ababbi bémotoka 2 bakwatibwa

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu Kampala eriko abantu babiri ababadde begumbulidde omuzze ogwókubba emotoka mu bitundu bya Kampala ne miririrano betadeko obunyogoga. Omwogezi wékitongole kya poliisi ekinonyereza ku buzzi bwemisango Charles Twiine, atubuulidde nti abakwate kuliko s Joseph Wambi ne Farouk Nsereko. Okunonyereza okwakafunikawo kulaga nti ababiri bano ne banaabwe abalala abatanakwatibwa babadde bapangisa emotoka oluvanyuma ne baziguza…

Read More

Obwakabaka bwa Buganda buvudeyo kuttaka lya CMS Kisosonkole

File Photo: Katikiiro wa Buganda Bya Shamim Nateebwa  Obwakabaka bwa Buganda buwakanyiza ekiwandiko ekyafulumiziddwa ekitongole kya Kampala District Land Board, nga kiraga nti ettaka lyé Kyambogo Link mu division ye Nakawa, teririna bwanannyini era nti yéririnako obuyinza, nga ne government eyawakati eri munteekateeka zókulyeddiza. Obwakabaka bwa Buganda butegezeza nga ebiwandiko ebyafulumiziddwa kumikutu gya mawulire bya bulimba, kubanga ettaka…

Read More

Okusaba kwa Kyagulanyi kugobeddwa omulundi ogwo 2

Bya Ruth Anderah, Kkooti ensukulumu omulundi ogwokubiri egaanye okusaba kwa kulira ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi aka Bobi wine mwabadde ayagalira ayongerweyo akadde ka lunaku lumu aleete obujjulizi obulala obusoba mu 200 mu musango  mwawakanyiza obuwanguzi bwa Pulezidenti M7 mu kulonda okwaliwo omwezi oguwedde. Kino kidiridde akawungeezi ka leero enjuyi zombi okuwaaya okusaba kwabwe mu bujjuvu. Bannamateeka ba…

Read More

Ssabalamuzi agaanye ebya Kyagulanyi okubatiisatiisa

Bya Ruth Anderah, Ssalabamuzi Alfonse Owiny-Dollo agamba nti abalamuzi ba kkooti ensukulumu sibakutiisibwatiisibwa bigambo bya senkagale wa NUP Robert Kyagulanyi, aka Bobi Wine wakati mu kuwulira omusango gwe mwawakanyiza obuwanguzi bwa pulezidenti Museveni mu kulonda okwaliwo nga January 14 polls. Ono agambye nti ebigambo byonna ebyogerebwa wabweru wa kkooti tebirina kakwate na musango guno Dollo bino abyogedde ayanukula…

Read More

Buganda evudeyo kubyókukuba bannamawulire

Bya Shamim Nateebwa, Obwakabaka bwa Buganda bwegasse ku bantu abalala okuvumirira obukambwe bwa bakuuma ddembe bwe bolesa ku bannamawulire. Kino kidiridde abakuuma ddembe okuwewenyula bannamawulire abaali bagenze okusaka amawulire nga senkagale wekibiina ki NUP, Robert kyagulanyi atwala ekiwandiiko ekikwata ku kutyoboola eddembe lyóbuntu mu ggwanga eri abekibiina kyámawanga amagatte. Mu kwogerako ne bannamawulire omumyuka wa katikiro ow’okubiri owek.…

Read More

UNEB efulumizza tayimu ttebo z’ebigezo bya 2020

Bya Juliet Nalwoga Ekitongole kyebigezo mu gwanga, Uganda National Examinations Board kifulumizza timetable, ezigenda okugobererwa mu kukola ebigezo byakamalirizo ebyomwaka 2020. Kuno kuliko ebigezo byakamalirizo ebya ebyekyomusanvu oba PLE, ebya S4 ebya Uganda Certificate of Education ne Uganda Advanced Certificate of Education ebya S6. PLE waakutandika nga 30 akomekerezebwe enkeera waalwo nga 31 March 2021, ebya S4 byakutandika…

Read More

Bannamawulire tebamatidde nebya kooti yamagye

Bya Benjamin Jumbe Ekitongole ekirera eddembe lyabanamawulire, Human Rights Network for Journalists Uganda bagamba nti ssi bamaivu nebiboerezo ebyawereddwa abajaasi abakuba banamwulire. Kooti yamagye eya wansi, olunnaku olwe ggulo yasingsizza abajaasi 7, emisango gyokweyisa mungeri etagwanidde nokwolesa obukambwe ku bantu babulijjo, era nebaweebwa ebibonerezo wakati wemyaka 60 ku 90. Bannamwulire bano babakuba emikuza nyana, nabamu bakyanyiga biwundu bwebaali…

Read More

Okuwulira okusaba kwa Bobi okuleeta obujulizi obulala kwa leero

Bya Anthony Wesaka Kooti ensukulumu olwaleero egenda kuwlira okusaba kwa Robert Kyagulanyi Ssentamu, amanyiddwa nga Bobi Wine, mwayagalira bamwongere olunnaku olulala alumu okwongra okuleeta obujulizi bwe obwali bugobeddwa. Kyagulanyi yaddukira mu kootti okuwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna, okwaliwo nga 14 Janauary ebyateeka Yoweri Museveni mu buwanguzi okukulembera Uganda ekisanja ekyomukaaga. Olunnaku lwe ggulo kooti yalaze nti okusaba…

Read More

Laddu esse omwana e Mityana

Laddu ekubye omwana n'afirawo, nomuntu omulala naddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka. Omugenzi ye Moses Mwanje owemyaka 16 ngabadde mutabani wa Faridah Nansukusa ne Musaasizi Peter abatuuze b'e Kituntu mu district y'e Mpigi. Ono abadde muyizi ku ssomero lya Kituntu UMEA mu kibiina ekyomusanvu nga laddu emukubye mu ttuntu, enkuba bw'abadde alembeka amazzi mu nkuba. Mu mbeera yeemu, laddu…

Read More

Gavumenti eyagala kwewola obuwumbi 286 okuzaawo ebibira

Bya Damalie Mukhaye Minisitule yobutonde bwensi namazzi esabye palamenti ebaweolukusa, okwewol obuwumbi 286 okuva mu banka yensi yonna, okuzaawo ebibira ebisanyiziddwawo mu Uganda. Bwabadde atekayo okusaba kuno mu kakaiiko ka palamenti akebyenfuna bye gwanga minisita avunayizbwa ku kutegekera egwanga David Bahati agambye nti awamu polojkiti eno yakuwementa obukadde bwa $ 178 nemitwalo 20, nga bwebuwumbi bwa silingi…

Read More