Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Eyawemmula aba KCCA avunanibwa

Bya Ruth Anderah, Omutembeeyi ow’emyaka 25 asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala naavunanibwa omusango ogw’okuwemmula abakozi ba KCCA nga bali ku mirimu gyabwe. Baninga Mike asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we ddaala erisooka ku City Hall Valerian Tuhimbise amusomedde emisango wabula emisango gy’okweyisa mungeri etegasa ng’awemmula abantu nagyegaana. Wabula omulamuzi amuyimbudde ku kakalu ka kkooti ka mitwalo gy’ensimbi…

Read More

FDC essanyukidde America ku bya Kayihura

Bya Damali Mukhaye, Ab’oludda oluvuganya gavumenti mu kibiina kya FDC basanyukidde natti eggwanga lya America, zeryatadde ku eyali ssabapoliisi we ggwanga Gen Kale Kayihura, olw’ebikolwa ebityoboola eddembe ly’obuntu bye yatuusa ku bananansi weyabeerera mu kifo kino. Bwabadde ayogera ne bannamawulire ku kitebbe ky’ekibiina e Najjanankumbi, omwogezi wa FDC Ibrahim Ssemujju Nganda agambye nti ebikolwa bingi ebyatuusibwa…

Read More

Minisita avumiridde abazadde abambala mini

Bya Prossy Kisakye, Bannanyini masomero bakutiddwa obutagezaako kukkirizza bazadde bambadde bubbi kuyingira mu bibangirizi by’amasomero gaabwe kitangire abayizi obutakoppa nyambala nga zino ekiyinza okubaleetera ebikemo ne balemererwa okusoma. Okusaba kuno kukoledwa minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza ebisokerwako Rose Mary Seninde bwabadde ayogerako ne bannamawulire mu Kampala. Minister ategeezezza nga bwe kyenyamiza okulaba abazadde abandibadde eky’okulabilako eri abaana baabwe ate…

Read More

Buganda evumiridde ettemu

Bya Shamim Nateebwa Obwakabaka bwa Buganda buvumiridde ekiwamba nekitta bantu ekirabika okuba nga kyazeemu. Katikkiro Charles Peter Mayiga asinzidde mu lukiiko lwa Buganda nateeka poliisi ku nninga, ensonga eno okujitekamu amaanyi  okunonyereza okumalawo ettemu. Kattikiro era asabye nti abantu bonna bebazze bakwata ku misango gino, nga tebabalinaako bujulizi babayimbule. Wano atusizza okusasira kwe eri aba famile yomugenzi Maria Naggirinya…

Read More

Omwana abadde yabula bamusanze mufu

Bya Abubaker Kirunda Omwana owemyaka 6 abadde yabula asangiddwa nga mufu, oluvanyuma lwa wiiki namba. Omugenzi ategerekeseeko lya Golole mutabani wa Abdallah Odundo ngabadde mutuuze we Iguru-ibi mu gombolola ye Wairasa mu district ye Mayuge. Omulambo gwomwana ono bagusanze mu ssamba ly’ebikajjo okumpi ne ssamba ly’ebikajjo. Ssentebbe we kyalo Paul Musabi atubuliidde nti ekyalo kiguddemu enssagge, era kati abantu…

Read More

Gwebabadde babanja omutwalo yesse

Bya bubaker Kirunda Omusajja owemyaka 25 mu district ye Kaliro yesse oluvanyuma lw’okulemererwa okusasula omutwalo 1, zabadde yewola ku muganda we. Omugenzi ye Michael Matovu ngabadde mutuuze ku kyalo Bugonza mu gombolola ye Namugongo e Kaliro. Taata womugenzi Henry Isiko agambye nti obo yakozesezza obutwa okwejja mu budde. Atwala ebyokunonyereza ku buzzi bwemisango ku poliisi ye Kaliro David Agi…

Read More

Abantu 18 bebafiridde mu bubenje obw’enjawulo

Bya Ritah Kemigisa Abantu 8 bebafiridde mu kabenje akalala akagudde ku kyalo Nawantumbi ku luguudo oluva e Jinja okudda e Kamuli. Abantu abalala 9 bebalumiziddwa oluvanyuma lwa taxi UAZ 861/J ebadde eva e Jinja okwabika omupiira netomera owa pikipiki ebaddeo abantu 2. Ababadde ku pikipiki eno bafiriddewo mbulaga, nababadde mu taxi 6 nebafa. Mmotoka eno oluvanyuma etomedde omutima gwamasanyalaze. Aberabiddeko…

Read More

Abazigu bayingiridde amaka ga ssentebe wa NRM

Bya Sadat Mbogo Poliisi mu bitundu eby'e Mpigi etandise okunonyereza ku bazigu abaayingiridde amaka ga ssentebe wa NRM ku kyalo Buseera mu muluka gw'e Ggolo mu ggombolola y'e Nkozi, nebamukolako obulabe. Ono ategeerekese nga ye Aloysius Jjunju; abamulumbye kigambibwa baabadde mu byambalo by'amagye ekiro mu matumbi budde. Baalese bamukubyekubye n'abamakaage kyokka nga ekitabudde abantu kwekubeera nga bano baakonyekonye…

Read More

Babiri bafiridde mu kabenje

Bya Philip Wafula Abantu 2 bafiridde mu kabenje akagudde ku kyalo Buyange mu gombolola ye Magada mu district ye Namutumba. Dereva wa taxi kigambibwa akoze akabenje kano bwabadde ayogerera ku ssimu ngabuuza banne, obanga aba poliisi yoku nguudo babadde kwebali. Taxi eno ebadde eva Mbale ngedda Iganga wabula eremeredde omugoba waayo, neyevulungula emirundi 3, okubadde omwana owemyaka 10…

Read More

Olusoma olw’okusatu lutandise olwaleero

Bya Prosy Kisakye Olusoma olw’okusattu era olusembayo mu mwaka, lutandise olwaleero. Kati minista owebyenjigiriza ebisokerwako Rosemary Sseninde asabye abazadde, obutalwisa baana okubatwala ku masomero, kubanga okubakumira awaka okusooka okukola emirmu kyakubakosa babeeko byebasubwa obutabisoma. Agambye nti taamu eno nkulu nnyo, kubanga yeyokuyita eri abayizi okuva mu kibiina ekimu okuda mu kiralala. Wano minister asabye amasomero okuterawo abaana abato obudde…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play