Amawulire
Poliisi ekutte babiri ku kibinja ky’abateberezebwa okukusa enjaga n’abantu e Kabalagala
Bya Juliet Nalwooga. Poliisi e Kabalagala mu Kampala eriko ekibinja ky’abagambibwa okubeera abamenyi b’amateeka kyesattuludde bano nga babadde befudde ba kafulu okukusa abantu n’ebilagalalagala. Mu bano mubaddemu bannansi b’eggwanga lya Nigeria 2 bekutte era nebaggulako n’emisango egy’okukusa abantu n’ebilagalalagala. Mu bakwatiddwa kuliko Chekwuebuka William ne […]
Ssaabasajja Kabaka ayagala olutalo ku mukenenya obutaruddiliza
Bya Mike Sebalu. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asabye abantu be obutaddiriza mu lutalo lwebaliko olw’okumala mukenenya omwaka 2030 wegunatuukira. Buno bubadde bumu ku bubaka bwe bw’abadde alabiseeko eri Obuganda, okusimbula emisinde gy’amazaalibwa ge egikedde okubeera mu Lubiri e Mengo. Emisinde gino gitolontose okwetoloola […]
Bannauganda bongedde okwetanira Yinsuwa zébyóbulamu
Bya Ndaye Moses, Okunonyereza okugya kulaga nti wabadewo okwoyongera kwa bantu abetanira empeereza ye yinsuwa ye byobulamu mu ggwanga mu bbanga lya myaka 8 egiyise Nga mu mwaka gwa 2021 kampuni za yinsuwa yafuna obuwmbi 245 okuva 108 nga bwezaali mu 2014 Okunonyereza kuno kwakolebbwa […]
Mao asabye abasiramu okusaba wabeewo okukyusa gavumenti mu mirembe
Bya Prossy Kisakye, Minisita w’ebyamateeka nóbwenkanya era nga ye mukulembeze w’ekibiina ekivuganya gavumenti ekya Democratic Party, Nobert Mao asabye Abasiraamu okwetoloola eggwanga okukozesa omwezi omutukuvu ogwa Ramadhan okusaba wabeewo okukyusa obukulembeze mu mirembe mu ggwanga. Bino yabyogedde akawungeezi akayise mu kijjulo kya Futari ekyategekeddwa ekibiina […]
Nnamukadde anonya Ssente okuyita mu kufera agombedwamu obwala
Bya Ruth Anderah, Omusajja owemyaka 71 agambibwa okuba nti abadde ajja ku bantu sente ng’abaguza ettaka eryempewo agombeddwamu obwala. Ssenkoma Stephen nga mutuuze we Kasubi Lubaga division wano mu Kampala asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi we daala erisooka ku Buganda Road Fidelis Otwao amusomedde omusango gw’okufuna […]
Akakiiko akakola ku bwenkanya kalaga obuwmbi bwénsimbi 6.4
Bya Prossy Kisakye, Akakiiko akavunaanyizibwa okulaba nti bannauganda balina mikisa egy’enkanankana aka Equal Opportunities Commission kagala obuwumbi bwensimbi mukaaga n’obukadde 400 mu mwaka gw’ebyensimbi 2023/2024 okutandikawo ofiisi mu bitundu bye ggwanga ebyenjawulo. Kino kigendereddwamu okusembeza obuweereza ku bantu abasuuliddwa ku mabbali naddala abomu byalo. Bwayabadde […]
Bannauganda basabiddwa okweyigiriza endya ennungi
Bya Kevin Githuku, Bannayuganda bakubiriziddwa okweyigiriza endya ennungi bwebaba bakusimatuka endwadde eziva kundya embi. Omulanga guno gujjidde mu kiseera nga Uganda ekiyita mu kusomoozebwa kw’ekizibu ky’enjala, ekiviiriddeko abantu abamu obutasobola kulya bulungi ate abalala ne batasobola kugula mmere n’akatono. Amawulire agakwata kundya ennungi gasanye okusasaanyizibwa […]
Omusibe asse munne e Luzira
Bya Juliet Nalwooga, Omusibe omukazi ow’emyaka 77 abadde ku kibonerezo ekyemyaka 19 mu kkomera olw’okutta bba asse munne ow’emyaka 37 mu kkomera e Luzira oluvannyuma lw’okufunamu oluyombo. Kigambibwa nti omutemu ono akidde munne ategerekese nga Zainabu Aguti n’amukuba enkumbi ku mutwe. Omwogezi w’amakomera mu Uganda, […]
Ssaabalabirizi Kaziimba asabye abakkiriza okusabira e Kanisa ya Kristo
Bya Prossy Kisakye, Ssaabalabirizi w’ekkanisa ya Uganda, Dr. Steven Kaziimba Mugalu asabye abakkiriza mu Uganda okusabira ekkanisa ya kristu okutebenkera nga kw’otadde n’ensi yonna wakati mu kibuyaga w’ebisiyaga. Bino abyogedde enkya ya leero bw’abadde ayogerako eri bannamawulire, mu maka ge e Namirembe nga abategeeza ku […]
Abakulembeze b’abavubuka bavuddemu omwaansi ku kulonda e Makerere
Bya Mike Sebalu. Abakulembeze b’abavubuka mu bibiina by’eby’obufuzi eby’enjawulo bawadde abakulira Ssetendekero e Makerere amagezi okuyimiriza okulonda okugenda mu maaso mu kiseera kino e Makerere. Bano okuli ba’ekibiina ki ANT,CP, FDC, DP, JEEMA, NRM, PPP. UFA,NRM, UPC, bangamba nti ekyo bwekigaana, bakwegatta ku musango ogwatwaliddwayo […]