Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abayizi mubawe eky’emisana ku masomero

Bya Damali Mukhaye,Minisitule y’e byenjigiriza esabidwa okubaako ky’ekola okulaba nti abayizi bafuna eky’emisana ku masomero. Nga ayogerako naffe omulamuzi okuva e mukono Margret Mutonyi agamba nti eky’obutawa baana mmere ku masomero kuba kubagyako ddembe lyabwe. Ono agamba nti abaana ab’obuwala bakemebwa nyo ne batandika ebikolwa eby’okwegadanga okusobola okufuna ekikumi bafune kye banalya ku masomero. Mungeri yemu agamba nti…

Read More

Nnabbambula w’omuliro asanyizawo emmaali

Bya Prossy Kisakye, Poliisi etandise okunonyereza ekyavirideko nnabambula w’omuliro ogwasanyizawo emmaali y’abasuubuzi embalirirwamu obukadde nobukadde bwensimbi ku mbagiro wali e kireka mu district ye mukono. Kigambibwa nti omuliro guno gwatandise ku ssaawa nga taano ezekiro ekikeseza olunaku olwaleero. Okusinzira kw’akulira ekitongole kya poliisi ekizikiriza omuliro Joseph Mugisa poliisi yasobodde okutuuka mu budde ne taasako bye yasobodde. Ono agamba…

Read More

Abatemu bawanikibwe ku kalabba

Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze w'eggwanga Yoweri Museveni azzeemu n'asaba ekitongole ekiramuzi obutadamu kuwa kweyimirirwa eri abantu abenyigidde mu misango gy'obutemu. Museveni okwogera bino ng’ebikolwa eby’okuwamba abantu n’okubatta byeyongera bweyonzi mu bitundu by'eggwanga eb'yenjawulo. Okwogera bino yabadde ku concert y'omuyimbi Catherine Kusasira mu Kampala,era yategezeza nti okuyimbula abantu abali ku misango gwobutemu kyekimu kukyongedde ebikolwa bino okweyongera. Museveni alemeddeko…

Read More

Eyali yabuzibwawo basanze mulambo

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu Kampala etandise okunonyereza kunfa yomusajja eyabuzibwawo mu makage noluvanyuma nattibwa. Omugenzi ategerekese nga William Mukasa eyabuzibwawo mu makage e Kawaala sabiiti eyise. Okusinzira ku amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano Luke owoyesigire, Mukasa yabula sabniiti ewedde era omulambo gwe baguzudde nga gusuulidwa okuliraana amakage e kawaala Owoyesigire agamba nti omugenzi basoose…

Read More

Omukazi alimbye bbaawe nti bawambye omwana

Bya Abubaker Kirunda Poliisi mu tawuni kanso ye Bugembe ekutte abakzi 2, nga kigambibwa nti balimbyelimbye ngomwana bweyawambiddwa, nekignedererwa okujja ssente mu kitaawe. Omu ku bakwate ye maama womwana owomwaka 1 nga kigambibwa nti yakubidde kitaawe womwana Hamim Ssekabira omutuuze we Namwezi mu munispaali ye Njeru namulimba ngomwana bweyabadde awambiddwa. Ssekabira yaloopye ku poliisi e Bugembe neyungula abampi…

Read More

Omusamize bweyafeze bakozzaamu ennyumba

Bya Abubaker Kirunda Ab’obuyinza mu gombolola ye Bukanga mu district ye Luuka, baliko abakazi 2 bebakutte, nga kigambibwa nti bakidde ennyumba ya agenti womusawo wekinansi nebakyokya. Bino bibadde ku kyalo Budondo B bwebatekedde ennyumba ya Joel Tebinagwa omuliro, nga bamulumiriza okubatusizanga eddagala eritakola. Ssentebbe we kyalo Emmanuel Ssebairewo nga mwami wwwomu ku bakwate, agambye nti Tebinagwa yalese omusawo omufera, nabba…

Read More

Kooti zigaddewo okujjukira Ben Kiwanuka

Bya Ruth Andrew Kooti zamateeka zonna olwaleero zigaddewo abantu basobole okwetaba mu musomo gwokujjukira eyali Ssabalamuzi we gwanga Benedicto Kagimu Kiwanuka ogugenda okubeera ku kooti enkulu mu Kampala. Omuwandiisi wa koosi omukulu Esta Nambayo ayisizza ekiwandiisko ekiraga nga Ssabalamuzi Bart Katureebe, bwakirizza abakozi ba kooti bonna olwaleero obutakola. Omugenzi Benedicto Kiwanuka yawambibwa abajaasi ba Idi Amin mu mwaka gwa 1972,…

Read More

Abadde abbye omwana bamukutte

Bya Shamim Nateebwa Poliisi e Kawempe eriko omukazi gwekutte agambibwa nti yabadde abbye omwana omuwere ow'omwezi ogumu n'ekitundu. Omukwate ye Sharifah Mumbejja owemyaka 19 nga mutuuze w'e Nabweru mu Kafunda. Omwana gweyabadde abbey wa Prossy Namukwaya ne Paul Bruno abatuuze b'e Bwaise mu St. Francis zooni. Namukwaya kigambibwa nti yasoose kwefuula mukwano gwa maama w’omwana we. Wabula mu kwewozaako Mumbejja…

Read More

Oluguudo lwe Jinja lulemesa abantu okwegadanga

Bya Kyeyune Moses Ababaka ba palamenti bafunye ebibbo byensko, bwebabadde bateesa kungeri gavumenti gyeruddewo okuzimba oluguudo lwa Kampala-Jinja express highway, olugenda okuwementa obwesedde 3 nobuwumbi 600. Eno omubaka wa West Budama Jacob Oboth, nga yoomu ku bakozesa oluguudo lwa Jinja Road, agambye nti kati okukozesa oluguudo luno, yafuuka emu ku nkola eya kizaala ggumba, olwakalaippagano gebidduka nobudde…

Read More

Ssaabalabirizi omulonde akiise embuga

Bya Shamim Nateebwa, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda omulonde, Rt. Rev.Dr. Stephen Kazimba Mugalu akyaddeko embuga nasisinkana Katikkiro wamu ne Kabineeti ya Ssaabasajja Kabaka. Ensonga enkulu emuleese kwekukomawo ku butaka okulaba nga anyweza enkolagana ye n’obwakabaka mu buvunaanyizibwa obuggya obwamukwasiddwa obwa Ssaabalabirizi. Ssaabalabirizi Kazimba agambye nti abadde ateekwa okudda embuga kubanga enjiri gyebasomesa abantu yatandikira ku Ssekabaka Muteesa…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play