Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole kya Alliance for Finance monitoring abalondoola enkozesa ya ssente mu byobufuzi, basabye nti waberew enkyukakyuka mu mateeka gebyokulonda, agakirza okuzaayo ssente zokwewandiisa eri abantu ababadde bavuganya ku bifo byobukulembeze.
Bano mu alipoota yaabwe balaze nti akakiiko kebyokulonda kaakukanganya obuwumbi 7 nobukadde 900 okuva mu bantu abewadiisa okuvuganya ku bifo byababaka ba palamenti, ate…
Bya Benjamin Jumbe
Abvuganya gavumenti mu kibiina kya National Unity Platform banirizza ekkoligo lyomukago gwa Bulaaya, eryatekeddwa ku banmu ku bakungu mu gavumenti ya kuno olwokutyoboola eddembe lyobuntu naddala mu biseera byokulonda.
Ababaka mu palamenti ya EU okulonda okwakaggwa bakwogeddeko ngokutali kwa democrasiya era bagamba nti tekwalimu bwerufu, nebabanja nti gavumenti eyimbule nabantu bonna abazze bakwatibwa obwemage,…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti ya ssemateeka ewadde abatwala omusango mu kkooti nga bagala pulezidenti museveni akomye okulonda ba minisita be mu babaka ba palamenti ennaku zomwezi nga 4th march okuba nga bawadeyo obujjulizi bwabwe obuwagira omusango gwabwe
Bano nga kuliko Isaac Wadada ne Hakim Nsimbe batwala ssabawolereza wa gavt mu mbuga nga bagamba nti ekyokkulonda baminisita okuva…
Bya Benjamin Jumbe,
Abatuuze okuva ku byalo 15 abaliranye ekibira kyé Bugoma bekozemu omulimo okulaba nti bakuuma ekibira kino obutasanyizibwawo bamusiga nsimbi
Abano bawangalira ku byalo okuli Rwembaho, Kabunene, Nyairongo, Kabega-ramire, Kalerwe, Rwenkobe, Kisoroza.
Bwebabadde bogerera mu lukungana olwategekedwa bannakyewa abewaayo okulwanirira ekibira kyé Bugoma, abatuuze balaze obwenyamivu kungeri abagala okutwala ekibira kino gye balazeemu obumalirivu.
Bano nga bakulembedwamu…
File Photo: Taxi ngaziri mu park
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti yakwogerezeganya na bakulembeze ba bagoba ba taxi okutema empenda kungeri yókudukanyamu paaka ya taxi enkadde singa eba ewedde okudabirizibwa.
Bweyabadde alambula omulimo gwokudabiriza paaka eno wegutuuse olunaku lweggulo, minisita wa Kampala, Betty Amongi, yakakasiza abaali bakolera mu paaka eno nti ngennaku zomwezi 4th omwezi ogujja egyakuba ewedde
Wabula Among…
Bya Ruth Anderah,
Omuzimbi asindikiddwa mu kkomera e Luzira lwakubba TV ne radio jeyabadde agenze okudabiriza.
Ssekubulwa Ronald asimbiddwa mu kkooti ya City hall mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka Valerian Tuhimbise amusomedde omusango gw'obubbi nagwegaana.
Wabula oluvanyuma lw'okwegaana omusango omulamuzi amusindiise mu kkomera lya government e Kitalya ajira yebakayo okutuusa February 25th 2021.
Kigambibwa omusango yaguzza nga January…
Bya Mbogo Sadat,
Abatuuze mu kabuga k'e Buwama mu district y'e Mpigi baguddemu entiisa oluvannyuma lwamunnaabwe olwókusanga munaabwe ng'afiiridde mu kayumba ka mobile money mwabadde akolera.
Omugenzi ategeerekese nga Oliver Nakandi omutuuze mu Teketwe zone, Buwama "B" cell mu Buwama Town Council.
Okusinziira ku batuuze, ono azuuliddwa omu ku bakasitoma abadde agenze waakolera okuggyayo sente kusimu, amusanze omutwe…
Bya Felix Basiima,
Abantu 3 bakakasiddwa okuba nga bafiiridde mu kabenje ki-tanka kya mafuta bwekikonye loole ekibadde kiparkinze kubbali mu katawuni ke Kasunga-nyaja ku luguudo oluva e Fort Portal-Kasese mu disitulikiti ye Bunyangabu.
Okusinzira ku munnamawulire Edward Kyaligonza, eyerabiddeko nga akabenje kano kagwawo ekimotoka kya mafuta kibadde kigenda Kasese nga kiva Fort Portal, wabula omugoba wakyo bwatuuse…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira ba-dereeva abatambula engendo empavu ki National Union of Allied Workers, Drivers and Cyclist bekubidde enduulu eri minisitule eye byentambula nga bagala baasi ezitwala abasabaze ebusuka nsalo zikkirizibwe okudamu okkola.
Baasi zino omukulembeze weggwanga yaziyimiriza okukola bweyaggala ensalo mumwezi ogwokusatu omwaka oguwedde oluvanyuma lwokubalukawo kwe kirwadde kya Covid-19.
Wabula ssabawandiisi wékibiin kino Moses Baleke,…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni wakwogerako eri egwanga mu budde bwakawungeezi.
Okusinziira ku muwandiisi womukulembeze w egwanga kubyamawulire Don Wanyama, omukulembeze wakwogera ssaawa 2 ku nsonga zebyokwerinda enndala.
Kinajjukirwa nti mu kwogera kwe okwasembayo, yakukulumira abantu ababsusizza obulagajjavu nga bangi tebakyagoberera mateeka nebiragiro byabwebyobulamu.
Muno era yalangirirra okuggulawo kwamasomero eri ebibiina ebimu.