Amawulire
Abatuuze bakutte abadde abasera
Bya Abubaker Kirunda, Abatuuze ku kyalo Nabitende-Banda mu gombolola y’e Kidago e Iganga bakutte omusajja ateeberezebwa okuba omusezi. Ssentebe wa LC3 mu kitundu kino Edward Nyongesa ategeezezza nti ono akwatiddwa ku ssaawa nga 1.30 ez’oku makya ng’atambula bukunya ng’akonkona ku nzigi z’abatuuze ab’enjawulo. Nyongesa agamba […]
Poliisi yakusigala nga ekugira enkungana ezitagoberedde mateeka
Bya Rita Kemigisa, Poliisi eyogedde kunsala ya kkooti okusazaamu ebiragiro ebiri mu tteeka erifuga enkungaana mu ggwanga erya Public Order Management Act (POMA), eryayisibwa palamenti mu 2013, eriwera okwekalakaasa n’enkiiko z’olukale ezitakkirizibwa babyakwerinda. Kkooti yatuuse ku kusalawo kuno mu kuwuliriza omusango oguvunaanibwa pulezidenti w’ekibiina ky’ebyobufuzi […]
Museveni ayagala kumanya ensonga esindikiriza abali b’ebisiyaga
Bya Nalwooga Juliet, Omukulembeze weggwanga Museveni akkiriza wabeewo okukubaganya ebirowoozo okufuna ebyokudamu ku muzze gwe bisiyaga ogumamidde eggwanga okusobola okuzuula lwaki abantu basalawo okuwakanya okuteesa kwa katonda omusajja okwagala musajja munne songa abakazi webali. Bwabadde ayogerako eri ababaka ba palamenti mu lutuula olw’enjawulo olubadde ku […]
Gavt entongoza pulogulamu egenda okuyambako abasuubuzi
Bya Prossy Kisakye, Ekitongole kya Uganda Export Promotion Board (UEPB) nga kiri wamu n’ekitongole ky’ensi yonna ekya International Islamic Trade Finance Corporation (ITFC) ne ofiisi ya Trade Facilitation office eye Canada batongozza enteekateeka gye batumye Export Launchpad Uganda okuwa abasuubuzi abali mu bulimo obutonotono obudukanyizibwa […]
Kaliisoliiso atandise okunonyereza kubegabanya obuyambi bwé Karamoja
Bya Rita Kemigisa, Kaliisoliiso wa Gavumenti Betty Kamya ategeezezza nga offiisiye bweeli mu konoonyereza ku mugatte gw’abantu 156 n’ebitongole ebilabikidde mu mivuyo gy’amabaati agaali aga Karamoja okuva mu offisi ya Ssabaminista. Betty Kamya agamba nti 21 ku bano 156 ba Minister, 28 babaka Parliament ne […]
Abagalana abamerica abaatulugunya omwana omusango gwabwe gwongedwayo
Bya Ruth Anderah, Abagalana bannansi b’eggwanga lya America abali ku misango gy’okutulugunya ebbujje omusango gwabwe gusindikiddwa mu kiwayi kya kkooti enkulu ewozesa emisango gy’ensi yonna wano mu Kampala. Bano bali ku misango4 okuli ogw’okukukusa abantu, okutulugunya ebbujje ely’emyaka 10, okuwangalira mu Uganda mu ngeri emenya […]
KCCA eragiddwa okuleeta empapula ezikwata ku bavubuka abafuna ensimbi zókwekulakulanya
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku bikolebwa ebitongole bya gavumenti kalagidde abakungu okuva mu KCCA okuteeta ebiwandiiko byonna ebiraga ebibiina by’abavubuka eby’enjawulo ebyafuna ensimbi okuva munsawo ya bavubuka. Akakiiko era kalagidde KCCA okuleeta olukalala okuli ennamba za masimu eri bammemba b’ebibiina eby’enjawulo abaafuna […]
Abaana bésomero basatu bafudde
Bya Nalwooga Juliet, Poliisi mu Disitulikiti y’e Butaleja ekutte dayirekita w’essomero lya Golden Heart Junior Nursery and Primary School ku kyalo Buwesa mugombolola ye Busabi oluvannyuma lwékikomera ky’essomero okugwa abayizi basatu ne bafiirawo n’okulumya abawerako. Omwogezi wa Poliisi mu bitundu by’e Bukedi South, Moses Mugwe […]
Bapulida bagambibwa okutta Kirumira bagala agibweko emisango
Bya Ruth Anderah, Ba pulida b’omusajja Abubaker Karungi agambibwa okwetaba mu kutta eyali omusirikale wa poliisi, Mohammed Kirumira basabye kkooti emwejereze omusango. Bano bagamba nti oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obulumika omuntu wabwe nti ddala ye yatta Kirumira ne mukwano gwe Resty Mbabazi Nnaalinya. Olwaleero […]
Poliisi ekutte abakuumi abasse Dereeva
Bya Mike Sebalu, Poliisi y’e Nateete ekutte abakuumi ab’obwannannyini 2 ku misango gy’okutta ddereeva eyatomera ofiisi zebakuuma. Bino byabadde ku kizimbe kya Nateete Agape ku ofiisi ya Pride Microfinance nga kigambibwa nti omugenzi emotoka yamulemerera nayingirira ekizimbe kino kwekumukuba amasasi agamugya mu budde. Bwabadde ayogerako […]