Bya Prossy Kisakye,Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni akungubagidde omugenzi Robert Mugabe eyali omukulembeze w'eggwanga lya Zimbabwe.
Mugabe yasiza omukka ogw'enkomerero olunaku lwegulo nga aweza egy'obukulu 95 mu ggwanga lya Singapore gyabadde yatwalibwa okufuna obujanjabi mu mwezi gwokuna.
Nga ayita ku mukutu gwe ogwa twitter Museveni ayogedde ku mugenzi Robert Mugabe ngomununuzi wa frica era omusajja abadde ayagala enyo…
Bya Moses Ndaye, Ekitongole ekitereka ensimbi zabakozi mu gwanga ki National social security Fund kitadewo ebifo abakyala abakozi webayonseza abaana baabwe
Akulira ekitongole kino Richard Byarugaba agamba nti ekifo kino kyakuyambako bamaama okuyonsa abaana baabwe nga baze nabo ku mirimu
Ono agamba nti kino kyakuyamba abaana bano okufuna amata agalimu ekiliisa okusobola okubeera abalamu obulungi.
Abakugu bagamba nti…
Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Rukungiri etandise okunonyereza ku butemu obwakolebwa ku muvubuka.
Omugenzi ategerekese nga Dancun Muhumuza owemyaka 24 ngabadde mulimi ku kyalo Nyakagyera village,mu gombolola ye Nyarushanje e Rukungiri.
Kigambibwa nti omusajja ategerekese nga Alex Muhwezi owemyaka 17 nga mutuuze w’e Kinanira mugombolola y’e Nyarushanje aliko ekippakasi kyeyafunye kwekuyita munne Muhumuza bakikole babiri noluvanyuma…
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Lyantonde etandise okunonyereza kungeri abantu 3 gyebakubiddwamu masasi agabasse.
Bino bibadde ku kyalo Nakasozi mu gombolola ye Kinuka, abazigu abatanaba kutegerekak bwebalumbye abantu bano nebabakuba amasasi agabatiddewo.
Abagenzi kuliko Ssendege Justus ne mukyala we Evly Naleba nomulala ategerekeseeko erya Robert Mubiru.
Obulumganayi buno bukoleddwa mu kiro ekikesezza olwaleero bwebabadde munda mu nnyumba…
Bya Abubaker Kirunda
Meeya wa munisipaali ye Jinja Majid Batambuze asabye banamawulire okukozesa omukisa gwebalina nemikutu gyabwe okukuuma obutonde bwensi.
Bwabadde awayaamu ne banamwulire mu nsisinkano eyalubiridde okutumbula entekateeka zokukuuma obutonde bwensi eyategekeddwa essomero lya Horizon International School, Batambuze agambye nti okukuuma obutonde kikuu nnyo, nga banamauwlire betaaga okukitekamu amaanyi.
Asiimye entekateeka eyakoleddwa essomero lino na kawefube wokusimba emiti…
Bya Abubaker Kirunda
Ssentebbe wa booda ey'ekitongole kitwala ebyobulambuzi mu gwanga ekya Uganda Tourism Board Daudi Migereko awabudde abekitongole kyobwanakyewa ekya Aids support organization okweyambisa ennyo munna-Uganda Winnie Byanyima eyalondeddwa okukulembera kitongole kya UNAIDS okutwala polojekiti zaabwe mu maaso.
Migereko bino abayogeredde ku tabi lya Taso Jinja, mu ttabameruka waabwe owa buli mwaka.
Kati agambye batekeddwa okutunuliira emikisa nga…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Mbarara etandise okunonyereza ku bubbi obukoleddwa ku ssundiro ly’amafuta.
Okusinziira ku nannyini ssundiro lino erya RURO Petroleum petrol station erisangibwa mu kabuga ke Ruti, nga ye Tumwebaze Anthony abazigu 6 ababadde bebagalidde amajambiya ne nnyondo, babbye obukadde 22 nekitundu.
Kigambibw anti basoose kusiba abakozi 2 emiguwa, nebabakuba emitagambibw anebatwala nebintu ebiralala…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Kiruhura enonyereza ku butemu obukoleddwa kuwa boda boda Taremya Samuel.
Omugenzi abadde aweza emyaka 22 ngabadde akolera ku stage ye Nyakasharara, ku kyalo Rwamasasi mu gombolola ye Kitura.
Kigambibwa nti yatiddwa abatamanya ngamba, oluvanyuma omulambo gwe nabagusuula ku faamu, emu.
Poliisi egamba nti okunonyereza kutandise.
Bya Malikh Fahad
Poliisi mu district ye Masaka eriko abakuumi 2 bekutte lwakubba ba customer abawerako okuva mu post bank ne Centenary bank ku byuma bya ATM.
Abakwate kuliko John Mugume owemyaka 30 ngono abadde mukuumi ku wofiisi za lands e Masaka, ngakola nekitongole ekikuumi ekyobwnanayini ekya Saracen Uganda Limited ne munne Sylvia Nassuuna owemyaka 25 ngabadde…
Bya Shamim Nateebwa
Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, asiimye okukuliza emikolo gya Bulungibwansi n'olunaku lwa gavumenti ez’ebitundu mu ssaza ly'e Busiro egy’omwaka gwa 2020.
Kino kiddiridde essaza lino okunywa mu malala akendo mu nzirukanya n'entambuza y'emirimu bubonero 65%.
Omumyuka wa Katikkiro owokubiri, nga ye muwanika wa Buganda, Owek. Robert Waggwa Nsibirwa yalangiridde kino bweyabadde…
