Bya Prossy Kisakye, Minisitule y’eby’enjigiriza n’emizaanyo etegezezza nga bwegenda okubonerezza abakulira amasomero abanasangibwa nga benyigidde mu kubba ebigezo by’akamalirizo.
Bino byasanguzidwa ssabawandiisi wa minisitule y’ebyenjigiriza, Alex Kakooza mulukugaana olutegekedwa ekitongole kye bigezo mu ggwanga ki Uganda National Examination Board okulambika abavunanyiziibwa ku kulambula masomero wakati mu kwetegekera ebigezo ebyakamalirizo.
Kakooza ategezezza nga okubba kwebigezo mu ggwanga bwekweyongedde…
Bya Ivan Ssenabulya
Abali mu kisaawe ky’okuyimba balaze okutya kngeri okulwanagana mu bivvulu gyekugenda kweyongera buli kadde, ekivaako nabantu okufa.
Ebikyasembyeyo byabadde Mpatt mu district ye Mukono ne Masaka, ngeno kigambibw anti balanga abayimbi abanene ate nebatajja, ekyajja abantu mu beera nebonoona ebintu ebiwerako nabantu nebafa.
Kati bwabadde ayogerako naffe omukwanaganya wemirmu gyekibiina ekigatta abayimbi, nabategeka ebivvulu ekya…
Bya Ritah Kemigisa
Poliisi eriko omulambo gw'omuntu gwenyuludde okuva mu Nyanja Nalubaale mu bitundu bye Entebbe.
Omugenzi ategerekese nga ye Simon Akena owemyaka 34, era abadde mutuuze we Mukono.
Ono kigambibwa nti abadde yabula nga 14 omwezi guno ogwomwenda nga yasemba okulabwako mu bitundu bye Ntinda ne Kisaasi.
Omulambo guno gujiddwa ku mwalo gwe Kitubulu mu tauwni kanso ye…
Bya Ritah Kemigisa
Omu ku bazigu abayingiridde wofiisi zekibiina kyobwnakayewa ekya National organization of people living with Hepatitis B wali e Kulambiro afudde.
Omwogezi wa polisi mu Kampala nemiriraano Patrick Onyango agambye nti omugenzi nga tanaba kutegerekeka, yafunye ebisago ebyamaanyi abakulembeze be kyalo bwebabadde bamukwata ebimuviriddeko okufa.
Omulala agambye nti ali mu ddwaliro ekkulu e Mulago afuna bujanjabi.
Bano…
Bya Ivan Ssenabulya
Omulabiriizi we Mukono James William Ssebagala alabudde ku muze gwabaana okuvanga mu luwummula, nebakomawo ku masomero nebya wongo.
Agambye nti abazadde bebaneyzebwa mu nsonga eno, olwokulaga ekkubo ekyamu eri abaana baabwe okubayigiriza obulogo.
Kino agambye nti kikyamu, ngabaana betaaga okulaga ekkubo egolokofu erya Katonda.
Bya Ruth Anderah
Omusajja agambibwa nti yayingirira omuwala mu hostel namusobyako, yandiwona ekkomera oluvanyuma lwoludda luwaabi okulemererwa okuzuula gweyasobyako gyali.
Kenny Chrispus aziddwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira gyanbadde okuva mu March wa 2015, ngolwalero gwegubadde omulundi gwe ogusooka okuletebwa mu kooti.
Ono asimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti enkulu Yasin Nyanzi, wabula emisango ejimusomeddwa nagyegaana.
Kati omulamuzi…
Bya Musasi waffe
Olwaleero Uganda egenda kwegatta ku nsi yonna okukuza olunnaku lwabalumiddwa emisota.
Okusinziira ku Dr David Williams, akulira ekitongole ekinonyereza ekya Australian Venom Research Unit ku University of Melbourne, olunnaku luno lwabangibwawo okulaga engeri yokwetangiramu obulebe bwemisota nokumanyisa abantu ku bulabe bwemisota.
Ekitongole kyebyobulamu mu nsi yonna ekya World Health Organisation kigamba nti abantu obukadde 2…
Bya Shamim Nateebwa
Embeera y'omuyimbi Eva Nakabira amanyiddwa nga Evelyn Lagu eyongedde okweralikirza.
Ono ajiddwa mu ddwaaliro erya Kenrob gy'abadde ajjanjabibwa n'atwalibwa e Kiruddu okwongera okufuna obujjanjabi obusingawo.
Ono yafuna ekizibu ku mutima, ngabasawo bagamba nti tassa bulungi era amaze wiiki 2 ng'ali ku ndiri.
Abasawo bazudde nga n'ensigo ye yafuna obuzibu kyokka abamujjanjaba bagamba ssente z'obujjanjabi zibekubya mpi,…
Bya Benjamin Jumbe, Minisita w’eby’obulambuzi Prof Ephraim Kamuntu alaze obwetaavu obw’okwongera kunsimbi ezigenda mu byobulambuzi.
Bino abyogeredde mu lukungaana lwe byobulambuzi mwe betegerereza ebiba bitukidwako ne bibula mu by’obulambuzi, minisita agambye nti newankubadde babongeza kunsimbi mu mbalirira ye ggwanga wabula era bakyetagira ddala ensimbi okusobola okubiyitimusa.
Prof Kamuntu agamba nti ekitongole kyonna okukula kiba kyetaaga ensimbi.
Ono mungeri…
Bya Ruth Anderah, Omusajja eyakozesa akambe okubba n’okutuusa obulisa maanyi ku mukyala asindikidwa kw’alimanda e Luzira.
Ramathan Sentongo asimbidwa mu maaso g’omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Yasin Nyanzi wabula emisango n’agyegaana.
Kati asindikidwa kw’alimanda e Luzira okutuuka nga 26 omwezi guno omusango gwe gutandike okuwulirwa.
Oludda oluwaabi lutegeezeza nga mu mwezi gwa gatonya omwaka 2015, e Wandegeya…
