Bya Prosy Kisakye
Abatuuze mu kibuga kye Entebbe bakubidde abakulembeze baabwe omulanga, okubataasa ku baana mu kitundu kino abefudde ekirala okubabba.
Abatuuze bagamba nti abaana abababba bali wakati w’emyaka 10 ne 12 nga babba mu budde obwekiro nkawungezi.
Sentebe wa division B Stanley Namayirira agambye nti abazadde bebasindika abaana baabwe mu bubbi kubanga poliisi bwebakwata banaguwa okubajjayo.
Bya Ruth Anderah
Muzzukulu wa Ssekabaka Sir Daudi Chwa atutte Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II mu kooti, ngamulumiriza okutwala ettaka lyabwe, ngagamba nti kitundu ku ttaka lya mailo ya Buganda.
Kabaka bamuwawabidde nekitongole kya KCCA, kamisona avunayizbwa ku kuwandiisa ebyapa Joseph Ssempebwa, omulangira Kassim Kakungulu Nakibinge, Ferikitansi Keziya Nabisenke n’omulangira Namukabya Nfamba.
Omubejja Edith Mpologoma agamba…
Bya Shamim Nateebwa
Agambibwa okuba nti abaddnga alimira enjaga ku mabaati poliisi emukutte.
Meddie Mugerwa omutuuze mu Kibe Zooni mu Muluka gwa Makerere III e Kawempe yakwatiddwa poliiise ku Kaleerwe oluvannyuma lwabatuuze okumulumiriza okulimira enjagala ku mabaati.
Poliisi ngekulembeddwamu omumyuka wa OC, Twahir Kasembeza ezze nemukwata, nga bamusanze nenjaga ne bagiwanulayo ku mabaati.
Mu kwewoozako Mugerwa agambye nti ya…
Bya Ritah Kemigisa
Omukulembeze we gwanga Yoweri K. Museveni alagidde nti abasirikale abaali ku Camera e Natete, Maria Nagirinya n’omudereva Ronald Kitayimbwa lwebawambibwa nti babagobe mbagirawo.
Agambye nti bano balagajjalira emirimu gyabwe, mu kifo kyoklondoolanga ebigenda mu maaso ate bakola gwakujjayo bifananyi ebyebyo ebyabaddewo.
Agamba nti bandibadde balondoola ebigenda mu maaso, okusobola okulawuna ebitundu nokuzizyiza obumu ku bumenyi…
Bya Ruth Anderah, Okuwulira omusango Godfrey Wamala amannyidwa nga Troy mw’avunanibwa okuba ne kobaane okutemula eyali omuyimbi nnakinku Mowzey Radio kuzeemu olwaleero mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu etuula e Entebbe,n’omujulizi ow’oludda oluwaabi ow’omwenda.
George Egesa omutuuze w’e Kawuku nga yenanyini bbaala eya Debar ewagambibwa okuba nga omugenzi gyeyasanga abamukuba mu January 22nd 2018 ategezeza ng’omukyala…
Bya Benjamin Jumbe, Gavumenti egyewo ekiragiro ekyali kigaana abalimi bebikajjo okubitunda mu ggwanga lya Kenya.
bino byogedwa omukulembeze weggwanga Yoweri Museveni era nategeeza nti bannauganda kati baddembe okutunda ebikajjo mu kenya okumala ebbanga lya myezi 3.
Kino kidiridde amakampuni agagula ebikajjo ku balimi okulemererwa okubimalawo sooonnnga abalimi tebalina wakubitunda walala.
mungeri yemu minisita webyobusubuzi namakolero
Amelia Kyambadde asabye abalimi…
Bya Prossy Kisakye, Ekiwayi ky’abavubuka b’ekibiina kya DP aba Uganda Youth Democrats batiisatiisizza okutwala ekitongole kya police mu kooti olwa poliisi okukozesa obukambwe ngekwata banaabwe olunaku lwajjo.
Mu kwogerako eri bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina mu Kampala omukulembezze w’ekiwayi ky’abavubuka bano Christopher Okidi ategezza nga poliisi bwe yasazeeko woffiisi zaabwe ne kwata abavubuka 11.
Bano babadde batesesse okutambula…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Lamwo enonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja Muge Alfred, nga kigambibwa nti mukyala we yeyamusse.
Omugenzi owemyaka 81 abadde mutuuze ku kyalo Agula-Loboyoko "A" mu gombolola ye Agoro mu district ye Lamwo.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema agambye nti bano bafunyemu obutakanya, omukazi Lucia Lacaa owemyaka…
Bya Ivan Ssenabulya
Omusajj agambibwa okuba nti abaddenga mubbi wa lulango, bakubye akasaale bwabadde amenye ennyumba nayingira okubba.
Bino bibadde mu kabuga ke Agoro, nga Funga Ronald owemyaka 16 kati yapooca mu ddwaliro, nga Ochola Vincent ne Kacoke Martin yabukubye akasaale.
Eno kigambibwa nti abadde abbey emitwalo 29, atenga gubadde mulundi gwakubiri ngamenya nga yoomu era amenya ennyumba.
Ayogerera…
Bya Abubaker Kirunda
Omukazi owemyaka 32 goonya emulumyeko omukono mu district ye Namayingo.
Kinta Atieno omutuuze ku mwalo gwe Mangoda mu gombolola ye Dolwe goonya emulumidde ku Nyanja Nalubaale, bwabadde agenze okukima amazzi.
Abauuze batubuliidde nti ono abadde wa mukisa obutafa, waddenga gwomukono goomnya egulidde.
Omwogezi wa poliisi mu Busoga East James Mubi alabudde abatuuze okubeera abegendereza, nga gavumenti bwevaayo…
