Amawulire
Poliisi e Mityana afulumizza amannya g’abalumizibbwa mu kabenje
Babra Nalweyiso. Poliisi e Mityana efulumizza olukalala lw’amannya g’abantu abalumiziddwa mu kabenje akaagudde e Mityana akawungeezi ak’olunaku olwa ggyo. Wabula amannya g’omukyaala eyafiiridde mu kabenje n’okutuusa kati tegannafunika wadde okufunikako ababe omulambo gwe olw’obutasangibwako katu konna kamwogerako. Akabenje kano kagudde ku kyaalo Kikumbi kilo metre […]
Omuvunanwa omukulu mu musango gwókutta Kirumira agibbwako emisango
Bya Ruth Anderah, Abubaker Karungi abadde avunaanibwa okutta omuserikale wa poliisi Mohammed Kirumira ne mukwano gwe, Resty Mbabazi Nnaalinya, kkooti enkulu mu Kampala emugyeko emisango. Omulamuzi Margaret Mutonyi akkiriziganyizza ne Kalungi nti yakakibwa okuteeka omukono gwe ku kiwandiiko ekiraga nti yeyatta ate nga kyali kiwandikibwa […]
Abayizi abakwatibwa UMA ekola kukyókuyimbulwa kwabwe
Bya Rita Kemigisa, Ekibiina omwegatira abasawo mu ggwanga ki Uganda Medical Association kitegezeza nga bwekiri mu kukola kukyokununula abayizi abasawo ababadde mu kugezesebwa abaakwatibwa enkya ya leero mu kwekalakaasa. Bano baakwatibwa bwebadde bategese okukumba okugenda ku palamaneti nga bagala pulezidenti Museveni abayambe oluvanyuma lwokumala okusoma […]
Aba FDC bagala ensimbi zóngerwe mu Byóbulamu
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina Kyé byobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya FDC kisabye gavumenti okwongera kunsimbi zeeteeka mu byobulamu kisobozese okuziba eddibu eririwo. Bino byogeddwa amyuka omwogezi we kibiina, John Kikonyo nga asinziira mu lukungana lwa bannamawulire olutudde enkya ya leero ku kitebe e […]
Aba NEED basabye Pulezidenti okuteeka omukono kutteeka lyébisiyaga
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kye byobufuzi ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kisabye pulezidenti Museveni okussa omukono ku bbago ly’etteeka erirwanyisa ebisiyaga lifuuke etteeka mu bbanga eritali ly’ewala okusobola okutaasa eggwanga. Kino kiddiridde pulezidenti okusalawo okuzza ebbago lino mu palamenti okwongera […]
Uganda erinze lukusa lubuusa nnyonyi ekomyawo banna Uganda okuva e Sudan
Bya Mike Sebalu. Uganda eri mu ntegeka zakukozesa nnyonyi okujja banna Uganda e Port Sudan okubakomyawo kuno mu kawefube gweriko ow’okubawonya ekibambulira ky’olutalo olugenda mu maaso mu gwanga Sudan n’okusingira ddala mu kibuga ekikulu Khartoum. Wabula okuva e Khartoum, bano abasoba mu 300 bakutambuzibwa na […]
Omubaka Nsereko ne Mayor Rulinda balondebwa mu butuufu-Kooti
Bya Ruth Anderah. Kooti Enkulu mu Kampala ekakasizza Mayor w’ekibuga Ntebe Fabrice Rulinda nga Mayor omulonde ow’ekibuga ekyo. Kiddiridde ensalawo ya Court eno, oluvanyuma lw’eyali Mayor Kayanja Vincent de Paul okwekubira enduulu ng’aloopa Rulinda Fabrice n’akakiiko k’eby’okulonda okwekobaana nebamubba akalulu. Kati ensalawo ya Kooti eno […]
Abasawo aba Intern bazzeemu okwegugunga, 7 bakwatiddwa
Bya Ritah Kemugisa. Poliisi mu Kampala ekutte abasawo bakyakayiga 7 abakedde okwekalakaasa nga bawakanya ekya gavumenti okulwawo okubasindika mu kugezesebwa okwa internship. Bano batwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Wandegeya. Kitegerekese nti ababadde bekalakaasa basusse mu 30 era nga Poliisi webagwiriddemu, babadde bakumba boolekera Parliament […]
Absilaamu wonna basadde IDD
Bya Mike Sebalu. Kubadde kusinza eri eddiini y’abasilaamu mu nsi yonna oluvanyuma lw’okumalako ekisiibo nga bajaguza okutuuka ku Idd leero. Abasilaamu bakedde kweyiwa ku mizikiti nga ne wano mu Uganda gyebukeeredde nga buli mu silaamu alowooza ku kyakugenda ku muzikiti okusaala Idd. Okuvaako e Kampala […]
President wakukomyawo ebbago ku bisiyaga eri Paalamenti
Bya Ritah Kemigisa. Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni wakukomyawo ebbago ku bisiyaga eri Parliament babeeko enongesereza zeboongera okulikolako nga tannaba kuliteekako mukono okulifuula etteeka. Mu nsisinkano bano gyebabaddemu mu kisaawe e Kololo, ababaka b’akabondo k’ababaka b’ekibiina ekiri mu bukulembeze ki NRM nga bali wamu ne […]