Bya Nalwooga Juliet,
Poliisi mu Disitulikiti y’e Bushenyi eriko abakuumi babiri abeegattira mu kitongole kya Ruhama Veterans Uganda Ltd, bekutte ku misango gy’okukuba omusomesa wa pulayimale amasasi agamugye mu budde.
Marcial Tumusiime, omwogezi wa poliisi mu greater Bushenyi ategeezezza nti omulambo gw’omugenzi gwasangiddwa nga gugalamidde ku ssundiro ly’amafuta nga nengoye ziyurise ekiraga nti wabaddewo okusika omuguwa nga…
Bya Prossy Kisakye,
Ssenkangale w’ekibiina ky’’ebyobufuzi ekiri kuludda oluvuganya ekya Forum For Democratic Change (Fdc) Eng Patrick Amuliat Oboi asekeredde abantu abalowoza nti ekibiina kino kyagwamu, nagamba nti Fdc yazimbibwa kumusingi omugumu ddala nebwebuliba ddi kirikwata obuyinza.
Amuliat bino abadde mu katale ke Nakawa ku yafeesi za Fdc, abakulu mu kibiina kino okubadde Ssabawandiisi wekibiina Nandala Mafabi,…
Bya Ruth Anderah,
Ssalongo asimbiddwa mu maaso g'omulamuzi ku kkooti ya Buganda road kubigambibwa nti yabba emigogo j'engato munaana.
Twesenge Hilary yasimbiddwa mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Fidelis Otwao, amusomedde omusango gw'obubbi nagwegaana.
Kigambibwa nga mutuuze we Kasubi, engato yazibba nga January 22nd 2023 okuva e Nakasero wano mu Kampala.
Engato ezigambibwa okubbibwa zaali zibalirirwamu ensimbi za…
Bya Ruth Anderah,
Abantu babiri basimbiddwa mu kkooti ku bigambibwa nti beefudde abaserikale ba poliisi ne batandika okukwata pikipiki ne takisi mu kibuga Kampala.
Bano kuliko Edgar Mubangizi ow’emyaka 43, omukuumi ow’obwannannyini ne Erias amuyindi ow’emyaka 34 omwetisi wemigugu ku Kalungi plaza era nga mutuuze mu Ttula zooni e Kawempe.
Bano balabiseeko mu kkooti ya Buganda Road wansi…
Bya Prossy Kisakye,
Sipiika wa palamenti Anita Among asabye babaka banne obutatiisibwatiisibwa nti singa bayisa etteeka erikugira ebisiyaga mu ggwanga lino, bagenda kumibwa viza ezibayingira mu Amerika.
Bino abyogeredde oluvanyuma lwa minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija okuwaayo satifikeeti ekwata ku by’ensimbi, mu kutambula ebbago lye teeka ku kulwanyisa ebisiyaga.
Among era ayambalidde bannamawulire abawano ne bweru weggwanga abasinzeko palamenti…
Bya Juliet Nalwooga,
Abantu abakakasibwa okuwaayo ettaka lyabwe okusobozesa gavumenti okuzimba omudumu gwa mafuta ogugenda e Tanzania batutte okwemulugunya kwabwe eri minisita w’ebyamateeka wamu ne Ssaabalamuzi ku nsonga z’obwenkanya obukandaliridde okubaweebwa.
Bano bakosebwa ne pulojekiti endala okuli Tilenga ne Kingfisher.
Mu kiwandiiko kyaabwe, eri abakulu bano minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka Nobert Mao n’omulamuzi omukulu Alfonse Owinyi-…
Bya Rita Kemigisa,
Alipoota empya eyafulumiziddwa ekitongole ekirwanirira eddembe lya baana munsi yonna ekya UNICEF eraga nti omuwendo gw’abawala n’abakyala abato abali embuto n’abayonsa abatawaanyizibwa endya embi gweyongedde okuva ku bukadde 5.5 okutuuka ku bukadde 6.9 okuva mu 2020 mu mawanga 12 agasinze okukosebwa ennyo olw’obuzibu bw’emmere n’endya mu nsi yonna.
Amawanga 12 okuli Afghanistan, Burkina Faso,…
Bya Kiguli Diphas,
Ebintu ebibalirirwamu obukadde bw’ensimbi bitokomokedde mu nabbambula w'omuliro atanategerekekako gyavudde mu kibuuga Mukono amadduka asaatu ku kyalo Upper Kauga negasaanawo.
Okusinziira kw’omu ku bannayini maduuka gano Emmanuel Mugerwa agamba nti emmaali mpitirivvu esanyeewo mu kiifo kino era nga basabye gavumenti okubakwasizako kubanga ekifo kino kibadde kiganyula abavubuka abasuuka mu makuumi ataano.
Ebimu ku bisirikidde mu…
Bya Prossy Kisakye,
Abakyala okuva mu kibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party basabye abakungu ba gavumenti bonna abakyala abeenyigira mu nsonga zókukupanya obuyambi obwali bulina okujjuna abawejere be Karamoja balekulire ebifo byabwe mu bwangu.
Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga sipiika wa palamenti yalagira dda akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga za pulezidenti okunoonyereza…
Bya Ruth Anderah,
Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo atenderezza omugenzi abadde omulamuzi wa kkooti ejulirwamu, Kenneth Kakuru, nga mmemba omukulu ku kkooti eno era omulwanirizi w’eddembe ly’obuntu nategeeza nti bannauganda bakusubwa nyo obuweerezabwe.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire mu kkooti enkulu, Ssaabalamuzi Alfonse Owiny Dollo abikudde ekyama nti omulamuzi Kakuru ow’emyaka 65 yafudde ku ssaawa nga 7:23 ez’oku makya…