Bya Prossy Kisakye, Abakulembeze b’amawanga ag’enjawulo bakyagenda mu maaso n’okweyiwa mu ggwanga lya Zimbabwe mu kibuga ekikulu Harare okwetaba ku mukolo ogw’okusabira omwoyo gw’omugenzi Robert Mugabe eyali omuk wegwanga elyo okumala emyaka 37 n’okujukira emirimu gyalese akoledde eggwanga
Mugabe yasa ogwenkomerero ng’ennaku z’omwezi 6 omwezi guno mu ggwanga elya Singapore gye yali afunira obujanjabi okuva mu…
Bya Ivan Ssenabulya
Laddu ekubye abantu nebafa mu district ye Kannungu.
Entiisa eno ebadde mu kabuga ke Kyashamiro mu gombolola ye Rutenga, bwebabadde banula omuwemba.
Abagenzi kuliko Kanyonyi Hebert owemyaka 38, Niwamanya Avitus owemyaka 20, Akandwanaho Fred owe 13 nomwana ategerekeseeko erya Byukama.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Kigezi Eli Matte akakasizza okufa kwabantu bano.
Bya Malikh Fahad
Poliisi e Masaka etandise okukonyereza ku kabenje akafiriddemu, masheeka owerinnya mu kitundu kino.
Sheik Ssengendo Mustapha Twaibu atomeddwa emmotoka kika kya Toyota Pro-box namba UAS 574/M bwabadde avuga pikipiki ye namba UDH 483/N ngasala ekkubo.
Akabenje kano kagudde okumpi newoboleza emmotoka ku luguudo lwa Buddu Street mu munispaali ye Masaka.
Omugenzi era abadde musomesa ku ssomero lya…
Bya Benjamin Jumbe
Ekitongole ky’ekibiina kyamawanga amagatte ekirera ababundabunda, ekya UNHCR kigamba nti ddala basanze okusomozebwa okukumira abaana ababundabunda mu masomero.
Wabula kino bakitadde ku ssente entono ezibaweebwa obukadde bwa $ 330 eri ebyenjigiriza nga zikola 35% ku mbalirir yabwe awamu obukadde bwa $ 900.
Akulira ekitrongole kino mu Uganda Joel Boutroue agambye nti abaana ba primary 30…
Bya Magembe Sabiiti
Namukadde ow'emyaka 86 abadde yakaweebwa emitwalo 2 nekitundu, ezibaweebwa gavumenti buli mwezi, bamuyingiridde nebamutta mu bukambwe obwekitalo.
Bino bibadde mu gombolola ye Kiyuni mu district ye Mubende.
Omugenzi ye Bukirwa Federesi ngabadde mutuuze ku kyalo Lwemivubo.
Kati ssentebe we gombolola ye Kiyuuni, nga ye Byamunugu Aloyizious ategezezza ngabattemu bwebakozesezza emiggo okutta omukadde ono.
Bya Sadat Mbogo
Ensasagge egudde mu b’oluganda omuti gwegukubye omuntu waabwe nafa.
Omugenzi ye Lawrence Ssozi ngabadde aweza emyaka 48, ngabadde mutuuze ku kyalo Ndugu-Mpambire mu district ye y'e Mpigi.
Okusinziira muganda womugenzi Ssaalongo Ben Ssozi, abadde agenze kusennya nku mu kibira kye Mpanga, omuti gyegumusanze negumukuba nafa.
Kitegezeddwa nti abekitongole kyebibira mu gwanga bababadde bakirizza abantu okuggya enku…
Bya Mlaikh Fahad
Abatuuze be Kyazanga mu district ye Lwengo bagudde ku mulambo gwomwana owemyaka 10 abadde yawambibwa omwezi oguwedde.
Omugenzi ye Deus Nyebaza mutabani wa Venasio Mutambuka omutuuze ku kyalo Kibimba B mu gombolola ye Kyazanga.
Omwana ono yawambibwa nga 29 mu mweiz gwomunaana, ngabamuwamba babaddenga basaba bazadde be omusingo gwa bukadde 4 nemitwalo 60 balyoke bamuyimbule.
Ssente zino…
Bya Abubaker Kirunda
Poliisi mu district ye Kaliro eriko omusajja owemyaka 49, gwegalidde nga kigambibw anti yatemula mukama we.
Omukwate ye Damiano Robert Otim omutuuze ku kyalo Lugambo mu gomboloa ye Ikumbya mu district ye Luuka.
Ono kigambibw anti yakidde Aidah Gimbo gwabadde alundira ente, namutematema namutta.
Akulira ebyokunonyereza ku buzzi bwemisango e Kaliro David Agi agambye nti bino…
Bya Ritah Kemigisa ne Juliet Nalwoga
Omuwendo gw’abantu abafiridde ku kabenje akagudde mu district ye Nakasongola, gulinnye okuva ku bantu 5 okutuuka ku bantu 7.
Abantu 5 bebafiriddewo mbulaga mu kabenje kano, atenga tutegezeddwa nti waliwo nabalala 2 abafiridde mu ddwaliro.
Omwogezi wa poliisi yebidduka Charles Sebabulinde agambye nti akabenje kano kabaddemu bus etomereganye ne mmotoka endala ennettissi,…
Bya Abubaker Kirunda
Akakiiko kebyokulonda wansi wa ssentebbe waako, omulamuzi Simon Byabakama kalagidde nti okulonda kw’ekyalo kudibwemu.
Bino biri ku kyalo Namayingo central mu tawuni kasno ye Namayingo.
Kino kyadirira okwemulugunya okwatwalibwawo nga 7 mu Sebutemba wa 2018, nga Muzamil Kirunda agamba nti okulonda kwalimu okubba obululu ne vvulugu atagambika.
Okulonda kuno kwali kwawangulwa Abbey Kakaire, wabula kati ssentebe wakakiiko…
