Bya Juliet Nalwoga, Nga uganda yegase kunsi yonna okujaguza olunaku lwa democracia, ekibiina ky’obwannakyewa ekitakabanira okulonda okw’amazima n’obwenkanya ki citizens coalition for electoral democracy (CCEDU) kisabye abavubuka okwenyigira mu kulonda kwa 2021.
Omukwanaganya w’ekibiina kino Crispy Kaheru, agamba nti wetunatukira mu kulonda kwa bonna okwa 2021 uganda ejjakuba na balonzi abali wakati w’emyaka 18-40 abakola ebintu…
Bya Prossy Kisakye, Omubaka wa Kyadondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi aka Bobi Wine asabye abakuuma ddembe obutakkiriza kukozesebwa pulezidenti kubanga waliwo essaawa eyokwanukulira buli kyebakoze.
Kyagulanyi okwogera bino nga mu sabiiti ewedde eggwanga lya America lyaganye eyali ssabapoliisi w’eggwanga lino Gen Kale Kayihura ne famile ye okudamu okugenda munsi yaabwe oluvanyuma lwokutegezeeza nti Kayihura…
Bya Damali Mukhaye, Minisita Rosemary Sseninde asabye gavumenti okubaako kyekola okwagazisa abaana abobulenzi emirimu gy’omumutwe
Ono agamba nti gavumenti ebadde efubye okutandikawo amasomero g’eby’emikono okwetoloola eggwanga wabula tegetaniddwa baana ba bulenzi, bawala bebagalimu
Kino akitadde ku kyakuba nti tewali kusomesebwa eri abaana abalenzi ku birungi ebiri mu kusoma omulimo gw’omumutwe.
Sseninde kati ayagala gavumenti ebeeko kyekola okwagazisa abaana…
Bya Abubaker Kirunda, Entiisa ebutikidde abatuuze b’e Kiyini-kibi mu municipaali y’e Jinja oluvanyuma lw’okugwa ku mulambo gwomusomesa eyetugidde munju ye
Omugenzi ategerekese nga Robert Mukembo nga abadde asomesa Namayemba primary Schhol mu Namayemba Town Council mu disitulikitu ye Bugiri.
Omwogezi wa police mu bitundu bye Busoga East James Mubi agamba nti ekyavirideko omusomesa ono okwetuga tebanakitegeera bulungi.
Omulambo…
Bya Prossy Kisakye, Omusirikale wa police munnansi weggwanga elya south sudan abadde akolera ku police ye Magwi County mu municipaali ye Gulu mu disitulikiti ye Gulu abutikidwa kabuyonjo bwabadde agenze okwetewuluza naafiirawo.
Omugenzi ategerekese nga Daniel Deng Kul nga aweza egy’obukulu 39 nga mutuuze w’e Konyagoga parish.
Kigambibwa nti ono yafulumye okugenda mu kabuyonjo ab’ekka balabidde awo…
Bya Benjamin Jumbe, Omukulembeze weggwanga lya South Africa Cyril Ramaphosa yetonde Africa ku bulumbaganyi obukolebwa ku bagwira abali munsi ye omwafiira abadugavu abawerako.
Ramaphosa asinzidde ku mukolo ogwokusabira eyali omukulembeze weggwanga lya Zimbabwe Robert Mugabe
Kino kidiridde abakungubaazi okumungoola bwayanirizibwa okwogerako eri abantu.
Ramaphosa avumiridde obulumbaganyi buno era nategeeza nti South Africa tewagira busosoze nategeeza nti gavumenti yakulwana…
Bya Damali Mukhaye, Omukulembeze weggwanga yoweri Museveni awadde bannauganda kungeri yokukolamu sente.
Bino Museveni abyogeredde wakiso ku mattikira ga bayizi abasoba mu 30,000 ababangulibwa mu byemikono mu ntekateeka ya seninde foundation.
Museveni agamba nti bannauganda bwebaba bakufuna ensimbi basanye benyigire mu by’obulimi, mu byempereza, mu makolero ne bya technologia.
Ono agamba nti abantu abali mwe byo bafunye nyo…
Bya Prossy Kisakye, Abazadde balabuddwa okwerinda ebintu ebicuupule ku katale mu biseera bino eby’okuza abaana ku masomero kubanga by’ebisinga obungi nga ku buli 100 ebitundu 50 bicuupuli.
Akulira ekibiina omwegatira abasuubuzi b’omu Kampala ekya Kacita Everest Kayondo alabudde abazadde okwerinda abatembeeyi n’abatundira ku kkubo kubanga bakwata kisooka mu kutunda ebintu ebitatuukana namutindo.
Ono agamba nti abazadde basanye…
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole ekirondoola omutindo mu ggwanga ki uganda national bureau of standards kiboye bokisi z’eddagala ezibalirirwamu obukadde 270 mu kikwekweto ekikolebwa mu bbanga lya nnaku 10 zokka.
Ebikwekweto bino biyindidde mu district okuli Kampala ne wakiso
Okusinzira kwakulira ebikwekweto mu bitundu bya masekati William tamale agamba nti bakute bokisi 541 okuva mu bifo ebitalina bisanyizo,…
Bya Ivan Ssenabulya, Abatuuze be lowanabuti mu minicipaali ye mukono bagudde ekyekango bwebagudde ku mulambo gwomukyala agmbibwa okuba nti ono yafiiridde mu nyumba mu kiro ekikeseza olwaleero.
Omugenzi ye Gorret Nabukenya nga aweza egyobukulu 27.
okusinzira ku batuuze Kigambibwa nti ono abadde ne kirwadde kye Nsimbu ate nga yasuze yeka.
Poliisi okuva e wantoni etuuse ne gyawo omulambo…
