Bya Ruth Anderah,
Kkooti ya Buganda road egobye okusaba kwa munnamateeka w'omu Kampala Felix Kintu Nteza owa Kintu Nteza and Company Advocates kwabadde ataddeyo nga ayagala emisango egimuvunanwa kampuni ya Interlink Education Services Ltd giyimirire nga enteseganya zabwe wabweru wa Kkooti bwezigenda mu maaso.
Kintu alabiseeko mu maaso g'omulamuzi we daala erisooka Fidelis Otwao agobye okusabakwe era omusango nagwongezaayo…
Bya Kevin Githuku,
Bakakensa mu dembe ly’obuntu nga batuula ku kakiiko ky’ekibiina ky’amawanga amagatte basabye Pulezidenti Museveni okwekuba mu kifuba aleme kuteeka mukono ku tteeka ekikangavvula abali b’ebisiyaga eryayisibwa Palamenti gyebuvuddeko nga bagamba nti ebyakoleddwa byonna bityoboola eddmebe ly’obuntu.
Palamenti yayisa ebbago n’ebibonerezo ebikakali eri omuntu asangiddwa nga alya ebisiyaga, asenda senda omulala okubirya, abyogerera n’ekigendererwa eky’okusikiriza…
Bya Mike Sebalu,
Ababaka ba palamenti abava mu kibiina kya NRM ekiri mu buyinza leero bakutuula okusalawo ku baminisita abalumirizibwa okwenyigira mu kwegabanya amabaati agaalina okuva mu Offisi ya Ssabaminista okuweebwa abantu be Karamoja.
Olutuula luno lwabadde lwakubeerawo lunaku lwajjo wabula ne lwongezebwayo oluvanyuma lwa pulesidenti Museveni era Sentebe w’ekibina eyabadde alina okulukubiriza okubeera n’ensisinkano endala ne…
Bya Ruth Anderah,
Oludda oluwaabi mu kkooti y’amaggye e Makindye luzzeemu okuwakanya okusaba okwokweyimirirwa okw’abawagizi b’ekibiina kya NUP 32 abavunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’ebissi mu ngeri emenya amateeka.
Kino kiddiridde oludda oluwaabi olukulembeddwamu Lt. Gift Mube-hamwe okuwakanya eky’okuyimbulwa kwa basibe bano ku kakalu ka kkooti nga agamba nti abavunaanwa bano bayanjudde abalina okubeyimirira songa nabo bazzi bamisango era…
Bya Ruth Anderah,
Omuvunanwa omukulu mu jusango gwokutta omuwala Maria Nagirinya ne derevawe Ronald Kitayibwa, Compriyam Kasolo, agobye akulira bambega b’oludda oluwaabi mu kaguli bwabadde azze okumuwaako obujjulizi.
Detective Sgt Barasa James abadde aleetebwa ngomujjulizi owa 21 era asembayo owoludda oluwaabi wabula Kasolo nategeeza omulamuzi aguli mu mitambo, Isaac Muwata, nti wakukkiriza Barasa muwako bujjulizi nga teyasoose…
Bya Abubaker Kirunda,
Poliisi mu disitulikiti y’e Namayingo ezudde omulambo gw’omwana ow’emyaka 4 eyabula ku bazaddebe ku ntandikwa y’omwezi guno.
Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Namayingo, James Kakana ategeezeza nti omugenzi ye Rahma Nalubega muwala wa Yasin Muwanguzi omutuuze w’e Namayunju wakati mu tawuni kanso y’e Namayingo.
Kakana ategeezezza nti Nalubega yabbibbwa mu maka g’abazadde mu kiro…
Bya Prossy Kisakye
Poliisi mu Kampala ekutte bannakyewa musanvu okuva mu kibiina kya Torture Survivors Movement Uganda ababadde beekalakaasa nga bawakanya Poliisi okulemererwa okukwata abakungu ba gavumenti abo bonna abeenyigira mu nsonga zókwezibikka amabaati agalina okuweebwa abawejere e Karamoja.
Abaakwatiddwa babadde baagala Baminisita, Sipiika wa Palamenti, omumyuka wa Pulezidenti, n’ababaka ba NRM bonna bakwatibwe kubigambibwa nti bagabana…
Bya Mike Sebalu,
Tiimu ya Uganda ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes leero ettunka ne Taifa Stars eya Tanzania mu Benjamin Mkapa National Stadium e Dar-es-Salaam ku saawa bbiri ez’ekiro.
Guno mupiira gwakuddingana oluvanyuma lwa Uganda okukubirwa omwaayo e Misiri ennaku 4 emabega goolo 1-0.
Zino mpaka zakusunsulamu abalisamba ekikopo kya Africa nga amawanga amalala gebali nabo mu kibinja…
Bya Rita Kemigisa,
Obungi bw’abantu abasaabala nga bakozesa ekisaawe ky’enyonyi Entebbe bweyongedde mu myeezi 2 egyasooka mu mwaka 2023 bwogerageranya ne bwegwali emyeezi gyegimu omwaka oguyise.
Omwogezi wékitongole ekivunanyizibwa kuntambula yébyenyonyi mu ggwanga, ki Uganda Civil Aviation Authority, Vianney Luggya agamba nti ekisaawe kyafuna abantu abasaabala emitwalo 6 mu 6,565 nga batuuka ate emitwalo 7 mu 3,217…
Bya Ruth Anderah,
Abantu babulijjo abaludde nga batunuulira empozesa y’omusango gw’okutemulwa kw’eyali omusiirkale wa Poliisi Mohamad Kirumira bawadde Kkooti enkulu mu Kampala amagezi okwejjereza Abu-Baker Kalungi nga ye musibe omukulu gwebalumiriza okutemula Mohammad Kirumira eyali omusirikale wa Poliisi eyattibbwa mu bitundu by’e Bulenga.
Bano okuli Jackline Nafula ne Jackline Nabuufu bawaddeyo endowooza yabwe eri Omulamuzi Margret Mutonyi…