Skip to content Skip to sidebar Skip to footer

Amawulire

Ssaabasajja ayongedde okukubiriza abantube okwewala akawuka ka Mukeneya

Bya Prossy Kisakye, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubiriza abaddube na bazaanabe okwetanira okubeera obumu lwebajja okutuuka ku buwanguzi. Kabaka okwogera bino asinzidde ku mbaga yókukuza amazaalibwage agomulundi ogwe 68 mu lubiri lwe e Mengo. Atendereza bannaddiini na buli muntu okwokumusabiira nga okuba nobulamu obulungi era nakuutira olukiiko lwa baminisitabe okulaba nti ssemasonga wa Buganda atuukirizibwa. Empologoma…

Read More

Kampuni y’aba China enazimba oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Tororo-Gulu

Bya Juliet Nalwooga. Gavumenti etadde emikono ku ntegeregana ne kampuni ya China eya M/S China Road and Bridge Corporation ya myaka 2 okuddaabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Tororo okugenda e Gulu. Oluguudo luno luwerako obuwanvu bwa kilo mita 375 era nga luyita mu bitundu okuli Mbale, Soroti, Lira ne Gulu. Omulimu guno gugenda kumalawo obuwumbi bwezakuno…

Read More

Eddwaliro ly’e Kawempe liwereddwa ekyuma ekibera munda mu mubiri

Bya Babra Anyait. Eddwaliro eddene ely’e Kawempe lukubiddwa enkata  yakyuma kikapyata ekikebera abakyala abali embuto n’embeera y’abaana ababeera  bebabeera bettisse nga tebannazaalibwa. Ekyuma kino kikozesebwa abakugu okumanya embeera y’olubuto nga lukula n’okumanya omwaana bwaali. Ekyuma kyekimu kikozesebwa okumanya ebitundu by'omubiri eby'enjawulo nga bwebibeera biyimiridde omuli omutima, emisuwa, amaaso, obwongo, olubuto, emifumbi nekalonda omulala. Bw’abadde akwasa abakulira eddwaliro lino…

Read More

Eyasudde omwaana omuwere mu kabuyonjo Poliisi emukutte

Bya Mike Sebalu. Poliisi e Kasangati eriko omwana omuto gwenyuludde okuva mu kinnya kya kabuyonjo ono nga kigambibwa nti yasuuliddwamu omuwala omukozi w’omudduuka mu kitundu ekyo ategerekekse nga Winnie Namulemba. Kiddiridde mukama we Blenda Bulyaba okwekubira enduulu ku Poliisi, ng'omukozi we  abadde asulirirwa okuzaala ate bweyasangiddwa nga talulina ate nga n’omwana tamulina. Ono oluvanyuma lw’okumukazakkaza, yasobodde okubatwala…

Read More

Leero mazaalibwa ga Ssaabasajja

Bya Prossy Kisaakye. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku kabaga akamutegekeddwa okukulizaako amazaalibwa ge ag’omwaka 68. Akabaga kano kagenda kubeera mu Lubiri lwa Ssaabasajja leero nga abantu ab'olubatu bebayitiddwa okugyetabako. Okusinziira mu Minisita  avunanyizibwa ku mirimu egy'enkizo mu bwakabaka bwa Buganda era nga ye Ssentebe w'olukiiko oluteeseteese omukolo guno, Owek. David Mpanga,…

Read More

Minisita Kitutu addiziddwayo mu Kkomera

Bya Ruth Anderah, Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Mary Gorreti Kitutu Kimono kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo emugaanye okweyimirirwa neddamu ne musindika mu kkomera e Luzira lwa olw’okuddukanya bubi amabaati agalina okuweebwa abatuuze be Karamoja. Omulamuzi aguli mitambo Joan Aciro agambye nti abantu 3 ku bana minisita babadde aleese okumweyimirira babadde tebalina bisanyizo kkooti byeyagala mu…

Read More

Nannyina mayumba ariyilidde omupangisa

Bya Abubakar Kirunda. Nannyini mayumba agapangisibwa mu district y'e Kaliro aweseddwa engassi ya kakadde kalamba n’emitwalo 20 lwakuddira mpitambi nagimansa mu nyumba  y’omupangisa we. Ono amulanze butamusasula sente zamubanja ez’obupangisa emyeezi egiwezeeko. Wilson Namusosa 38, mutuuze wa kukyaalo Nzirakaindini mu gombolola ly’e Nansololo, yasingisiddwa omusango mu kooti ya kisekwa ebadde ekubirizibwa sentebe Grace Basembeza. Basembeza ategeezezza nga nnyini…

Read More

Umeme enaawebwa buwumbi ng’endagaano yayo ne gavumenti eweddeko

Bya Juliet Nalwooga. Gavumenti yakusasula obuwumbi bwezakuno 802 okwezza emigabo egisinga obungi mu kitongole kya Umeme. Ekitongole kya Umeme, kyekivunanyizibwa ku nsolooza y’amasanyalaze, n’okugalabilira mu gwanga. Kino kijidde mu kiseera nga endagaano gyeyakkanya ne gavumenti  ey’emyaka 20 esemberera okuggwako mu mwaka ogwa 2025. Bino byavudde mu nsisinkano wakati w'akakiiko ka Parliament akavunanyizibwa ku buttonde n’obugagga obw’ensibo gyekaabadde n'abakungu…

Read More

Minisita Kitutu akomawo leero mu Kooti

Bya Mike Sebalu. Minister avunanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Gorette Kututu leero asuubirwa okukomezebwawo eri Kooti ewozesa abateeberezebwa okwenyigira mu bukenuzi, okuwulira okusaba kwe okw’okweyimilirwa. Minister Kitutu ne Mwanyina Micheal Naboya Kitutu, sabiiti ewedde basindikibwa ku mere e Luzira okutuusa olunaku olwa leero. Omulamuzi Marion Aciro yali mu mitambo gy’omusango guno. Ssabiiti ewedde bano yabasindika mu kkomera…

Read More