Bya Ruth Anderah, Omulamuzi wa Kkooti ejjulirwamu Alphonse Owiny Dollo alagidde ekitongole ky'amakomera okuyimbula Amir Kinene oluvannyuma lw'okutegeezebwa nti ono akyakuumirwa e Luzira mu bukyaamu kuba yejeerezebwa emisango gy'obutemu n'obutujju mu 2017.
DCJ Alponse alagidde ateebwe oluvannyuma lw'omuwaabi wa Gavumenti okutegeeza nti talina misango gyamuvunaana.
Moses Ssentalo OC Luzira Upper Prison agamba nti yafuna remand warrant eya…
Bya Prossy Kisakye, Ab’e kibiina kye byobufuzi ki Democratic Party si bamativu nti ennyonyi y'eggwanga eya Uganda Airlines yakuwereza bulungi
Amakya ga leero Ennyonyi ya Uganda Airlines #UR202 ebuuse olubuuka lwayo olusoose okuva ku kisaawe ny'ennyonyi Entebe okwolekera e kisaawe kya Jommo Kenyatta International Airport e Nairobi mu Kenya.
Bwabadde ayogerako mu lukugaana lwa bannamawulire ku kitebe…
Bya Ritah Kemigisa
Omusubuzi ow’erinnya Eng John Ssenseko Kulubya abadde amanyiddwa nga ‘Omwana w’omwami' afudde.
Ono afiridde ku ddwaliro lya Case clinic mu Kampala ku myaka 84 oluvanyuma lw'ekimebe ekibadde kimugoya okumala ebbenga.
Omugenzi yoomu ku baggaga abalina ettaka n'ebizimbe mu gwanga nga ye jajja wa minister ow'ebyobusubuzi amakolero nobwegassi Amelia Kyambadde.
Ono mu mwaka gwa 2006, yavuganyako kubwa meeya…
Bya Tom Angurin
Alipoota empya eyavudde mu kunonyereza okwakoleddwa aba civil society budget advocacy group eraze ng'obwavu bwebweyongedde mu gwanga.
Ebibalo biraze nti obwavu bulinnye okuva ku 19.7% nga bwegwali mu 2013/14 okudda ku 21.4% mu 2016/17.
Abantu obukadde 10 n'emitwalo 10 bebawangliira mu bwavu obusukiridde, atenga bagamba nti nentekateeka za gavumenti okulwanyisa obwavu teziyambye bantu kimala.
Ssenkulu wa…
Bya Ritah Kemigisa
Ennyonyi ye gwanga the Uganda Airlines eyolekedde obwengula oluvanyuma netonnya ku kisaawe kya Jomo Kenyatta International Airport mu gwanga lya Kenya.
Ennyonyi eno esimbudde ku kisaawe Entebbe, ngesimbuddwa ssabaminista we gwanga Dr Ruhakana Rugunda, ngebaddeko abakungu mu gavumenti, abantu babulijjo kko ne banamwulire, mu lugendo olubadde olwomukolo, songa enkya lwegenda okutandika okukola mu butongole.
Bwabadde…
Bya Abubaker Kirunda
Omukazi owemyaka 35 asimattuse okuttibwa abatuuze ku kyalo Lukubo B mu gombolola ye Bukanga, mu district ye Luuka.
Ono babadde bamulumiriza okutta omwana we omuwere owemyezi 3.
Omukyala ono Christine Babirye atasiddwa ssentebbe we kyalo Bulhan Kasadha.
Kigambibwa nti yakidde omwana we namukuba ekiti ku mutwe ekyamuviriddeko okufa, nga kyadiridde okufuna obutakanya ne bbaawe Moses Balikowa.
Bya Magembe Sabiiti
Abagoba ba bodaboda mu munisipaali ye Mubende baliko ssemaka gwebakubye amayinja n’emiggo nebamutta, nga bamutebereza okwenyigira mu bubbi bwa bodabooda.
Ettemu lino libadde ku kyalo Bulyana–Bulima mu gombolola ye Kitenga.
Omugenzi ye Tumusiime Obedi omutuuze ku kyalo kino, ngaba bodaboda okumutta bamujje mu nimiro ngalima nabaana be.
Amyuka ssentebe wekyalo Kalamuzi Andrew ategezezza ngomugenzi bwatabadde na…
Bya Prosy Kisakye
Ba kansala ku mu lukiiko lwa division ye Nakawa bakanyizza, okujjamu meeya waabwe Ronald Balimwezo obwesige, olw'okukozesa obubi wofiisi ye.
Bino babituseeko mu lutuula lwakakaiiko akatekebwawo lOrd myor wa Kampala Erias Lukwago, okuwabula ku mitendera gyokulonda obukiiko bwebye ttaka.
Ba kansala nga bakulembeddwamu owe Naguru 1 Baligo Simon bagabye nti betaaga emikono gyabakiise 22 okutekayo…
Bya Benjamin Jumbe
Omukulembeze we gwanga gwanga Yoweri K. Museveni agamba nti ebyobufuzi, byetoloolera ku kuteesa nokukubaganya ebirowoozo.
President Museveni okwogera bino abadde ayanukula abantu ku mutimbagano gwa yintaneti, Godfrey Begumisa bwasinzidde ku mukutu gwa Museveni ku twitter nagamba nti omubaka wa Kyadondo East Reobert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine agende mu nsiko bwaba ayagala obuyinza.
Wabula…
Poliisi eriko omuwala gwekutte ng'ono kigambibwa nti aludde ng'awa omwana ow'emyezi 9 eddagala erimwebasa n'amusibira mu nnyumba, n'agenda okwetunda.
Omukwate ye Evelyn Kansime owemyaka 19 mutruuze mu Ssebina zooni mu muluka gwa Makerere III e Kawempe.
Ono kigambibwa nti abaddenga awa muwala we Sylvia Nabukenya amakerenda neyebaka olwo nagenda okwkolera ejigye mu bugge bwekiro.
Kati embeera y’omwana yeraliikirizza…
