Amawulire
Bakulonda akakiiko k’ebyenguudo
Bya Prossy Kisakye. Loodi Meeya wa Kampala Erias Lukwago ng’ali wamu ne ba Sentebe ba zi division mu Kampala nga begatiddwako ababaka ba Parliament okuva mu Kampala olunaku lw’enkya bakwenyigira mu kulonda kwa Sentebe w’akakiiko akavunanyizibwa ku makubo. Akakiiko kano kekavunanyizibwa okulondoola ensimbi zonna eziteekebwa […]
Joshua Abaho naye asiniddwa Luzira ku nsonga z’amabaati
Bya Ruth Anderah. Omu ku bawandiisi abakulu mu Minisitule y’e Karamoja , Joshua Abaho avunaaniddwa mu Kooti elwanyisa obukenuzi oluvanyuma nasindikibwa ku alimanda mu komera e Luzira okutuusa nga 2/05/2023. Emisango ono egimusomeddwa kwekuli ogw’obuli bw’enguzi, okwekobaana ne Minister Kitutu okubuzaawo amabaati 9000 ekitundu ku […]
Babakutte bategeka kwekalakaasa
Bya Mike Sebalu. Poliisi mu Kampala ekutte ababaka abakyala aba Parliament ku ludda oluwabula gavumenti ababadde bekalakaasiza wabweru wa Parliament nga bavumilira ebikorwa eby’okubatulugunya n’okutyoboolebwa kw’eddembe ly’obuntu okusse nga kukolebwa abavunanyizibw aku by’okwerinda mu bitundu byebakiikilira. Bano olunaku lwa ggyo bategeezezza banna mawulire nga bwebasisinkanye […]
Ababaka abakyala baddukidde wa Sipiika kukutulugunyizibwa
Bya Rita Kemigisa, Ababaka ba Parliament abakyala okuva ku ludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti bekubidde enduulu eri Speaker Anita Among nga balaga butali bumativu n’engeri Poliisi gyeyatulugunyamu mubaka munnabwe ow’e Buvuma Susan Mugabi bweyali ategese olunaku lw’abakyaala mu kitundu kyakiikilira. Oluvanyuma lw’okumutulugunya kigambibwa nti ono […]
Kadaga asabye wabeewo okulungamizibwa kunkozesa yémitimbagano
Bya Prossy Kisakye, Omumyuka wa Ssaabaminisita asooka era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukago gwa East Africa, Rebecca Alitwala Kadaga asaba wabeewo okulungamya enkozesa y’emikutu gy’empuliziganya mu bifo we bakolera ng’agamba nti ekosa eremesa abakozi okukola emirmu obulungi. Bwabadde ayogerera mu lukungaana lw’abakozi olusookedde ddala mu […]
Banna Uganda abaanunuddwa okuva e Sudan basuubirwa leero mu gwanga
Bya Ritah Kemigisa. Banna Uganda abasoba mu 200 abajiddwa mu kibuga kya Sudan ekikulu Khartoum awali okulwanagana basuubirwa okutuuka kuno olunaku lwa leero. President Museveni, yalagidde bekikwatako okukozesa ennyonyi ya Uganda Airlines okunonayo abantu abo okuva mu gwanga lya Ethiopia gyebatwaliddwa nga bayisibwa ku ttaka […]
Enkuba esse omu mu bitundu by’e Mbale
Bya Mike Sebalu. Ekitongole kidduukirize ki Uganda Redcross nga kikolaganira wamu ne Poliisi gattako abakulembeze b’ebyaalo mu bitundu eby’e Mbale, baliko omulambo gw’omusajja gwebazudde nga gwakulugusiddwa namutikwa w’enkuba eyafudembye ekiro ekikeesezza leero mu bitundu ebyo. Kigambibwa nti bino bibadde ku kyaalo Nambiti B, mu muluka […]
Gavumenti esabiddwa okudukirira abakosebwa omuyaga
Bya Mike Sebalu ne Prossy Kisakye, Abakulembeze bómu Kampala basabye gavumenti eveeyo mu bwangu okutaasa abantu amaka gaabwe n’ebintu byabwe ebyayononebbwa omuyaga ogwagidde mu nkuba eyafuddembye mu kiro ekikeesezza olwaleero, akawungeezi akayise. Bwabadde ayogerako eri ababaka akawungeezi ka leero mu palamenti, omubaka wa Rubaga North […]
Alipoota ku mivuyo egiri mu Yafeesi ya Ssaabaminisita ewedde
Bya Prossy Kisakye, Kkaliisoliiso wa Gavumenti, Beti Kamya ategezeza nga okunoonyereza ku mivuyo egy’obuli bw’enguzi egiri mu ofiisi ya ssaabaminisita bwekunatera okuwundikirwa. Mu kiseera kino waliwo okunoonyereza okugenda mu maaso ku bigambibwa nti waliwo obubi bwa mabaati gavumenti geyagula ng’eyita mu ofiisi ya ssaabaminisita agaalina […]
Shell V-Power enasasulira motoka z’empaka
Bya Mike Sebalu. Empaka za motoka eza Shell V-Power Pearl of Africa Uganda Rally zitongozeddwa leero ku kitebe kya kampuni ya Vivo Energies Uganda mu Kampala. Empaka zino za mwetoloolo gwa kusatu ku kalenda ya motoka z’empaka mu Africa era nga zakubeera mu bitundu by’e […]