Bya Ritah Kemigisa
Olwaleero lwerunnaku olwokusiiga evvu, oba Ash Wednesday oluggulawo ekisiibo eri abakulisitaayo.
Wabula olwaleero olunnaku luno lutukidde mu biseera byobulwadde bwa ssenyiog omukambwe covid-19.
Okusinziira ku Monsignor Gerard Kalumba, akulira kkereziya ya Christ the King mu Kampala, bagenda kukikola mungeri yanjawulo ku mulund iguno.
Agambye nti evvu bagenda kulimansira ku mitwe, okusobola okwewa amabanga agalagirwa abebyobulamu.
Abawereza ba…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni avumiridde ettemu ku bantu baulijjo, abatalina wadde ekyokulwanyisa.
Agambye nti kino kibeera kikolwa kyabutitizi na bunafu.
Bino abyogeredde ku mikolo gyolunnaku lweyali Ssabalabirizi Janani Luwum olwomulundi ogwa 44.
Agambye nti kyali kikyamu pulezidenti Idi Amin okutta abantu abaali batakiriza mu bukulembeze bwe.
Kati Museveni agambye nti tewali nsonga lwaki otya abavumirirra…
Bya Juliet Nalwoga
Ekibiina ekivuganya gavumenti, National Unity Platform kitegezezza nti kigenda kuddukira mu kibiinakyamawanga amagatte okuloopa ekiwamba abantu ekigenda mu maaso mu gwanga.
Agambye nti bagenda kutwalayo ensonga zaabwe mu wofiisi yekibiina kyamawanga amagatte ekola ku ddembe lyobuntu mu Kampala, olunnaku lwenkya.
Bwabadde ayogera ne banamawulire ku kitebbe kyekibiina e Kamwokya, akulembera ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi…
Bya Derek Kisa
Eyakwatira ekibiina kya NRM bendera okuvuganya ku kifo kya ssentebbe owa LC3 mu Lugazi Central division, Micheal Kayongo nabanatu abalala 24 kooti emusindise ku alimanda mu kkomera lye Bugungu mu distulikiti ye Buikwe, lwa kunywa mwenge okusukka mu budde bwa curfew.
Kayongo owemyaka 42, nga y nanyini Pentagon bar e Lugazi yavunaniddwa olwokujemera ebiragiro…
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu distulikiti ye Lwengo eriko abantu 3 begalidde, okuli maama ne muwala we nha kigambibwa nti betabye mu kutta nnyinimu.
Ettemu lino libadde ku kyalo Kyetume mu distulikiti ye Lwengo omukazi ategerekese nga Kobusingye Sophia, bweyekobaanye nomulaalo ne muwala we okutta bba Ahmed Kasumba.
Abalala abkwatiddwa abakwakatiddwa ye Fazira Namatovu nomulaalo ategerekeseeko erya Muzeyi.
Okunonyereza…
Bya Ruth Anderah
Kooti ensukulumu etaddewo olwanga 23 February 2021, okuwlira okusaba okwatereddwayo munnamateeka Hassan Male Mabirizi mwayagalira ssabalamuzi we gwanga Alfonse Owiny-Dollo ave mu musango gwa Robert Kyagulanyi oguwakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni, ku kisanja ekyomukaaga.
Ono omusango gwe yagututte mu kooti olunnaku lwe ggulo, ngalumiriza nti Alfonse Owiny- Dollo yandiberamu kyekubiira.
Agamba nti mu mwaka gwa…
Bya Ivan Ssenabulya
Akulembeze ekibiina kya National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu aliko olukalala lwabantu 243 namannya gaabwe, abawagizi be abazze bakwatibwa abebyokwerinda.
Kino kyadiridde omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni mu kwogera ku lunnaku Lw’omukaaga okukiriza nti alina kyamanyi ku bantu abazze bakwatibwa, wabula yawakanyizza amawulire agalaga nti kiwamba bantu.
Yagambye nti ekiwamba bantu tekiyinza kuberawo ku…
Bya Musasi waffe
Ebitongole byobyokwerinda byakufulumya olukalala lwamanya gabantu, abazze bakwatibwa, nga bagenda kukikola ku kiragiro kyomukulembeze we gwanga.
Bweyabadde ayogerako eri egwanga ku lunnaku Lwomukaaga, Pulezidenti Museveni yakakasizza nti kitufu waliwo abantu abazze bakwatibwa, nayenga abasing bayimbuddwa wabulanga wakyaliwo abakyakwatiddwa banonyerezebwako.
Yalagidde abantu bano baonna, amannya gaabwe gafulumizibwe, okusobola okukakanya emitim gyabantu, nokmalalwo emboozi yekiwamba bantu eyogerwa…
Bya Ivan Ssenabulya
Omukulembeze we wganga Yoweri K. Museveni ayogedde ku kiwamba bantu ekikudde ejjembe, mu gwanga.
Mu kwogera kwe eri egwanga aolunaku lwe ggulo, Museveni yakiriza nti waliwo okukwatibwa kwabantu, wabula nagumya nti ekiwamba nga bwebakyogerako tekisoboka kuberawo ku mulembe gwa NRM guno.
Yagambye nti abamu ku bazze bakwatibwa 177 baweebwa okweyimirirrwa, atenga 65 bebakyanonyerezebwako ku misango…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi esabye abantu bagenda basuula ebipande ebisiiga enziro omukulembeze we gwanga Yoweri Museveni, okukikomya naye batuuse abubaka bwabwe mu wofiisi ye mu butongle, mu kifo kyokujamawaza ebibuga.
Embeera eno erabiddwako mu kibuga e Iganga ne Masaka, ng’ebipande biriko obubaka obulabula pulezideti Museveni nti ave ku buyinza oba ayolekedde akaseera akazibu.
Kati omwogezi wa poliisi mu…