Bya Juliet Nalwoga, Abasirikale abalagajalira emirimu gyabwe n’obutanukula basimu ga wofiisi bolekedde okukagavulwa.
Omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wa bulijjo, Asan Kasigye atubulidde nga bwe bafunye okwemulugunya okuwera okuva mu bantu nga nga bwe waliwo abasirikaale ba poliisi ab’ebulakanya ku mirimu n’abatanukula masimu agabakubirwa.
Okulabula kuno kujjidde mu kiseera nga waliwo ebyogerebwa nti ab’enju y’omugezi Maria Nagirinya baliko…
Bya Damali Mukhaye, Gavumenti okuyita mu minisitule y’eby’enjigiriza n’emizannyo, etegezezza nga bwemalirizza entekateeka ez’okusiima abasomesa ba pulayimale, abakola obulungi okukira abalala.
Okusiima abasomesa bano kw’akubeera mu ttabameruka w’abasomesa, owa Teacher's National Conference.
Bwabadde ayogerako ne banamwulire, minisita omubeezi ow’eby’enjigirza ebisokerwako, Rosemary Sseninde agambye nti basuubira omukulembeze w’e ggwanga okwetaba ku mukolo ogwo.
Kati abasomesa amakumi 50 be balondedwayo…
Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Kisoro etandise okunonyereza, okuzuula kiki ekyavirideko omugoba wa bodaboda okwetuga.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Kigezi Elly Maate atubulidde nti omugenzi ye Ndikumaana Joseph ow’emyaka 30.
Ono yasangibwa ku muti ng’alengejja ku kyalo Gahinga mu gombolola ye Nyakabande mu district ye Kisoro.
Wabula kigambibwa nti abadde n’omuwala gw’ayagala ng’asoma wabula…
Bya Ruth Anderah, Omusajja atemera mu gy'obukulu 35 agasimbaganye n'omulamuzi ku bigambibwa nti yatunuza omwana wa muliranwa we ow'emyaka 7 mu mbuga za sitaani.
Minani Michael asomeddwa omusango ogw’okujula ebitanajja, mu kkooti enkulu mu maaso g'omulamuzi Wilson Kwesiga wabula nagwegaana.
Kigambibwa nti omuvunanwa omusango yaguzza nga 9 June 2017 e Katwe mu Division ye Makindye, maama w"omwana…
Bya Ivan Ssenabulya, Abasirikale bayiriddwa ku mwalo gw’e Mpatta mu disitulikiti y’e Mukono oluvanyuma lw’ekivvulu ky’abayimbi, eky’abaddemu okulwanagana omwafiridde n’omuntu omu.
Abayimbi abanene n’abato okubadde Ronald Mayinja, bababdde babalnaze okuyimba wabula Gravity Omutujju yekka yalabiseeko ate bagamba nti nayimba enyimba ntono.
Kino kijje abadigize mu mbeera ne bonoona ebintu okubadde emizindaalo, obutebe nebiralala bwebabitekedde omuliro.
Okusinziira ku yerabiddeko…
Bya Magembe Sabiiti
Abatuuze abasoba mitwalo 2 mu gombolola ye Manyogaseka mu district ye Kassanda, bolekedde okugobebwa ku ttaka oluvanyuma lwekitongole kyebibira mu gwanga ekya NFA okutegeeza nga bano bwebatudde ku tytaka lybibira.
Kino kidiridde akulira ekitongole kyebibira mu gwanga okufulumya ebbaluwa eraga ng’ettaka erya square mile 28 okutudde egombolola ye Manyogaseka bweriri erye kibira ekimanyiddwa nga Kyabego nga tewali…
Bya Magembe Sabiiti
Abavubuka 2 bafiridde mu birombe bya zaabu e Lujinji mu gombolola ye Kitumbi mu district ye Kassanda, oluvanyuma lwe ttaka okubabutikira nga bali wansi mu kinya kya fuuti 80.
Abafudde kuliko Byamukama John ow’emyaka 22 ng’ono abadde mutuuze ku kyalo Kyalulolera ne Muyingo Nassani ow’emyaka 24 omutuuze ku kyalo Lujinji D .
Ssentebe we kyalo…
Bya Juliet Nalwoga, Prossy Kisakye, ne Benjamin Jumbe, Kampuni ya Uganda airlines etandise kawefube ow’okutunda enyonyi ya Uganda mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo.
Kino wekigidde nga bannauganda bangi bagamba nti enyonyi ya Uganda wegidde nga gavumenti teyetegese bulungi kugidukanya
Omwogezi wa kampuni ya uganda airlines Jenifer Bamuturaki, agambye nti batandikidde mu bitundu ebyomumaseketi noluvanyuma bakutalaaga ebitundu byeggwanga ebyenjawulo…
Bya Moses Ndaye, Sentebe w’akakiiko k’ekitongole kya UMEME Patrick Bitature agamba nti okukozesa ebiragalalagala kifuuse kya bulabe nyo eri obulamu bw’abavubuka.
Kati ono ayagala gavumenti ekwate omumuli ogw’okusomesa abavubuka obulabe obuli mu kukozesa ebiragalalagala
Bitatule agamba nti omuwendo gw’abalwadde abali e Butabika mental health referral hospital, bavubuka oluvanyuma lw’okunywa ebitamiiza
Bino abyogedde asinzira ku mukolo ogw’okusonda ensimbi ku…
Bya Prossy Kisakye, Bannauganda balabudwa okwewala okulya enyama yebisolo byomunsiko okwewala okukwatibwa endwadde ezimu.
Okulabula kuno kukolebwa akulira ekibiina ki The Conservation through Public Health Gladys Kalema.
Kalema anyonyodde nti ebisolo bino naddala baboon birwala nyo ekirwadde kye Ebola n’olukusense kyokka nga ate abantu bagala nyo okulya enyama y’abyo.
Ono agamba nti ebisolo by’omunsiko ebisinga bitera nokulwala endwadde…
