Bya Prossy Kisakye,
Uganda yeemu ku mawanga agali ku mwanjo, agasobodde okulwanyisa omuzze gwokukekejjula abawala nabakazi mu mbugo.
Uganda yeemu ku mawanga wansi we ddungu Sahara mu Africa, omubadde mufumbekedde ebikolwa bino, ngababikola berimbika mu byobuwangwa songa kimenya mateeka.
Bino byogeddwa minisita wabavubuka nabaana Florence Nakiwala Kiyingi mu kutongoza alipoota ekwata ku kukekejjeula abakyala mu mbugo, eyomwaka 2020…
Bya Ritah Kemigia
Yintaneti nemikutu muyunga bantu, oba Social media bizddwako oluvanyuma lwokutijibwako nga 14 January mu biseera byokulonda.
Okuddako kwa yintaneti kukaksiddwa minisita omubeezi owamawulire nokulungamya egwanga Peter Ogwang nga yetondedde ne banna-Uganda bonn abakoseddwa mu muggalo gwa yintaneti guno.
Mu kusooka ababadde balina VPN bebabadde basobola okukozesa yintaneti.
Museveni we gwanga kinajjukirwa nti bweyali yakalondebwa ku kisanja…
Bya Juliet Nalwoga
Apoliisi mu distulikiti ye Mpigi ebakanye nomuyiggo ku mukazi, agambibwa okuzikula emirambo 5 najireka ku ngulu.
Okusinziira ku mwogezi wa poliisi mu Katonga, Lydia Tumushabe agambye nti bino byabadde ku kyalo Busese A mu gombolola ye Nkozi.
Kitegezeddwa nti omukazi Aisha Kwagala okuva mu tawuni kanso ye Kyengera yabadde ayagala kusengula mirambo gino okujitwala okuzikibwa…
Bya Abubaker Kirundi
Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kinawankembo mu gombolola ye Kidera distulikiti ye Buyende, omusajja owemyaka 32 bwakidde kitaawe namutemako omutwe, bwabadde amugaana okukuba mukazi we.
Ssentebbe wa LC3 William Kiiza agambye nti abatuuze bavudde mu mbeera, omusajja ono naye nebamukwat nebamukuba nebamutta.
Wabula kitegezeddwa nti omusajja ono abadde munywi wanjaga, ngamanyikiddwa.
Ssentebbe agambye nti asoose kufumita…
Bya Benjamin Jumbe
Akakiiko kebyokulonda kakungaanya obuwumbi 7 nobukadde 900 okuva mu ntekateeka yokusunsula n’okuwandiisa abaali bagenda okuvuganya ku bifo byababaka ba palamenti, ate nebakunganya obukadde 220 okuva mu bavuganya ku kifo kyomukulembeze we gwanga.
Ebibalo bino bigatiddwa abekitongole kya Alliance for Finance monitoring abalondoola nkozesa ya ssente mu byobufuzi, nga bategezezza nti ssente zino akakiiko kebyokulonda…
Bya Ruth Anderah,
Ssabawolereza wa gavumenti William Byaruhanga asabye kkooti ensukulumu okugoba okusaba kwakulembera ekibiina kya NUP, Robert Kyagulanyi, mwayagalira okuleeta obujjulizi obupya obukwata kukubba obululu era nga ayagala obuwanguzi bwa munnaNRM Museveni busazibwemu.
Byaruhanga agambye nti ekya Kyagulanyi okuleeta obujjulizi obupya nga abawawabirwa batekayo dda empaaba yaabwe tekikola
Wabula bwabuuziddwa oba Kyagulanyi mungeri yonna ayinza okuba nga…
File Photo:Abasomesa nga bekalakasa
Bya Damali Mukhaye,
Abasomesa mu matendekero aga waggulu agadukanyizibwa gavt bawera nti si bakudda ku mirimu okutuusa ngensimbi ezabasuubizibwa mu mwaka gwa 2015 okwongera ku misaala gyabwe zibaweereddwa
Kino kidiridde amatendekero okuli Makerere and Kyambogo okutandika okusomesa abayizi okuyita ku mutimbagano
Wabula sentebe we kibiina omwegatira abasomesa mu matendekero ga gavt, Deus Kamunyu, agambye nti…
File Photo: Sempijja nga yogeera
Bya Prossy Kisakye,
Gavumenti etandise okuteeka mu nkola emitendera gyonna egy’okusitula abali mu mulimo gwokwongera omutindo ku birime
Bwabadde ayogerera ku mukolo okwokuteeka omukono ku ndagano wakati wa minisitule eye byobulimi ne kampuni ya Delight Uganda Limited mu Kampala, minisita avunanyizibwa ku byobulimi, Vincent Sempijja, agambye nti kino bakikola okuyita mu ntekateka ezenjawulo
Anokodeyo…
Bya Magembe Sabiiti
Akulira akakiiko keby’okulonda mu district ye Mubende Kunihira Christine alangiridde Sam kwizera atalina kibiina mweyajira ku kifo kya ssentebe w’egombolola ye Nabingoola.
Ono awangudde owa NRM David Kigangali nobululu 1,878 ku bululu 1,366.
Kinajukirwa, okulonda mu gombolola eno kwayimirizibwa oluvanyuma lwa Samu Kwizera obutalabikira ku kakonge akalonderwako mu kulonda okwasooka.
Samu Kwizera alangiriddwa ku buwanguzi er…
Bya Ivan Ssenabulya
Akakiiko kekibiina kyamawanga amagatte akebyokwerinda, UN Security Council kagenda kutuula olwaleero okutees ku nsonga zobukulembeze bwa Somalia, wetwogerera obuyuugana.
Abavuganya gavumenti mu Somalia balayidde nti tebagenda kukiriza Mohamed Abdullahi Farmajo ngoukulembeze we gwanga, kubanga ekisanja kye kyaweddeko olunnaku lwe ggulo.
Wabula tekinategerekek ddi lwebanalonda, oluvanyuma lwenteseganya ezaliwo nga 5 Febwali, wakati wa gavumenti ezamasaza ne…