Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Ab’eIganga bazudde omulambo

Bya Abubaker Kirunda Abatuuze mu Mutukula zone ekisaangibwa mu district ye Iganga bakereedde mu ntiisa bwebagudde ku mulambo gwomusajja owemyaka 47, nga gwasuliddwa ku mabbali ge kkubo. Omugenzi ye Hakim Waiswa, omulambo gwe gusangiddwa ku Bwongo road mu munisipaali ye Iganga. Ssentebbe we kyalo kino Hussein Abdallah agambye nti omugenzi abadde mutuuze mu gombolola ye Busedde mu district ye…

Read More

Abaana bawonye okufiira mu muliro

Bya Sadat Mbogo Omuliro gukutte ekizimbe mu maduuka g'e Bugobango mu ggombolola y'e Ngando mu district ey'e Butambala negwokya ebintu, ebiwerako n'okulumya abaana 2. Kiteberezebwa nti abaana bano ababadde mu nnyumba, bebakolezezza ekibiriiti, akliro nekagwa ku bintu, olwo omuliro negulanda. Abaana abasimattuse okufiira mu muliro ba mutuuze Bukulukulu James omugoba wa bodaboda, ngomu wa myaka 3 ate omulala…

Read More

Nambooze awawabidde gavumenti

Bya Ruth Anderah Omubaka wa munisipaali ye Mukono Betty Nambooze awawabidde gavumenti, okuyita mu ssabawolereza waayo, mu kooti enkulu olw’okumulemaza palamenti bweyali eysa enongosereza za ssemateeka ezajja ekkomo ku myaka gyomukulembeze we gwanga. Nambooze agamba nti baamukuba ngekyoku ttale, nga 27 mu Sebutema wa 2017, abakuuma ddembe bwebmuwalawala nebmukasuka ku kabangali nebamutwala nebamuggalira ku kitebbe kya SIU…

Read More

Omutindo gw’eby’enjigiriza mu primary mubi ddala

Bya Damali Mukhaye, Minisita w’eby’enjigirizza ne mizannyo Janet Museveni ategezeza ng’omutindo gw’eby’enjigiriza mu nkola ya bonna basome ku mutendera gwa primary bwegukyali wansi. Bwabadde mu kubaganya ebirowoozo kwebyo ebitukidwako  mu by’enjigiriza  mu mwaka gw’eby’ensimbi  2018/2019 mu Kampala, muko omukulembeze  we ggwanga lino ategezeza nga newankubadde nga omuwendo gw’abayizi kwe bayitira mu bonna basome gw’eyongedde okuva ku…

Read More

Owa boda boda bamusse lw’akubba nte

Bya Abubaker Kirunda Abatuuze ku kyalo Bulyansiime mu gombolola ye Igombe mu district ye Bugweri bakakanye kuwa boda boda nebamukuba nebamutta, nga bamulumiriza okubba ente. Omugenzi ye Sinani Kamome ngabadde akolera ku Nsiya stage mu tawuni kanso ye Iganga. Ssentebbe we kyalo kino Dalausi Mulinda agambye nti ono babadde bamulumiriza, okubba ente okuva ku kyalo Kabaingire mu gombolola ye…

Read More

Ow’emyaka 2 afiridde mu kabuyonjo

Bya Abubaker Kirunda Entiisa ebutikidde abatuuze mu Bikado zone mu Iganga northern Division, omwana owemyaka 2 bwasangiddwa nga yafiridde mu kabuyonjo. Omuddumizi wa poliisi e Iganga David Willis Ndaula agambye nti omugenzi ye Governor Manote, mutabani wa Nasser Manote omutuuze ku kyalo kino mu munispaali ye Iganga. Ndaula agambye nti kabuyonjo eno ebadde mpanvu mita 11 ngebadde amazzi.

Read More

Bisopu Kazimba Mugalu ye Ssabalabirizi Omugya

Bya Benjamin Jumbe ne Ivan Ssenabulya Olukiiko lw’abalabirizi abe Kanisa ya Uganda, lulonze omulabirizi wa diocese ye Mityana Dr. Steven Kazimba Mugalu nga Ssabalabirizi we kanisa ya Uganda omugya. Ono alondeddwa mu ttabameruka wabalabirizi agenda mu maaso, ku wofiisi zaabwe ku lutikko e Namirembe. Diini we kanisa ya Uganda Rt. Rev. Edison Irigei, yalangiridde omulabirizi Kazimba Mugalu. Ono agambye…

Read More

Omuzimbi afiridde mu kinnya

Bya Ivan Ssenabulya Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Ddandira mu munisipaali ye Mukono, omuzimbi bwagudde mu kinya kyamayinja nafa. Omugenzi ategerekeseko lya Sekito wnga kigambibwa nti abadde yava mu district Kayunga, ngabadde akola mu kifo webasima nayikondo. Kansala w'ekitundu kino Dan Kunobwa Kiyega agambye nti ekifo kino kyabulabe nnyo, kubanga mulimu nebidiba byamazzi, ebiwanvu fuuti nga 30. Poliisi ye…

Read More

Omusajja enyama emutuze nafa

Bya Prosy Kisakye Poliisi e Kabale etandise okunonyereza kungeri omusajja ow'emyaka 36 enyama gyeyamutuze natuuka okufa. Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Kigezi Elly Matte, agambye nti omugenzi ye Bernard Macumu ngabadde mutuuze we Rwakaraba mu munispaali ye Kabale. Omugenzi kigambibwa nti yabadde ku kabaga ka mukwano gwe Twinomujuni John Bosco, namira ekifi kye nyama eyemutuze, nerumalamu amazzi. Poliisi…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play