Amawulire
Ab’e Butabika bagala obuwumbi 3.5 okuyingiza abasawo abakungu
Bya Prossy Kisakye, Eddwaliro elijanjaba abalwadde b’emitwe e Butabika liri ku muyiggo gwa buwumbi bwezakunao 3 n’ekitundu mu mbalirira ey’omwaka gwa 2023/24 liwandiise abakugu abanaliyambako mu bujanjabi. Abalikulira nga babadde balabiseeko eri kakiiko ka Parliament akakola ku by’obulamu, bategeezezza nga bwebatalina basawo bakugu bamala ate […]
NEMA yakuteeka ebipipa omuteekebwa Kasasiro kunguudo ennene
Bya Mike Sebalu, Ekitongole kya Gavumenti ekivunanyizibw ku butnode ekya NEMA, kitegeezezza nga bwekigenda okukolaganira awamu n’ebbuga ebinene wonna mu gwanga okuteeka ebipipa ebikunayizibwamu kasasi ku nguudo ennene abantu mwebasobola okusuula kasasiro okusinga okumala gamumansa. Ono y’omu ku kawefube eyatandikiddwako mu lutalo lw’okumalawo obukyafu mu […]
Bana kubawagizi ba NUP 32 abali mu Komera bayimbuddwa
Bya Ruth Anderah, Kkooti y’ekinnamagye etuula eMakindye eyimbudde banna kibiina Kya NUP 4 kwabo 32 abavunanibwa ogwokusangibwa nebissi saako nebyambalo byekijaasi ngaate sibasirikale. Abayimbudwa bakwatibwa mumwezi gwa May wa 2021 ng’eggwanga lyakava mukulonda kw’abonna okwalimu vvawo mpitewo. Abayimbudwa kuliiko Richard Nyombi Shafiq Ngobi, Kenneth Kamya […]
FDC eyagala gavt eyonnyole wa Uganda wefunira okusindika amaggye e Congo
Bya Damali Mukhaye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change kiwadde pulezidenti Museveni ne palamenti omulimu okunnyonnyola engeri Uganda gy’egenda okuganyulwa mu kuyiwa amaggye ga Uganda mu DR Congo. Abajaasi ba UPDF 5,000 nga bakulembeddwamu Col Michael Walaka wiiki ewedde baasimbiddwa […]
Kiplimo alondebbwa ngómuzannyi asinze omwezi oguwedde
Bya Mike Sebalu, Omuddusi w’embiro empanvu Jacob Kiplimo alondeddwa bannamawulire bannabyamizannyo wansi w’ekibiina ekibataba ki Uganda Sports Press Association (USPA) nga munnabyamizannyo asinze banne omwezi oguwedde. Mu lukungana lwabwe olutuula buli bbalaza esooka mu mwezi olutudde ku imperial Royale hotel wano mu Kampala, Jacob Kiplimo afunye […]
Laddu esse omukyala owémyaka 70 e Mayuge
Bya Abubaker Kirunda, Laddu ekubye omukazi ow’emyaka 70 mu Disitulikiti y’e Mayuge n’afiirawo. Omugenzi ye Walyonka Mutesi omutuuze ku kyalo Walumbe mu gombolola y’e Bukatube mu disitulikiti y’e Mayuge. Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino Anthony Obwinyi agamba nti omugenzi Laddu emusanze mu nnyumba […]
Aba NEED basanyikidde ekya Odinga okuyimiriza okwekalakaasa e Kenya
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kuludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kisiimye omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Kenya Raila Odinga olw’okuyimiriza okwekalakaasa okutaasa eggwanga okuva mu kavuyo. Omwogezi wa NEED, Moses Matovu ategeezezza Dembe FM, nti wadde Odinga yalina ensonga entuufu lwaki yeekalakaasa […]
Owasikulapu asindikiddwa e Luzira
Bya Ruth Anderah, Omusajja omukunganya wa sikulapu avunanibwa nasindikibwa mu komera e Luzira ku misango gyobubbi. Moses Kasimbi ow’emyaka 47 omutuuze w’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso yeeyanjudde mu kkooti y’e Buganda road wansi womulamuzi Fidelis Otwao n’awakanya omusango gw’okufuna ssente nga yeefudde obulimba ogumusomeddwa. […]
Ekizimbe kigudde ne kitta omwana, abalala 6 balumiziddwa mu Nyendo
Bya Gertrude Mutyaba, Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu kabuga ka Nyendo enkuba ekedde okutonnya obutasalako bwesudde ennyumba okukakkana nga esse omwana abalala mukaaga nebagendera ku bisago. Omugenzi ategeerekese nga ye Mayimuna Nansamba nga abadde mutuuze mu Mukudde zone mu division ya Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka. Kinajjukirwa […]
Abóludda oluvuganya mbanjiza embalirira yéggwanga eyabwe
Bya Mike Sebalu, Aboludda oluvuganya gavt mu palamenti leero basomye embalirira yabwe gye basuubira nti gavt eri mu buyinza gyeyalyesigamyeko okuteekeratekeera eggwanga mu mwaka gwe byensimbi ogujja 2023/24. Bano bawabudde nti mu kifo kya gavt okwagala okusasanya obusee 49 nobuwumbi 900 esannye esale ensimbi zino […]