Bya Mike Sebalu. Poliisi mu district y’e Manafwa, egumbuludde abantu mu kitundu ekyo ababadde batandise okwekalakaasa nga bawakanya eky’okukwatibwa era n’okuggalirwa kw’omubaka wabwe omukyaala mu Paalamenti y’eggwanga era Minisita w’ensonga z’e Karamoja Goretti Kitutu.
Okwekalakaasa kuno kubadde kutegekeddwa mu bubuga bubiri okuli ak’e Bubulo ne Butiru.
Minisita Kitutu yakwatibwa sabiiti ewedde natwalibwa mu Kooti eya musindika mu…
Bya Juliet Nalwoga. Poliisi eyongedde okubaako fayiro z’emisango gy’abamu ku bakungu ba gavumenti abali mu mivuyo gy’okubulankanya amabaati ga gavumenti zesindise eri Ssaabawaabi wa gavument abeeko engeri gyalungamya ku misango egitereddwa ku fayiro ezo.
Sabiiti ewedde, Minister w’ensonga ez'e Karamoja, Gorreti Kitutu, fayiro ye yakorwako era oluvanyuma yatwalibwa mu Kooti, ono eyamusindika mu komera e Luzira…
Bya Ritah Kemigisa. Poliisi y’ebidduka etegeezezza ng'abantu 37 bebafiiriddwa obulamu mu bubenje obwaguddewo mu gandaalo ly’amazuukira elyakomekeredde olunaku lwa mande nga 10/04/2023.
Mu bano mwemuli n’aboluganda okuva mu nyumba 2 mwenda (09) bano nga batokomokedde mu kabenje akaagudde mu district y’e Lwengo ku lunaku lwa good Friday.
Ayogerera Poliisi y’ebidduka Faridah Nampiima ategeezezza olukiiko lwa bannamawulire olwa…
Bya Ritah Kemigisa. Minister w’ebyensimbi Matia Kasaija asabye abakulembeze bazi gavumenti ez’ebitundu obutadibuuda nsimbi zibawereddwa kubanga gavumenti ennaku zino ensimbi zigyekubya mpi.
Kasaija agamba nti government mu kiseera kino terina sente ate ng’ebyetaago byeyongera buli olukya.
Kasaija abadde ayanukula ku bizibu ebiviiriddeko okutambula akasoobo kw’emilimu gya gavumenti mu bitundu by’omubyaalo.
Bino webijidde nga n’ezimu ku nsimbi ezibadde ziyambako…
Bya Mike Sebalu. Ababaka ba Parliament okuva mu bitundu bya West Nile baagala gavumenti okwaguyako okuyunga ekitundu kyabwe ku masanyalaze g’eggwanga, abantu bebakulembera basobole okwenyigira mu milimu egivaamu ensimbi n’okugatta ettofaali ku nkulakulana y’eggwanga.
Bano era baagala n’ebisuubizo ebyeyamibwa gavumenti mu kalulu k’omwaka gwa 1996 bituukirizibwe.
Okwogera bino, babadde mu ketegekelero kakwaniriza mukulembeze wa ggwanga Yoweri Kaguta…
Bya Mike Sebalu. Obusumba bw’e Klezia Katolika e Hoima bufulumizza enteekateeka y’okuziika eyali omusumba w’obusumba bw’e Hoima Edward Albert Baharagate.
Omugenzi Baharagate yafa ku lunaku lwakusatu nga 05/04/2023 mu dwaliro e Nsambya ku gy’obukulu 93.
Okuva ku lunaku lw’eyafa, omulambo gwe gubadde gukuumirwa mu gwanika mu dwaliro e Nsambya.
Kati Chaplain w’ekibiina ki Hoima Diocese External Residents Association…
Bya Juliet Nalwooga. Poliisi yé Kasangati esangibwa mu Kasangati Town Council ekutte abantu 5 abateberezebwa okubeera ekitundu ku kibinja ky’abateberezebwa okubeera ababbi ekibadde kitegese obunyazi, oluvanyuma obulinyiddwamu eggere mu bitundu ebyé Namugongo.
Abakwate kuliko Charles Kawooya (myaka17), Akram Senkubuge (23), Enock Mwesigwa (32), Denis Sagara (27) wamu ne Ivan Mwanja (31).
Poliisi egamba nti waliwo nómukyaala Racheal…
Bya Mike Sebalu. Katikkiro Charles Peter Mayiga alabudde nga bwekijja okubeera ekizibu Uganda okutuuka ku mutendera gw’amawanga agali mu mbeera eya yadde yadde mu byénfuna ngébikorwa ebyóbuli bwénguzi byeyongera kufumbekera mu gwanga.
Mayiga era avumilidde nékkobaane alyalabikidde mu bubbi bwámabaati gé Karamoja era n’asaba enkola eya Federo elowooozebweko, gyagamba nti yenayamba okukola ku bizizbu ebiluma abantu…
Bya Mike Sebalu. Ssaabalabirizi wa Uganda kitaffe mu Katonda Samuel Steven Kazimba Mugalu yenyamidde olw’omuwendo gw’abataata abesuuliddeyo obuvunanyizibwa ku kulabilira abaana bebazaala nga n’amaka mwogatwalidde.
Ng’abulira mu kusaba kw’amazuukira ku Lutikko y’abakkiriza (All Saints Cathedral) e Nakasero, Ssaabalabirizi Kazimba ategeezezza nga kino bwekyeyolekera mu kunoonyereza okwakolebwa ekkanisa.
Agamba nti okusinziira ku bibalo ebyafulumira mu kunoonyereza, ba taata…
Bya Mike Sebalu. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye abakkiriza okufuba ennyo okusabira ebyo ebisomooza abantu n’eggwanga lyonna okutwalira awamu wakati mu kutambuza ekkubo ely'omusaalaba.
Mu byanokoddeyo mwemuli ebikolwa eby’obunnanfuusi, emisolo emingi, obulyake, okutyoboola empisa n’eby’obuwangwa, ebbula ly’emilimu mu bavubuka n’ebilala.
Mu bubaka bwe obwa Paasika obuvudde embuga, omutanda asabye okwebonereza n’okwegayilira abakkiriza kwebabaddemu mu kisiibo,…