Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Kamisona alabudde abakulu b’amasomero

Bya Prossy Kisakye ne Ivan Ssenabulya,  Kamisona akulira amasomero g’obwannanyini na matendekero mu minisitule y’ebyenjigiriza Edward Sebukyu alabudde abakulu b’amasomero ku ky’okufuula amasomero eky’obusubuzi. Sebukyu agamba nti afunye okwemulugunya e Ntatera okuva mu bazadde nti abakulu b’amasomero babakanda ebintu nkumu songa ate abaana baabwe tebabikozesa Ono awadde eky’okulabirako nga okusaba buli muyizi ensawo za semiiti, loolo za…

Read More

Aba pipo pawa basazeko eddwaliro

Bya Moses Ndaye, Waliwo ekibinja kya bawagizi b’e kisinde kya People power abalumbye eddwaliro ekkulu e Mulago nga bagala kubawa mulambo gwa Brian Ssegoma aka young Molo. Mulo yakwatibwa gye buvudeko eggye ekuuma byalo natwalibwa e Kabasanda. Bano nga bali wamu n’omukyala wa young mulo mbu bafunye amawulire nti omuntu waabwe baamusindise e Mulago nga muyi n’oluvanyuma…

Read More

Aba DP 50 bagenze mu NRM

Bya Gertrude Lilian, Abatuuze mu disitulikiti y'e Bukomansimbi abasoba mu 50 okuva mu magombolola agakola agenjawulo bakyuse okuva mu kibiina kya Democratic Party ne badda mu kibiina ekiri mu buyinza ekya NRM. Omukolo guyindidde ku kisaawe e Bigasa mu district ye Bukomansimbi abadde omugenyi omukulu Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa kwasinzidde naasaba banna Bukomansimbi bakome okulonda…

Read More

Abalimi baweereddwa amagezi

Bya Prossy Kisakye, Amyuka omukwanaganya w’entekateeka ya gavumenti eya bonna bagaggawale eya operation wealth creation Lt Gen Charles Angina awadde abatekateeka okuyingira ekisaawe kye by’obulimi amagezi okweyambisa amapeesa asatu okuli eryo kwewaayo, okulemerako ne nneyisa okusobola okunoga enusu mu mulimo guno. Angina agamba nti omuntu yenna okufuna mu by’obulimi alina okubeera n’ebisatu ebyo kuba mu mawanga…

Read More

Omusuubuzi attiddwa mu bukambwe

Bya prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Rubanda etandise okunonyereza kunfa y’omusuubuzi ow’emyaka 55 Omwogezi wa poliisi mu bitundu by’eKigezi Elly Maate agamba nti omugenzi ye Samuel Twinomujuni, omutuuze w’eKibungo mu Rubanda . Twinomujuni abatemu bamuteeze kuliraana makage ne bamukuba ebyasi ebyamuttiddewo. Kigambibwa nti yabadde ava kola mu kabuga ke Kaara bweyabadde adda eka webamukubidde amasisi naafa. Maate agamba…

Read More

Abagula emmere yababundabunda balabuddwa

Bya Benjamin Jumbe, Abasuubuzi abakakalabiza emirimu gyabwe mu okuliraana enkambi zababundabubda balabudwa obutasubula mmere eweebwa abanonyi b’obubudamo. Kino kidiridde amawulire okulaga nti waliwo abasuubuzi abaswama abanonyi b’obubudamo ne babagulako emmere ebaweebwa ekibiina kya UN nga tebafudeyo kiki ekiyinza okudirira. Kigambibwa nti ababundabunda babadde batunda emmere olwo ne bafuna ku kasente wabula bwe wayitawo akaseera ate enjala ne…

Read More

Nnamukadde ow’emyaka 80 alajana

Bya Ivan Ssenabulya, Namukadde ow’emyaka 80 alajanidde ab’obuyinza, bamuyambe ku bantu abaamusaayidde emmere, era agamba nti bagala na kumutta. Nnamwandu w’omugenzi Wejule Muwereza, Nabwire Mariam ow’emyaka 80 alumiriza Musoke Henry nabegandaze okumusindikiriza okuva ku kibanja ekiweza yiika 1 n’ekitundu wali ku kyalo Masujju mu gomboloola ye Mpunge mu district ye Mukono. Namukadde ono agamba nti bazze ne…

Read More

Abatalina kaabuyonjo tebagenda kubawa mazzi

Bya Gertrude Mutyaba Abatuuze abamu mu gombolola ye Butenga mu district ye Bukomansimbi, bandifiirwa omukisa gw’okufuna amazzi amayonjo oluvannyuma lw’abakulira ekitongole ky’amazzi okutegeeza nga bwebatagenda kuwa maka aganaasangibwa nga tegalina zi kabuyonjo. Gavumenti ng’eyita mu kitongole ky’amazzi, yatandika ku polojekiti okubunyisa amazzi mu gombolola ye Butenga egenda okumalwo obuwumbi 10. Omubaka wa gavumenti e Bukomansimbi Sazir Nsubuga gambye…

Read More

Ogwa Waninda ne banamawulire bagugobye

Bya Ruth Anderah Omulamuzi wa kooti enkulu Andrew Bashaija agobye omusango gwabanamawulire, mwebabadde bavunanira omumyuka womuwandiisi wa koti eyebyobusubuzi Fred Waninda okubakuba. Omulamuzi agambye nti oludda oluwaabi lwalemereddwa okuleeta obujlizi obukakasa empaaba yaabwe nengeri eddembe lyabwe gyeryalinyirirwamu. Hannington Kisakye ne Erc Yiga bebaddukira mu kooti nga bayita mu kibiina ekibagatta ekya Uganda Journaists Association. Mu mpaaba yaabwe baali bagala…

Read More

Ba Imam balabuddwa ku kuwoowa abatanetuuka

Bya Shamim Nateebwa Disitulikiti Khadi w’e Lwengo, Sheikh Ibrahim Ismael Kibuule agugumbudde ba Imam bagamba nti bagufudde muze okuwoowa n’okufumbiza abaana abatanneetuuka. Abalabudde okubasiba awatali kuttira muntu yenna ku liiso kiyambeko, okulwanyisa omuze guno. Kino kiddiridde ba Imaam 2 abaakwatibwa nga bawoowa abaana abatanneetuuka mu ggombolola y’e Lwengo nga kati bawerennemba n’emisango. Omuze guno agambye nti gwongedde neku muwendo…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play