Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Ekirwadde ekitanategerekeka kisse abaana 14 e Mityana

Bya Ndhaye Moses Abatuuze ku kyalo Bukoba mu gombomola ye Magara mu maserengeta ga Mityana bali mu kutya, oluvanyuma lwokugwamu ekimbe ekitanaba kutegerekeka. Omubaka wekitundu kino Henry Makumbi Kamya ategezezza palamenti, nti abaana abakazaliibwa, bamyukirira, oluvanyuma nebafa. Agambye nti abaana 14 bebakafa mu mbeera eno, mu kabanga akatono akayise, nga kino kitaddewo obwelaikirivu mu bantu. Kati asabye ministry yebyobulamu…

Read More

Abbye ssente za mukyala we neyetuga

Bya Abubaker Kirunda Mu district ye Mayuge omusajja ow’emyaka 30 yetuze oluvanyuma lw’okusingisbwa omusango gwokubba ssente za mukyala we emitwalo 15. Omugenzi ye Richard Korikori omutuuze ku kyalo Nabuboru mu gombolola ye Malongo. Ssentebbe we kyalo Muhammod Mpade agambye nti wofiisi ye, ebadde nomusango guno gwobubbi wakati wabafumbo, nga bagulamula gyebuvuddeko. Kigambibwa nti omusajja yagend najayo ssente zino, okuva…

Read More

Abaategeka ekivvulu ky’e Mpatta babayigga

Bya Ivan Ssenabulya Ekibiina ekigatta abategesi b’ebivvulu nab’ebifo ebisanyukirwamu, Uganda Music Promoters and Venue Owners Network, batandise omuyiggo ku eyategeka ekivvulu e Mpatta mu district ye Mukono, omwafiridde omuntu. Ekivvulu kino kyaliwo ku Sunday wabula kyagwera mu kulwanagana, abawagizi bwebava mu mbeera oluvanyuma lwabayimbi bebalanga obutajja nebonoona ebintu. Wabula poliisi mu kukakanya embeera yakuba amasasi akanyolagano akafiramu omuntu…

Read More

Abakazi basse abaana baabwe

Bya Malikh Fahad ne Ivan Ssenabulya Entiisa ebutikidde abatuuze be Kifamba mu district ye Rakai omukazi owemyaka 25 bwakakanye ku mwana we namutta. Bino bibadde ku kyalo Kiluli mu gombolola ye Kifamba e Rakai Eva Mukamugenyi bwasazesaze omwana we omulenzi owemyezi 6, ku nsonga ezitanaba kutegerekeka. Omudumizi wa poliisi mu distrct ye Rakai Bernard Nuwamya agambye nti omukazi…

Read More

African Union evumiridde ebiri mu South Africa

Bya Ritah Kemigisa ne Ivan Ssenabulya Ssentebbe owa African Union Commission Moussa Faki Mahamat avumiridde obw’egugungo obugenda mu maaso mu gwanga lya, South Africa nga bannansi balumba okukuba nokubba amadduuka gabagwira. Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa omwogezi wakakiiko kano, Ebba Kalondo agambye nti bagala ebikolwa bino bikome. Kati ekibiina ekitaba amawanga ga Africa kino, kyagala gavumenti mu gwanga lino evunane…

Read More

Bannayuganda bafiirwa olw’akalippagano k’ebidduka

Bya Prosy Kisakye Ab’ekibiina kya DP bavuddeyo okw’emulugunya ku kalipagano kebidduka, akasusse mu Kampala naddala budde bwakawungeezi. Bweyabadde ayogera ne banamwulire, omukwanaganya wemirmu gyobwegassi kyebatuuma Dp Bloc Mike Mabike agambye nti kino kiraga nti gavumenti eremereddwa okulungamya ebyentambula. Mu kino agamba nti abantu bafiirw abingi olwobudde bwebamala ku makubo, mu kalipagano kebidduka. Kati Mabike asabye gavumenti ebyokugula ennyonyi endala…

Read More

Abadde yeyita omusawo bamukutte

Bya Shamim Nateebwa Abadde yeeyita dokita n'aguza abalwadde eddagala effu bamukutte. Nelson Isiko owemyaka 40, kigambibwa nti abadde yakola akalwaliro ak’ekimpatiira mu katawuni k’e Nkokonjeru mu ggombolola y’e Kitimbwa mu disitulikiti y’e Kayunga mw’abbira abantu nga yeeyita dokita. Akulira eby’obulamu mu disitulikiti y’e Kayunga Patrick Osironi agambye nti Isiko awudiisa abalwadde nebatagenda mu malwaliro ga gavumenti, ngabalimbira awo. Isiko…

Read More

Omukazi azadde omwana ng’alina amannyo

Bya Abubaker Kirunda Omukyala mu district ye Bugweri azade omwana ngalina amannyo mu kamwa. Barbra Nairuba mukyala wa Isamail Muruka abatuuze ku kyalo Bubenge mu gomboloa ye Igombe, azaliidde ku ddwaliro lya Bukoteka health centre 11 mu gombolola ye Ibulanku. Atwala eddwaliro lino Wilson Kamuli agambye nti kino kibadde tekibangawo, bukyanga. Omukyala azadde omwana ono, wa myaka 20 eranga…

Read More

Ow’emyaka 15 abbye abaana okubalya

Bya Gertrude Mutyaba Poliisi mu district ye Bukomansimbi eriko omuwala ow'emyaka 15 gwekutte ku bigambibwa nti yabadde awambye abaana 2. Addumira poliisi ye Bukomansimbi Sowedi Manisur agambye nti omukwate yasoose kubba omwana Esther Nannozi owomwaka ogumu, nga yamujje Ku jajja we Roset Nanyonga naddukira e Sembabule nga eno nayo yabbyeyo omwana omulala. Manisur agambye nti abatuuze e Sembabule…

Read More

Abadde ayola banne ebiger bamusse

Bya Ivan Ssenabulya Poliisi ekubye amasasi mu bbanga okugumbulula abatuuze ababadde bagala okugajamabula, agambibwa okubeera omulogo ku kyalo Kigunga mu Munisipali ye Mukono. Poliisi ye Seeta ng’ekulembeddwa omukwanaganya wa poliisi n’omuntu wabulijjo Yunusu Mukasa esobodde okutaasa Alex Nsubuga, abatuuze gwebabadde bekokola okubaloga, nga kigambibwa nti abaddenga abayoola bigere. Abatuuze babadde bamukumyeko omuliro, wabula poliisi yetasizza bwetukidde mu budde. Bano okuva…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play