Amawulire

Minisita Kitutu Kooti emuyimbudde

Minisita Kitutu Kooti emuyimbudde

Ivan Ssenabulya

April 14th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah. Court erwanyisa obukenuzi e Kololo ekkirizza okweyimilirwa ka Minista avunanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Gorreti Kitutu ne mwanyina Micheal Naboya. Minista alagiddwa okusasula obukadde bwa shs 10 ez’obuliwo ate mwanyina okusasula obukadde 3 ez’obuliwo. Abeyimiridde Minisita batadde emikono kakalu ka bukadde 200 […]

Ssaabasajja ayongedde okukubiriza abantube okwewala akawuka ka Mukeneya

Ssaabasajja ayongedde okukubiriza abantube okwewala akawuka ka Mukeneya

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisakye, Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II akubiriza abaddube na bazaanabe okwetanira okubeera obumu lwebajja okutuuka ku buwanguzi. Kabaka okwogera bino asinzidde ku mbaga yókukuza amazaalibwage agomulundi ogwe 68 mu lubiri lwe e Mengo. Atendereza bannaddiini na buli muntu okwokumusabiira nga okuba […]

Kampuni y’aba China enazimba oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva  e Tororo-Gulu

Kampuni y’aba China enazimba oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Tororo-Gulu

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga. Gavumenti etadde emikono ku ntegeregana ne kampuni ya China eya M/S China Road and Bridge Corporation ya myaka 2 okuddaabiriza oluguudo lw’eggaali y’omukka oluva e Tororo okugenda e Gulu. Oluguudo luno luwerako obuwanvu bwa kilo mita 375 era nga luyita mu bitundu […]

Eddwaliro ly’e Kawempe liwereddwa ekyuma ekibera munda mu mubiri

Eddwaliro ly’e Kawempe liwereddwa ekyuma ekibera munda mu mubiri

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2023

No comments

Bya Babra Anyait. Eddwaliro eddene ely’e Kawempe lukubiddwa enkata  yakyuma kikapyata ekikebera abakyala abali embuto n’embeera y’abaana ababeera  bebabeera bettisse nga tebannazaalibwa. Ekyuma kino kikozesebwa abakugu okumanya embeera y’olubuto nga lukula n’okumanya omwaana bwaali. Ekyuma kyekimu kikozesebwa okumanya ebitundu by’omubiri eby’enjawulo nga bwebibeera biyimiridde omuli […]

Eyasudde omwaana omuwere mu kabuyonjo Poliisi emukutte

Eyasudde omwaana omuwere mu kabuyonjo Poliisi emukutte

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Poliisi e Kasangati eriko omwana omuto gwenyuludde okuva mu kinnya kya kabuyonjo ono nga kigambibwa nti yasuuliddwamu omuwala omukozi w’omudduuka mu kitundu ekyo ategerekekse nga Winnie Namulemba. Kiddiridde mukama we Blenda Bulyaba okwekubira enduulu ku Poliisi, ng’omukozi we  abadde asulirirwa okuzaala ate […]

Leero mazaalibwa ga Ssaabasajja

Ivan Ssenabulya

April 13th, 2023

No comments

Bya Prossy Kisaakye. Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye okulabikako eri Obuganda ku kabaga akamutegekeddwa okukulizaako amazaalibwa ge ag’omwaka 68. Akabaga kano kagenda kubeera mu Lubiri lwa Ssaabasajja leero nga abantu ab’olubatu bebayitiddwa okugyetabako. Okusinziira mu Minisita  avunanyizibwa ku mirimu egy’enkizo mu bwakabaka bwa […]

Minisita Kitutu addiziddwayo mu Kkomera

Minisita Kitutu addiziddwayo mu Kkomera

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Ruth Anderah, Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Mary Gorreti Kitutu Kimono kkooti ewozesa abakenuzi e Kololo emugaanye okweyimirirwa neddamu ne musindika mu kkomera e Luzira lwa olw’okuddukanya bubi amabaati agalina okuweebwa abatuuze be Karamoja. Omulamuzi aguli mitambo Joan Aciro agambye nti abantu 3 […]

Nannyina mayumba ariyilidde omupangisa

Nannyina mayumba ariyilidde omupangisa

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Abubakar Kirunda. Nannyini mayumba agapangisibwa mu district y’e Kaliro aweseddwa engassi ya kakadde kalamba n’emitwalo 20 lwakuddira mpitambi nagimansa mu nyumba  y’omupangisa we. Ono amulanze butamusasula sente zamubanja ez’obupangisa emyeezi egiwezeeko. Wilson Namusosa 38, mutuuze wa kukyaalo Nzirakaindini mu gombolola ly’e Nansololo, yasingisiddwa omusango […]

Umeme enaawebwa buwumbi ng’endagaano yayo ne gavumenti eweddeko

Umeme enaawebwa buwumbi ng’endagaano yayo ne gavumenti eweddeko

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Juliet Nalwooga. Gavumenti yakusasula obuwumbi bwezakuno 802 okwezza emigabo egisinga obungi mu kitongole kya Umeme. Ekitongole kya Umeme, kyekivunanyizibwa ku nsolooza y’amasanyalaze, n’okugalabilira mu gwanga. Kino kijidde mu kiseera nga endagaano gyeyakkanya ne gavumenti  ey’emyaka 20 esemberera okuggwako mu mwaka ogwa 2025. Bino byavudde […]

Minisita Kitutu akomawo leero mu Kooti

Minisita Kitutu akomawo leero mu Kooti

Ivan Ssenabulya

April 12th, 2023

No comments

Bya Mike Sebalu. Minister avunanyizibwa ku nsonga za Karamoja Mary Gorette Kututu leero asuubirwa okukomezebwawo eri Kooti ewozesa abateeberezebwa okwenyigira mu bukenuzi, okuwulira okusaba kwe okw’okweyimilirwa. Minister Kitutu ne Mwanyina Micheal Naboya Kitutu, sabiiti ewedde basindikibwa ku mere e Luzira okutuusa olunaku olwa leero. Omulamuzi […]