Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Abagambibwa okutemula Nagiriinya bavunaniddwa

Bya Ruth Andera Abantu 4 abavunanaibwa okutemula omukozi mu kitongole kyobwankyewa Maria Nagirinya neyali amuvuga Ronald Kitayimbwa olwaleero basimbiddwa mu maaso gomulamuzi wa kooti ya Mwanga 11, nebavunanibwa emisango 6 okuli obutemu, okuwamba,nobwa kkondo. Abavunanwa kuliko Coporiyamu Kasolo omutembeeyi wengatto e Nateete, Johnson Lubega atalina mulimu nga mukozi mu Kigaga zooni e Nateete, Nassif Kalyango ne Hassan…

Read More

Abazigu basse ebisolo by’abatuuze e Mpigi

Bya Sadat Mbogo Abantu abettima balumbye ekyalo Lutunku mu ggombolola y'e Kawanda mu district ey'e Ssembabule nebatemaatema ente z'abatuuze nebazitta. Omu ku bakoseddwa Joweria Nanfuka atubuulidde nti abantu bano baabalumbye mu kiro era obwedda ente zaabwe bazitemamu ebintu bisatu nebaleka awo. Nanfuka agambye nti mu zimu ku nte ezitemeddwa kubaddeko n'ezamawako nga zibuzaayo akabanga katono zizaale. Ekigendererwa ky'abakoze kino…

Read More

Omusajja asse mukazi we n’amulyamu omutima

Bya Magembe Sabiiti Entiisa ebutikidde abatuuze ku kyalo Kyangota mu gombolola ye Katikala mu district ye Kakumiro, omusajja bwatemyeko mukazi we omutwe n’oluvanyuma namusalamu omutima nagulya. Ssentebe we gombolola ye Katikala Kabagambe Everist atubulidde nga bwebabadde bamaze enaku 2 nga banoonya Oliva Ndagizimaana nga talabikako okutuusa lwebakute bbawe ategerekeseko erya Ambrozi abategezezza nga bweyatta mukazi we namuziika mu kinya nga amutebereza…

Read More

Museveni avudemu omwasi ku bya America ne Kayihura

Bya Prossy Kisakye, Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni avudemu omwasi kubya America okukugira eyali senkagale wa poliisi Kale Kayihura, okugenda munsi yaabwe. Museveni agamba nti akakyamukiriro ab’oludda oluvuganya keboleseza kunsonga eno kaabadde teketagisa Bino bibadde mu bbaluwa ye gyawandikidde bannauganda bayita Bazzukulube Museveni yenyamidde okulaba nti ab’oludda oluvuganya baasanyuse nyo nga munnauganda munaabwe asongedwamu olunwe nagamba nti kino kiraga…

Read More

Bannaddiini bavudeyo ku ddembe ly’abaana n’abakyala

Bya Moses Ndaye,Bannaddiini n’ebibiina by’obwanakyewa bagasse amaanyi okulwanyisa ebikolwa eby’okutulugunya abaana n’abakyala. Ssabawandiisi w’ekibiina ekitaba enzikkiriza ki Uganda Joint Christian council Rev. Constantine Mbona-bingi agambye nti abakulembeze b’enzikkiriza balina okukwatagana okulaba nti ebikolwa ebityoboola eddembe lya baana bifuuka olufumo mu ggwanga lino. Bino abyogedde batongoza kawefube atumiddwa creating one church united to end violence against children and…

Read More

Abantu babiri b’etuzze mu bitundu by’e Kigezi

Bya Prossy Kisakye, Poliisi mu disitulikiti y’e Kabale etandise okunonyereza ku kyavirideko omusajja ategerekese nga Samuel Barisigara ow’emyaka okwetugira mu nju ye. Kigambibwa nti omugenzi abadde n’ekizibu ku bwongo era abadde ku bujanjabi mu ddwaliro ekkulu e kabale Mutabaniwe Kajungu agamba nti kitaawe yakedde ku mugamba nga bwayagala okufa wabula ye nanyooma ebigambo bye nga alowooza nti…

Read More

Oluguuddo lwa Entebbe Express lwa kusasulibwa omwaka ogujja

Bya Benjamin Jumbe, Ekitongole ekivunanyizibwa ku nguuddo mu ggwanga ki Uganda National Roads Authority kirina essuubi nti bannauganda bakukolagana bungi ne kampuni eneweebwa omulimo gwokusoloza ensimbi ku bakozesa oluguudo lwa Entebbe Express highway Bukya luguuddo luno lutandika okukola emotoka zibadde ziyitirawo ku bwerere okutuusa gavumenti lweneteekawo kampuni egenda okukola omulimo gwokululabirira. Akulira wekitongole kino Allen Kagina agamba…

Read More

Abavunanyizibwa ku byensoma basabiddwa

Bya Damali Mukhaye,Bannabyanjigiriza bagala minisitule ye byenjigiriza ne kitongole ekivunanyizibwa ku bigezo mu ggwanga ekya UNEB okulonda abagolola ebigezo n’ababitegeka mu bwenkanya buli kitundu ky’eggwanga kirondobwemu. Okusaba kuno we kugidde nga esigaddeyo ennaku ntono nyo abayizi aba-senior ey’okuna okutandika ebigezo byabwe ebyakamalirizo Jonathan Kivumbi, munnabyanjigiriza agamba nti waliwo amasomero agamanyidwa nga galina abasomesa abasoba mu 10 abategeka…

Read More

Poliisi erabudde ku balonda buli kye basanze

Bya Prossy Kisakye, Poliisi erabudde bannauganda naddala abalonda sikulaapu okubeera ab’egendereza ku bintu bye balondalonda. Kino kidiridde ekintu ekyefananyirizako bbomu okubwatuka olunaku lw’eggulo wali mu katawuni k’e Mabanda e Matugga mu disitulikiti y’e wakiso omuntu omu nafiirawo n’abalala 8 ne batusibwako obuvune obw’amaanyi Amyuka omwogezi wa poliisi mu kampala ne miriraano Luke owoyesigire agamba nti kyabulabe nyo…

Read More

Ssabalabirizi alonze akakiiko

Bya Benjamin Jumbe, Ssabalabirizi w’e kanisa ya Uganda anatera okuwumula Stanley Ntagali atadewo akakiiko akagenda okukulira enteekateeka ez’okutuuza ssabalabirizi omugya Samuel Kazimba Mugalu. Emikolo egy’okumutuuza gyakubeerawo nga 1st march 2020 ku lutiko e Namirembe. Akakiiko akalondebwa okukulembera enteekateeka z’emikolo kakukulemberwa Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa Abalala abali ku kakiiko kuliko ssabaminisita Dr Ruhakana Rugunda, eyali ssabaminisita Amama Mbabazi,…

Read More

90.4DembeFM LIVE
Live radio Omuziki Nebikuzimba Click to play