Amawulire
Minisita Baryomunsi simusanyufu kungeri Poliisi gyeyakutemu baminisita banne
Bya Juliet Nalwooga, Minisita avunanyizibwa ku byámawulire nókulungamya eggwanga, Dr. Chris Baryomunsi avumiridde ekya poliisi okukwata baminisita abali mu mivuyo gyámabaati mu budde nga tebasobola kutwalibwa mu kkoti. Omu ku baminisita abasindikiddwa ku alimanda mu kkomera Amos Lugoolobi yakwatiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde n’aggalirwa […]
Minisita Nandutu naye ateereddwa emabega wémitayimbwa
Bya Prossy Kisakye, Minisita omubeezi owénsonga zé Karamoja, Agnes Nandutu eyakedde okwetwala yekka ku poliisi ya bambega e Kibuli, okubuuzibwa akana nakataano ku byokubba amabaati ga bakaramoja ateereddwa emabega wémitayibwa. Bino bikakasiddwa amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga polly Namaye. Kati omuwendo gwa baminisita ogwakakwatibwa […]
Aba-DP basabye ekitongole ekiramuzi ku misango gyóbulyake
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Democratic Party, kisiimye ekitongole ekiramuzi ne poliisi olwókuvaayo okukwata ku abakungu ba gavumenti abagambibwa okubba amabaati ga bakaramoja ne bagakozesa ebyabwe. Poliisi yakakwata baminisita babiri ku byekuusa ku mabaati gano okuli minisita we nsonga zé […]
Lukwago agamba tewali sente zakuddaabiriza nguudo mu Kampala
Bya Damali Mukhaye, Loodi Meeya wa Kampala, Erias Lukwago, ategeezezza nti ebinnya ebiri mu kibuga Kampala sibyakunogerwa ddagala mu bwangu ng’agamba nti ekitongole ekivunaanyizibwa ku nsonga eno tekirina ensimbi ku bidaabiriza. Ono okwogera bino kidiridde amawulire agayitingana ku mikutu egyémitimbagano nga galaga enguudo zómu kampala […]
Minisita Agness Nanduutu yetutte ku kitebe kyaba mbega e Kibuli
Bya Rita Kemigisa, Minister omubeezi ow’ensonga z’e Karamoja yetutte ku kitebe kyaba mbega e Kibuli enkya ya leero oluvanyuma lwakukulungula ennaku eziwerako nga yetaagibwa okubaako byanyonyola ku nsonga z’amabaati. Nanduutu afuuse Minister ow’okusatu okuvunaanibwa ku nsonga z’amabaati oluvanyuma lwa mukama we Mary Gorette Kitutu ne […]
Abakulembeze e Mukono batongozza ekifo abalwadde webanafunira obujjanjabi nga bwakusasulira ku dwaliro lya gavumenti
Bya Diphas Kiguli. Obukulembeze bwa district ye Mukono bufunvubidde ku kyokutekawo ekiwayi ku dwaliro lya gavumenti e Mukono abalwadde abasobola okusasulira obujanjabi gyebanagenda okusinga abasawo okujja ku balwadde ensimbi mu ngeri ey’amenkwetu ekintu ekimenya amateeka. Abakulembeze bagamba nti mu kifo abantu ky’okujjibwako ensimbi mu bukyamu, […]
Minisita Bugoloobi naye asindikibbwa mu Komera ku byámabaati
Bya Ruth Anderah, Minisita omubeezi ow’ebyensimbi n’okutekerateekera eggwanga eranga ye mubaka wa Palamenti akikirira abalonzi mu Ntenjeru North, Amos Lugoloobi asindikibwa mukomera e Luzira yebakeyo okutuusa nga 20th omwezi guno oluvanyuma lwo kkooti ewozeza abalyake okugaana okusaba kwe okwokweyimirirwa ku misango egyekuusa kutwala amabaati gavumenti […]
Abakulembeze e Mateete beeralikiridde olwámasanyalaze agabbibbwa
Bya Prossy Kisakye, Obubbi bw’amasanyalaze bweraliikirizza abakulembeze e Mateete mu Ssaza lye Mawogola mu disitulikiti eye Ssembabule. Kino kiddiridde okukizuula nti abantu ebitundu 70 ku 100 mu kitundu kino amassanyalaze gebakozesa babbamabbe nga abamu bagayisa mu ttaka ekiviiriddeko abantu banji okulusulaamu akaba. Ekisinga okwelaliiriza kwekuba […]
E Sudan embeera eyongedde okwonooneka
Mu gwanga lya Sudan, emberenge etandise okugaga oluvanyuma lw’amawaliro okutandika okuzitowererwa okujanjaba abalwadde abatuusiddwako ebisago olw’okulwanagana okugenda mu maaso mu gwanga elyo. Amalwaliro wetwogerera nga eddaggala ligaweddeko ate nga tegakyasobola nakukozesa byuma biyambako abali mu mbeera embi okussa olw’obutabaako masanyalaze. Eyaliko Minister w’ensonga ez’ebweru e […]
Minisita Amos Lugolobi avunaaniddwa mu Kooti y’abakenuzi
Bya Ruth Anderah. Minister omubeezi ow’eby’ensimbi Amos Lugoloobi atuusiddwa mu Kooti ewozesa abalyake e Kololo okusomerwa emisango egyamuguddwako nga gyekuusa ku bikorwa eby’okubulankanya amabaati agaali ag’abantu b’e Karamoja. Minisita Lugoloobi, yomu ku baganyurwa mu mabaati gano nga kigambibwa nti funa amabaati 600 lulambilira. Wabula abamulabyeko […]