Bya Shamim Nateebwa
Poliisi mu disitulikiti ye Rwampara etandiise okunonyereza ku butemu obw’emirundi 2 obwakoledwa ku bantu ebenjawulo mu kitundu kino.
Obutemu obwasoose bwakoledwa oluvanyuma lw’enkanyaana ze ze ttaka wakati wa maama ne mutababi we.
Eno kigambibwa nti Arthur Baryamwijuka owemyaka 45 yakidde Mpiirirwe Juliana owemyaka 65 namutta oluvanyuma lwokugaana okumusalira ku kyapa.
Ekikangabwa kino kibadde ku kyalo Buhama…
Bya Damalie Mukhaye
Police mu Kampala eriko omuntu omu gw’ekutte nga temwatukiriiza manya okusoboola okugyiyambako mu kononyerezza ku butemu n’okuwambibwa kwabantu 2.
Kino kiddiridde poliisi mu disitulikiti y'e Mukono ezudde omulambo gw'omukyala Nagiriinya Maria eyabuzibwawo abatamanya ngamba okuva e Lungujja.
Bwabadde ayogerako naffe omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirilwano Patrick Onyango agambye nti Omulambo gwa Nagiriinya n’omuvubuka Ronald…
Bya Ruth Anderah
Omusujja ow’emyaka 24 asindikidwa mu komera e Luzira ku bigambibwa nti yatuusa obuliisa maanyi ku mulirwana we ow’emyaka 30.
Sam Mutabazi omukozi wa lejjaleja omutuuze we Kisasi Kisota yasimbidwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku kooti ya City Hall Valerian Tuhimbise atamuganyizza kubaako kyayogerwa olw’ensonga nti omusango gweyazza gwa nagomola.
Kati ono wakuleteebwa mu…
Bya Shamim Nateebwa
Olwaleero Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, ngali n’omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa, nebaminisita ba Kabaka, balambudde omulimu gw’okuddaabiriza ennyumba ya Muzibwazalampanga wegutuuse.
Egimu ku mikolo egikoleddwa, Omulangira Cryspin Jjunju Kiwewa asimbye empagi ku Wankaaki wa Muzibwazalampanga ng’akabonero akategeeza nti ekiseera eky’okuwunda Wankaaki kituuse.
Omukolo gw’okusimba empagi eno gwa nnono era gukolebwa Kiwewa.
Empagi esimbiddwa yeemu kwezo…
Bya Magembe Sabiiti
Ba ssentebe bebyalo mu munispaali ye Mubende bagala gavumenti ebawe pikipiki okusobola okuddukanya obulungi emirimu gyabwe.
Bano nga bakulembedwamu ssentebe we kyalo Kasaana Birimumaaso Joseph ne Zziwa John Baptist owa Kibaati, bagaamba, nti ate gavumenti tesanye kubawa ggali maanyi gaakifuba nga bweyabasuubiza emyaka egiyise kuba bangi kubo tebakyasobola gaali ezo, kati bagala enongoseemu.
Bya Benjamin Jumbe ne Ritah Kemigisa
Omwana omuwala ow'emyaka 9 munnansi wa Democratic Republica ya Congo eyakakasiddwa okubeera ne Ebola mu district ye Kasasse afudde.
Omwogezi wa ministry y'ebyobulamu Emmanuel Ainebyona, atagezezza ng’omwana ono bwafudde, bwebabadde bakola ku ntekateeka okumuzaayo okwabwe.
Minisita omubeezi owebyobulamu Dr. Joyce Kaducu yagambye nti omwana nono yayingira ne maama we mu Uganda ku…
Bya Benjamin Jumbe
Ab’ekiina kya NRM basazeewo okujja omuwagizi waabwe mu ddwaliro e Mulago gwebakomeredde emisumaali mu mikono, bamutwale mu ddwaliro eddala wanabeera obuylungi.
Baker Kasumba omutuuze we Kawempe kigabibwa nti yalumbiddwa abasajja 2 nebamukuba, nga bamulanga okwambala akakofiira ka NRM akabaddeko ekifanayi kya ssentebbe wekibiina Yoweri K. Museveni.
Ssabawandiisi wa NRM Justine Kasule Lumumba atauseeko mu ddwaliro…
Bya Shamim Nateebwa
Kaminsona avunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu gwanga, Col. Moses Mwesigwa, akubiriza abantu mu gwanga okwekubiriza bafuna endaga muntu, era batwale Kabaka ng’eky'okulabirako.
Kino kiddiridde Ssabasajja Kabaka Empologoma ya Buganda, Ronald Muwenda Mutebi II olunaku lw'eggulo abakungu b'ekitongole kya NIRA okugenda mu Lubiri lwe e Bbanda nebamuwa endaga muntu.
Kabaka densite yamukwasiddwa kaminsona, nga yasooka kujjuza…
Bya Shamim Nateebwa
Ministry yeby’obulamu ekakakasizza okubalukawo kwekirwadde kya Ebola nate mu district ye Kasese.
Ebola yakakasiddwa mu kabuga ke Bwera mu district ye Kasese, mu Bugwanjuba bwe gwanga.
Minister omubeezi ow’ebyobulamu Dr. Joyce Moriku Kaducu agambye nti bakakasizza omwana ow’emyaka 9 omuwala, ngalina ekirwadde kino.
Omwana ono kigambibwa nti yava mu gwanga lya Democratic Republic ya Congo nga yayingidde…
Bya Juliet Nalwoga
Poliisi ye Wandegeya etandise okunonyereza ttemu eryakoleddwa ku musajja owemyaka 21 agambibwa okubeera omuwagizi wekibiina kya NRM, eyalumbiddwa abantu abatanaba kutegereka, wali ku Kalerwe nebamukuba emisumaali mu mikono.
Omwogezi wa poliiis mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango agambye nti Kasumba Baker mutuuze we Avisi-Kawempe, nga bamukozeeko kino nga bamulanga okwambala ebya kyenvu ebyekibiina kya NRM.
Agambye…
