Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Omuvubi afiridde mu nyanja ng’adduka abamagye

Bya Abubaker Kirunda Omuvubi agudde mu nnyanja nafa, bwabade adduka abalwanyisa envuba embi mu district ye Mayuge. Omugenzi ye Boniface Okwi, era afiridd, okumpi nomwalo gwe Sagiti ku kyalo Naluwerere mu gombolola ye Jagozi. Ssentebbe wa LC esooka James Sazi agambye nti omugenzi yalabye abamagye abalwanyisa envuba embi, nabuuka nagwa mu mazzi mwafiridde. Omugenzi abadde mutuuze mu tawuni kanso…

Read More

Abaana bazalibwa bajeemu

Bya Ivan Ssenabulya Ekibiina kya Mother's Union balaze okutya olwa'baana abajeemu abazalibwa ensangi zino. Dr. Ruth Ssenyonyi akulira ekibiina kyabakyala be kanisa kino, abadde bagalawo olukungana lwabwe olwa buli mwaka wali ku ssomero, olubadde lubumbijira ku ssomero lya Seeta High e Mbalala-Mukono. Agambye nti abazadde basaanye okudda ku buvunanyizbwa bwabwe, okulwnayisa embeera eno. Wano era alaze nokutya kungeri amaka…

Read More

Omulabirizi yenyamidde olwaba malaaya e Mukono

Bya Ivan Ssenabulya Omulabirizzi wa Mukono diocese Bishop James William Ssebaggala, alaze okutya kuba malaaya, abetunda mu kibuga. Kati asabye abakulembezze okukola ekisoboka okuyamba, bajje abawala abo ku nguudo. Bino Bishop Ssebaggala abyogeredde ku Kanisa ya St.Dunstan e Wantoni, bwabadde assaako abaana emikono abasobye mu 60. Agambye nti waliwo obwelaikirvu kubanga, ba Malaya bagenda beyongera buli lunnaku olukya.

Read More

Ambasada wa South Africa avumiridde ebyakoledwa ku bagwira

Bya Benjamin Jumbe, Omubaka wa South Africa mu Uganda Lekoa Solly Mollo avumiridde eky’okukakana ku bagwira ne bakolebwa efujjo ekyavirideko abantu abasoba mu 10 okuttibwa. Kino kidiridde aba-south Africa okukakana ku bagwira bonna abali mu ggwanga ne batandika okubatta nga babalanga okubatwalako emirimu munsi yaabwe bbo ne basigala nga tebakola. Kino kyavirideko abadugavu mu mawanga nga Nigeria…

Read More

Abatuuze b’e Muyenga baakugula emmundu

Bya Prossy Kisakye, Oluvanyuma lw’embeera ye by’okwerinda mu ggwanga okusereba ng’ejjudde kiwamba bantu ne ttemu, kino kiwaliriza abakulembeze mu bitundu by’e Muyenga mu Kampala okusalawo okukkiriza okusemba abatuuze abalina obusobozi mu kitundu kino okwegulira emmundu basobole okunyweza eby’okwerinda byabwe. Bino byogeddwa sentebe wa Bukasa Yasin Omar mu lukungana olubadde olw’okusonda ensimbi bazimbe ekifo poliisi w’enakwataganiranga nomuntu…

Read More

Etteeka lya GMO silyakukola

Bya Rita Kemigisha, Bannakyewa balaze okutya nti singa ebbago ly’etteeka ku birime ebikolerere liyisibwa nga bweriri liyinza obutakola. Kinajukirwa nti omukulembeze W’eggwanga yagaana okuteeka omukono ku baggo lino litandke okukola nga agamba nti kyetagisa okukuuma bannauganda ku biyinza okudirira. Endowooza ya pulezidenti yawagirwa bannakyewa abalala. Wabula ebbago lino lyandiyisibwa nga bwerirri kubanga amateeka ga palament gawa ababaka obuyinza…

Read More

Sheikh Muzaata agugumbudde abatayagala kuwumula

Bya Prossy Kisakye, Omwogezi w’ekiwayi kya basiramu ab’e Kibuli sheikh Nuhu Muzaata asabye abakulembeze b’obusiramu abakuze mu myaka okutandika okulowooza ky’okuwumula Muzaata agamba nti bamaseka bangi mu bitundu by’eggwanga ebyenjawulo abakulilidde mu myaka wabula nga tebagala kulekulira bifo bwabwe bawumule balekele abalala okukulembera. Ono agamba nti bano ne bwebatuuka nga tebakyasobola kutukkiriza buvunanyizibwa bwabwe olw’emyaka era balemerako Muzaata…

Read More

Owa poliisi afiiridde mu Somalia

Bya Prossy Kisakye, Omusirikale wa poliisi munnauganda abadde ku mulimu gw’okukuuma emirembe mu ggwanga lya Somalia asangibwa nga afiiridde mu nyumba ye mungeri etategerekeka. Okusinzira ku kiwandiiko ekifulumizidwa dayirekita wa Peace Support Operations AIGP Grace Turyagumanawe agamba nti omugenzi ye AIP Edward Bagonza ng’ono yasangibwa akawungezi kajjo nga afiiridde munju ye. Turyagumanawe agamba nti eggye ekuuma ddembe…

Read More

Museveni agugumbudde abasomesa

Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni asabye abasomesa abalemeredwa okukola emirimu gyabwe obulungi okulekulira. Bino abyogeredde mu lukungaana lw’abasomesa mu Kampala n’agamba nti Uganda nga tenafuna bwetwaze yalina abasomesa abakolanga emirimu gyabwe n’okwewaayo n’abaana ne bayita bulungi songa tebaalina buyigirize bumala, wabula ab’omulembe guno ababanguddwa obulungi ate balemeredwa okusomesa abayizi Museveni agambye nti abasomesa bomulundi guno…

Read More

Uganda yakuganyulwa nyo mu mafuta

Bya Ben Jumbe, Omukulembeze w’eggwanga yoweri Museveni agamba nti uganda yakweyambisa ensimbi ezigenda okuva mu ky’obuggaga ky’amafuta okwekulakulanya mu bintu ebiwerako. Bino yabyogedde ali mu lukungana lw’eby’obusubuzi mu gwanga lya Tanzania mu kibuga Dar-el-salaam Eno gye yasinzidde nateegeza nga uganda bwegenda okweyambisa amagoba mu mafuta okuzimba enguuddo, amalwaliro, amasomero ne birala ebiyamba mu kulakulana.  

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play