Bya Ivan Ssenabulya
Abaddukanya business mu disitulikiti y’e Mukono baddukidde ewomubaka wa gavumenti Fatuma Ndisaba nga bemulugunya ku mbeera eyobutakola gyebalimu.
Bamusabye atuuse ensonga zaabwe ewomukulembeze we gwanga, bagamba nti abaana baabwe bagenda kuddamu okusoma naye tebamanyi webatandikira kubanga bbadde tebakola, atenga tewali ssuubi lyokubaggula.
Bano banyonyodde okusomozebwa kwabwe eri olukiiko lw’ebyokwerinda olubadde lukulembeddwa RDC Ndisaba.
Kati RDC Ndisaba…
Bya Juliet Nalwoga
Poliisi mu disitulikiti ye Rubanda ebakanye n’omuyiggo ku musajja agambibwa okutta mukazi we namuziika, ngamulumiriza okuganza mulamu we.
Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly agambye nti omugezi ye Alibina Tusimomwe ngabadde wamyaka 31 nga kigambibwa nti baawe Dismus Muhumuza yeyamusse era namuziika mu kimpukumpuku, nga kti omusajja aliira ku nsiko.
Ono abadde amulumiriza…
Bya Benjamin Jumbe,
Gavumenti ya Uganda egamba nti yakugenda mu maaso eggule eddagala lya eryekika kya Astrazeneca erigema ekirwadde kya covid-19.
Bino byogeddwa minisita owe byobulamu Dr Jane Ruth Aceng, nga wakayita olunaku lumu lyokka minisita avunanyizibwa ku guno na guli mu minisitule eye byobulamu, Robinah Nabanja okutegeeza nga minisitle bweyasazizaamu entekateeka eyokugula eddagala lino babereko bye…
File Photo:Omwogezi wa Palamenti ya uganda
Bya Damali Mukhaye,
Omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu Rebecca Kadaga ayagala wabeewo ekitongole kya gavt ekyetengeredde ekigenda okukwasaganya obusiimo bwa bakozi ba gavt abawumudde ku mirimu ne balemererwa okufuna obusiimo bwabwe mu budde.
Kino kidirdde omumyuka wa kaliisoliiso wa gavt George Bamugemereire okusaba palamenti enogere ensonga eno eddagala kubangi ku baali abakozi ba…
Bya Prossy Kisakye,
Omubaka wa Pulezidenti e Nakawa Herbert Anderson Burora alagidde ba Ssentebe ba LC ku byalo okuwandiisa abatuuze bonna mu Nakawa okulwanyisa bakifeesi abongedde okutigomya abatuuze
Burora asinzidde mu Lukiiko lw'eby'okwerinda oluyitiddwa Meeya w'e Nakawa e Kitintale oluvannyuma lw'abatuuze okwekubira enduula ku bakifeese ababasuza kutebuukye.
Burora agamba nti abatuuze bonna bateekwa okuwandiisibwa mu bwangu era nga…
Bya Juliet Nalwooga
Minisitule yebyensimbi eriko ekiteeso kyeyetisse, okutandika okuwooza buli ssente enkalu omuntu zajjayo mu bbanka.
Mu bbaluwa eyawandikiddwa omumyuka womuwandiisi we gwanika lye gwanga Patrick Ocailap nga 9 February 2021, basabye gavana wa banka ye gwanga enkulu Tumusiime Emmanuel Mutebile abawe okuwabula kwe obutasukka olunnku lwenkya nga 12 February 2021.
Ministule egemaba nti waddenga mobile money…
Bya Abubaker Kirunda
Ab’obuyinza mu gombolola ye Bulesa mu distulikiti ye Bugiri babakanye nomuyiggo ku mukazi owemyaka 31, agambibwa okusuula omwana we owa wiiki 2 mu kabuyonjo.
Ono mutuuze ku kalo Bulesa nga kigambibwa nri abazze yakazaala, wiiki 2 emabega wabula balinwana bagenze okuwlura ngomwana akabira mu kabuyonjo.
Bano basobodde okutaasa omwana ono, nebamujjayo nga mulamu.
Sulaiman Isabirye agambye…
Bya Ruth Anderah ne Ritah Kemigisa
Kooti ensukulumu, ngetulako abalamuzi 9 yakulamula omusango gwa Robert Kyagulanyi oguwakanya ebyava mu kulonda kwa bonna, nga 18 March 2021.
Kyagulanyi awakanya okulondebwa kwa Yoweri Museveni, oluvanyuma lwokulonda okwaliwo nga 14 January omwaka guno.
Kino kirangiriddwa ssabalamuzi we gwanga, Alfonse Owiny Dollo mu lutuula lwa leero, enjuuyi zombie abawaaba nebebawabira mwebababdde batekeddwa…
Bya Ruth Anderah,
Ssabawaabi wa gavt Jane Frances Abodo aggye emisango gyobulyake egibadde givunanibwa sentebe wa kakiiko akavunanyizibwa ku bwenkanya aka Equal Opportunities Commission Sylvia Muwebwa Ntambi.
Ekiwandiiko ekijja ku Ntambi omusango kiweereddwa omulamuzi Margaret Tibulya nga kiraga nti DPP omusango takyagulinamu bwetaavu
Ntambi abadde avunanibwa ne bakozi banne 9 ku bigambibwa nti bekobaana okunyaga ensimbi za gavt…
Bya Damali Mukhaye,
Sentenbe wa kakiiko akavunanyizibwa ku byettaka Beatrice Byenkya, anenyeza minisita owe byettaka Betty Kamya olwokusaba embalirira eyenyongeza ya buwumbi 12.1 nga tasoose ku mwebuzako
Bwalabiseeko mu kakiiko ka palamenti akalondoola embalirira ye ggwanga, Byenkya ategezeza ababaka abatuula ku kakiiko kano nti akakiiko ke tekasabanga kunsimbi zino.
Wabula Kamya yewozezaako bwategezeza nti omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni…