Bya Ritah Kemigisa
Waliwo bannansi ba Rwanda abakubiddwa amasasai agabasse, ku luguudo lwa Entebbe expressway highway, nga bino bibaddewo mu kiro ekikesezza olwaleer.
Okusinziira ku mawulire amekusifu okuva mu poliiisi, abagenzi kuliko Omumbejja Kamikazi, ngatiddwa nomukuumi we Joshua Ntereho Ruhegyera nga babadde batuuze be Katabi mu bitundu bye Mpala.
Bano babade batmbulira mu mmotoka enzirugavu kika kya prado…
Bya Musasi waffe
Eyali omukulembeze we gwanga lya Zimbabwe n’amukadde Robert Mugabe, era eyakulemberamu okulwanirira obwetwaze bwe gwanga lino afudde ku myaka 95.
Afiridde mu gwanga lya Singapore gyabadde ajanjabirwa ekimbe, ekibadde kimubala embiriizi.
Famile ye ekakaksizza okufa kwe.
Kinajjukirwa nti Mugabe amagye gaamukwakkula mu ntebe mu in Novemba womwaka gwa 2017, Entebbe gyeyali amazeemu emyaka 30.
Ebitonotono ebikwata ku…
Bya Kyeyune Moses, Palamenti ya Uganda yegasse kunsi endala okuvumirira obulumbaganyi obukolebwa ku bagwira mu ggwanga lya South Africa.
Omukubiriza wa palamenti Rebecca Kadaga,omumyuka we Jacob Oulanyah n’ababaka bonna bavumiridde ekikolwa ky’abannasi ba South Africa eky’obusosoze.
Amyuka omukubiriza wolukiiko lweggwanga olukulu Oulanyah mu lutuula lwa palamenti olwaleero mwasabidde gavumenti ya South Africa okubaako kyekola ku mbeera eno.
Ate…
Bya Paul Adude
Omulamuzi wa kooti enkulu mu district ye Wakiso, etuula Entebbe Jane Francis Abodo atandise okuwliriza omusango gwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy, avunanibwa okutta omuyimbi Moses Ssekibogo yali amanyiddwa nga Mowzey Radio.
David Ebanget amanyiddwa nga Producer Washington yabadde omujulizi woludda oluwaabi asoose okulumiriza omuvunanwa, okutta omugenzi.
Washington ategezezza kooti nti ddala Troy yeyatta Radio,…
Bya Prossy Kisakye
Poliisi erabudde abategesi b'ebivvulu Andrew Mukasa amanyiddwa nga Bajjo ne Abbey Musinguzi amanyiddwa nga Abitex okutagenda mu maaso nmisinde gyebategeka okubaawo nga 9 Octoba.
Bano olunnaku lwe ggulo batongozza emisinde gyabwe ku Muganzi Lwaza e Katwe, gyebagamba nti muno bagenda okusonda ssente okuyimbula abasibe, abatalina ssente ez’okubabeyimirira nga baludde mu makomera.
Omwogezi wa poliisi mu…
Bya Ivan Ssenabulya
Sipiika wa district ye Mukono Emmanuel Mbonnye
agambye nti waliwo abantu ababulankanya obuyambi obwava mu wofiisi ya Ssabaminista, obwali bugenda ku mwalo gwe Katooke e Koome.
Kinajjukirwa nti abantu bano bafuna enjega y’omuliro omwezi oguwedde, wabula Mbonye agambye nti baweebwa obusawo bwomuceere 600 naye gwatuuka teguwera.
Wabula omu kuba kansala Majala abaawerekera emmeere bwebaali, bajitikka ku…
Bya Damalie Mukhaye
Ssentebe w'ekyalo Nsambya Avemaria mu divison ye Makindye, Bukenya Siraje aeweze okwanika amaka agavaamu ba Kifeesi abatigomya abatuuze.
Ono agambye nti obumenyi bw'amateeka bweyongede mu kitundu, ngaba Kifeesi bateega abantu mu budde bwokumakya, abagenda okukola nebabako ebyabwe.
Wabula agambye nti abetaba mu bikolwa ebyo, bamanyi amaka gebavaamu era bagenda kubanika.
Bya Malikh Fahad
Entiisa ebutikidde abatuuze be Kyalurangira mu district ye Rakai ente bwetomedde omukazi owemyaka 68 nemutta.
Bino bibadde ku kyalo Lubumba mu gombolola ye Kyalunlangira, ng’omugenzi ye Hadija Nalubega.
Okusinziira ku Hamza Bunkeddeko mulirwana womugenzi, ente eraluse netomeratomera omukazi ono.
Omudumizi wa poliisi mu district ye Rakai Bernard Nuwamanya, akakasizza enjega eno.
Bya Ivan Ssenabulya
Omuvubuka omu ku bavubuka 3 yali avumiddwako ku mutimbagano gya yintaneti.
Bino byajidde mu alipoota aba Unicef gyebafulumizza, ngera eraga nti, omuvubuka omu ku 5 yanyingirizibwa mu mbeera eno, natuuka nokukosebwa mu kusoma.
Ssenkulu wekitongole kino Henrietta Fore mu kufulumya alipoota eno, agambye nti waliwo obwetaavu okukuuma abavubuka, ku mitimbagano.
Mungeri yeemu okunonyereza okwenjawulo era kwakolebwa…
Bya Prosy Kisakye
Poliisi e Masaka eriko abantu 4 bekutte, okuli nomusawo ekinannansi Muhumuza Med ku misango gyokusadaaka omuntu.
Kino kidiridde ettemu eryabadde ku kyalo Lyakisaana mu gombolola ye Kacheera mu district ye Rakai, omusajja Hebert Baanyu ow’emyaka 45 bweyasangiddwa mu nnimiro nga yatiddwa.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bye Masaka Paul Kangave okuva mu kabuga ke Nkyakisana,…
