Bya Ivan Ssenabulya, Okuvuga boda boda empya mu munispaali y’e Mukono kuwereddwa, mu budde obw’ekiro.
Ekiragiro kino kiyisiddwa abakulembeze ba boda boda, okulwanyisa obutemu obubakolwako n’obubbi bwa pikipiki.
Ssentebe wabagoba b boda boda mu masekati ga Mukono Musasizi Moses, agambye nti etteeka lino ligenda kutandikirawo okukola.
Abagoba ba bodaboda bangi mu bitundu byeggwanga ebyenjawulo abaze bategebwa ne babatemula…
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi e Isingiro etandise okunonyereza ku butemu obwakoleddwa ku musajja Caroli Tuwangye, agambibwa nti yatemuddwa batabani be.
Omugezni abadde aweza emyaka 64 ngabadde mutuuze ku kyalo Butenga I, mu gombolola ye Birere e Isingiro, nga baamusanze mu nyumba yoomu ku batabani be nga mufu.
Yasangiddwako ebiwundu ebyamaanyi ku mutwe neku bulago.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu…
Bya Paul Adude
Okuwuliriza omusango gwa Godfrey Wamala amanyiddwa nga Troy avunanibwa okutta omuyimbi Moses Ssekibogo eyali amanyiddwa nga Mowzey Radio kwogenzeddway okutukira ddala nga 27 Septmba, oluvanyuma lwomujulizi woludda oluwaabi abadde alaindiriddwa ate obujja.
Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joseph Kyomuhendo lutegezezza kooti e Entebbe ebadde ekubirizibwa omulamuzi Jane Francis Abodo nti omujulizi waabwe, Frantile Lwamusayi omusirikale…
Bya Damalie Mukhaye
Olukiiko lwaba minister luyisizza etteeka erinayitwamu okulungamya enkozesa yomwenge nebyokunywa ebiralala ebitamiiza.
Okusinziira ku kiwandiiko ekivudde ku ssunsuliro lyamawlire ga gavumenti ku media centre, etteeka lino lilungamya engeri omwenge gyeguyinza okukolebwamu, okugusiba nokugunywa.
Muno era gavumenti egamba nti yakulwanyisa omwenge ogwobulabe eri obulamu bwabantu.
Mu kiwandiiko kino, era kitegezeddwa nga ba minister bwebayisizza olukiiko lwabapunta, olugenda…
BYA YAHUDU KITUNZI
Abantu 1400 abawangaala n'akawuka ka mukenenya ku malwaliro ag'enjawulo mu district y'e Mbale basazeewo okuva ku ddagala olw'obutaba na mmere.
Atwala eby'obulamu mu district ye Mbale Dr. Jonathan Wangisi agambye nti abalwadde abasinga tebakyajja kunywa ddagla, nga bawa ensoga y'obwavu okutuuka okubulwa eky'okulya.
Wabula agambye nti bagenda kutondawo ekibinja kyabakugu okugenda mu byalo okubazuula, basobole okubazaamu…
Bya Ruth Anderah
Omusajja agambibwa okwekakatika ku mwana wa muliranwa we, ow’emyaka 4 ddaaki asimbiddwa mu mbuga z’amateeka navunanibwa omusango.
Katumba Isaac asomeddwa omusango mu kkooti enkulu mu Kampala mu maaso g’omulamuzi Jane Frances Abodo wabula nagwegaana.
Kati omulamuzi alagidde nti addizibweyo ku alimanda mu kkomera e Luzira okutukiera ddala nga 3 Octoba lwanakomezebwawo atandike okuwerenemba n’omusango gwe.
Oludda…
Bya Gertrude Mutyaba
Poliisi e Masaka eriko omusajja owemyaka 21 gwegalidde nga kigambibwa nti yawamba omulenzi owemyaka 10 noluvanyuma namutta.
Omukwate ye Justus Niwabyona nga mutuuze ku kyalo Kibimba mu kabuga ke Kyazanga mu district ye Lwengo.
Omwogezi wa poliisi mu district ezikola obwagagavu bwe Masaka Paul Kangave agambye nti omukwate yatta Deus Nyebaza bwezaali ennazku z’omwezi 29…
Bya Ruth Anderah
Kooti ewozesa abali benguzi nabakenuzi ekalambidde nti omubaka wa Kawempe South, ssentebbe wakakiiko ka palamenti aka COSASE Mubarak Munyagwa atekeddwa okulabikako ggyeri nga 4 mu Novemba womwaka guno ku misango gyenguzi.
Kigambibwa nti ono yalya ekyoja mumiro bweyali akyali omubaka we Kawempe.
Omulamuzi wa kooti eno Pamela Lamunu kidiridde okugoba okusaba kwa Munyagwa, mwabadde ayagalira…
Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze wa kuno Yoweri Museveni assuubiza okutuula ne minisita omubeezi akwasissa empisa wamu n’abakulembeze b’enzikkirizza ez’enjawulo ku tteeka empya kuddiini n’enzikkiriiza.
Kino kiddiridde abasumba eb’enjawulo nga bakulembedwamu omusumba wa balokole Robert Kayanja owa miracle center cathedral bwe basabye Museveni okutunula mu bbago lino lye bagamba nti ligenderedwamu ku banyiiza.
Museveni ategezezza nga bwekyetagiisa okusisinkana…
Bya Juliet Nalwoga, Eby’okwerinda binywezedwa mu Kampala ne bitundu ebiriranyewo wakati w’olukugaana lw’ababaka ba palamenti b’amawanga agaaliko amatwale ga Bungereza olw’omulundi ogwa 64.
Abakungu abawereddala 500 be bagenda okulwetabamu era lwa kuyindira ssabiiti nnamba wali e Munyonyo, nga lugenda kwetabwamu abakubiriza ba palamenti, abamyuka baabwe n’ababaka okuva mu mawanga ag’enjawulo.
Bwabadde ayogerako eri bannamawuliire ,Ssekamwa wa poliisi…
