Bya Ritah Kemigisa
Omubaka we Kasambya mu palamenti Gaffa Mbwatekamwa asabye gavumenti nti wabeewo ekikolebwa ekyamantu, ku byokunywa ebyakazibwako erya energy drink, obumeruka wano na wali mu gwanga.
Obwokunywa buno agamu ku makampuni gabutunda gagamba nti buzaamu amaanyi, okugogola emisuwa nemigaso mingi eri omubiri.
Wabula omubaka Mbwatekamwa alopedde palamenti, nti ebyokunywa bino byabulabe, era asabye gavumenti okubvaayo nolukalala…
Bya Ruth Anderah
Waliwo omusajja owemyaka 18 gwebawadde ekibonerezo kya nnaku 11 mu kkomera e Luzira, oluvanyuma lw’okumusingisa omusango gwokufuyisa mu bantu.
Derrick Mudde nga mutuuze ku Market Street mu Kampala yasimbiddwa mu maaso gomulamuzi we ddala erisooka, mu kooti yekibuga etuula ku City Hall Valerian Tuhimbise wabula nakirza omusango.
Wabula ate Mudde ayimbuddwa, oluvanyuma lwokuba nti ekibonerezo…
Bya Ruth Anderah
Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita ataddeyo okujulira mu kooti enkulu, ngawakanya omulamuzi wa kooti ya Buganda Road eyejereza Dr. Stella Nyanzi omusango gwokunyiiza omukulembeze w egwanga Yoweri K. Museveni.
Kati DPP mu mpaaba ye gyataddeyo ayagala Dr Stella Nyanzi asingisbwe, omusano guno nga bweyasingisbwa omusango gwokukozesa obubi ebyuma bi kalimagezi.
Janet Kitimbo okuva mu wofiiis…
Bya Juliet Nalwoga, Gavumenti yeyamye okulaba nga okulonda okusuubirwa mu mwaka gwa 2021 kuba kwa mirembe n’obwenkanya.
Bino bibadde mu bubaka bwa Ssabaminister w’eggwanga Dr.Rukakana Rugunda bwatise minisita omubeezi ow’ensonga za Karamoja Moses Kizige mu bikujjuko eby’ekibiina kya CCEDU nga kiweeza emyaka 10 bukya kitandika okuweereza.
ono asabye ebitongole ebikuuma ddembe okukolaganira awamu okulaba nga kino kitukibwako
Rugunda …
Bya Ruth Anderah, Omulamuzi wa kkooti enkulu mu kampala Andrew Bashaijja alagidde minisita wa Kampala Betty Kamya, ne kitongole kya KCCA ne ssabawolereza wa gavumenti okusasula loodi meeya wa Elias Lukwago obukadde 600 ngomusaala gwe gwatafuna mu banga lyeyamala nga agobedwa mu wofiisi mu mwaka gwa 2013.
Kkooti yasooka kulagira kcca esasule Lukwago wabula negaana
Kati bwabadde…
Bya Shamim Nateebwa ne Ivan Ssenabulya
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebbi 11, asiimye alabiseeko eri Obuganda mu lukiiko lwa Buganda olw'omulundi ogwa 27.
Omutanda agaddewo olukiiko olwa 26 naggulawo olutula olugya olwa 27.
Ssabasajja ajjukizza abantu be ku bukulu bw'ebibiina by'obwegassi ate nokwenyigira mu kulima nga kawefube we mwanyi terimba okusobola okwejja mu bwavu.
Asiimye abakalu…
Bya Malikh Fahad
ntiisa ebutikidde abatuuze abatuuze ku kyalo Kyazanga mu district ye Lwengo omusajja owemyaka 25 bwafiridde mu mugga.
Omugenzi ye Ivan Ninsima ngabadde mutuuze ku kyalo Nakalinzi mu gombolola ye Kyazanga e Lwengo.
Okusinziira ku abadde mukama we Stanley Kabesingaki, Ninsima omugemnzi baasembye okumulaba aawungeezi akayise nga kibewunyisizza okumusanga mu kidiba nga mufu.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu…
Bya Prosy Kisakye
Minister omubeezi avunyizibw ku by’okusiga ensimbi Evelyn Anite ategezezza nga bwewaliwo, ba mafia abatisatiisa okutuusa obulabe ku mulamu bwe munda mu kitongole kya UTL.
Bino abitegezezza banamawulire batuuzizza mu Kamapala, ngagambye nti okuva lweyakalambira wabeewo okunonyereza ku mirmu gyomukutu gwe gwanga ogwebyemuliziganya waliwo ababaddenga bewera okumutta.
Agambye nti waliwo abalumika essimu ye nga waliwo nabamusindikira…
Bya Ivan Ssenabulya
Omuwendo gw’abantu abafiridde mu kimmotoka kyamafuta ekyabwatuse mu district ye Rubirizi, gulinnye okutuuka ku bantu 18.
Enjega eno yabaddewo olunnaku lwe ggulo mu kabuga ke Kyambura.
Akuliddemu ebikwekweto bino Lt Col James Kasule atubuliidde nti baliko emirambo emiralala 9 gyebajjeeyo.
Mungeri yeemu ekikwekweto bya poliisi namagye okujjayo emirambo bakiyimirizza, ate ekimotoka bwekizeemu n’ekibwatuka, era kati kiteta.
Kino…
Bya Ivan Ssenabulya
Abatuuze ku kyalo Kavule mu munisipaali ye Mukono baguddemu entiisa, mutuuze munaabwe bwasangiddwa nga yatugiddwa.
Omugenzi ategerekeseko lya Ssali ng’abadde muyoozi wa kasasiro mu kibug, wabula kiteberezebwa nti kulwe Nabuuti.
Abatuuze nga bakulembeddwamu Anne Binaisa Kaitiro ssentebe we'kyalo awagudde enjega eno, balumiriiza abavubuuka abeggye ekuuma byalo erya LDU okubaako kyebamannyi ku butemu buno.
Poliisi ejjeewo omulambo…
