Bya Mike Sebalu. Gavumenti etegeezezza nga bwetannaba kubaako bantu balala banna Uganda bawangalira mu kibuga Khartoum ekya Sudan baagala kuzzibwa kubutaka.
Nga 27, abantu 211 bajjibwa mu kibuga Khartoum nebatwalibwa mu gwanga lya Ethiopia ku kisaawe ky’ennyonyi Bahir Dar, nnyonyi ya Uganda gyeyabanona nebazza ku butaka okubawonya ekibabu eky’olutalo n’okutuusa leero olukyagenda mu maaso.
Ku bano kwaliko…
Bya Mike Sebalu. Abasawo abakugu mu ndadde enz’enjawulo mu gwanga, nabo bagasse ku bannabwe ba Senior Health Officers ne ba Intern okuwa gavumenti nsalesale nga bwebagenda okuteeka wansi ebikola singa Gavumenti tekola ku nsonga zibaluma zino nga bazze bazigitegeeza okuva emabega.
Bano kwekuli abasawo abebuzibwako abakola ogw'kulongoosa , abasawo ab’ebuzibwako ku ndwadde z’abakyaala abali embuto, abakugu…
Bya Mike Sebalu. Ssentebe w'olukiiko oluddukanya empaka z'ebika by'Abaganda Haji Sulaiman Magala alangiridde ng'Omutanda bw'asiimye okulabikako eri Obuganda ng’aggulawo empaka z'ebika by'Abaganda ez'omwaka 2023.
Empaka zino zakuggulwawo nga 13 omwezi guno mu kisaawe e Wankulukuku nga Enkima yakuttunka n'Engabi Ensamba.
Katambala Sulaiman Magala asabye ebika okwetekateka obulungi okusobola okwolesa omutindo omulungi mu mpaka zino.
Bya Ruth Anderah. Ekiwayi kya Court Enkulu etuula e Kololo ekilwanyisa obukenuzi kyongeddeyo okuwulira okusaba kw’okweyimilirwa okwatwalibwayo Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Agness Nandutu okutuusa enkya ku lwokuna nga 04/05, ku saawa taano ez’enkya.
Kooti okutuuka okusalawo bweti, bannamateeka b’oludda oluwaabi basoose kulaga omulamuzi obuzibu bwebagenda okusanga okukomyawo Minisita Nandutu mu mbuga, oluvanyuma ono…
Bya Mike Sebalu. Ekitongole ekiduukirize ki Uganda Red Cross kikakasizza ng’abantu 6 bebakazuukawo nga bafiiridde mu kibumbulukuka ttaka ekigudde mu district y’e Kisoro mu kilo ekikeesezza leero.
5 ku bano ba munyumba emu okuva ku kyaalo are from Biizi n’omulala abadde wakukyaalo Gihuyaga byonna nga bisamgibwa mu gombolola y’e Murora mu district ey’e Kisoro.
Okubumbulukuka kw’ettaka lino…
Bya Ruth Anderah. Ekiwayi kya Kooti Enkulu ekilwanyisa obukenuzi, kilonze abantu 3 okuva mu bantu babulijjo okutunuulira ebigenda mu maaso mu musango oguvunaanibwa Minisita Agness Nandutu guno nga gwekuusa ku kibba mabaati agaali ag’abantu b’e Karamoja.
Minisita Nanduutu, leero akomezebbwawo mu Kooti okuva mu komera e Luzira gyeyasindikibwa nga 19/04 okutandika okuwozesebwa n’okuwulira okusaba kw’okweyimilirwa nga…
Bya Mike Sebalu. Eby’entambula mu gombolola y’e Nkozi naddala mu makubo agayuga ebitundu eby’ebikiibuga ku byaalo mu district eye Mpigi byongedde okusanyalala olw’amakubo mangi okusalwako amazzi aganjaala olwa namutikwa w’enkuba afudemba mu kitundu ekyo.
Amazzi gano gatwaliddemu n’ebitundu bya Lwera ekiviiriddeko abatuuse okusanga akaseera akazibu okuyita mu nguudo ez’enjawulo nga n’ebintu by’abantu bingi omuli n’ennimiro byononeddwa.
Ssentebe…
Bya Mike Sebalu. Ekitongole ekidduukirize ki Uganda Red Cross kilabudde nga abantu abalala bangi n’amaka gabwe bwebali mu kaseera akazibu naddala abo abebulunguludde olusozi Rwenzori mu biseera bino eby’enkuba eyongera okufudemba.
Okusinziira ku kwetegereza embeera okukoleddwa ekitongole kino ekidduukirize, kizuulidda nti ng’ojjeeko abantu 5 abafudde mu byaalo eky'e Kaghema ne Butera mu gombolola y’e Buhuhiram,…
Bya Mike Sebalu. Omukugu mu minisitule ya Karamoja wansi wa Office ya Ssabaminista, Joshua Abaho, 46, kooti elwanyisa obukenuzi e Kololo ekkirizza yeyimilirwe kakalu kaayo.
Ono abadde alabiseeko enkya ya leero okuva mu komera e Luzira nga bweyalagirwa okuwulira okusaba kw'okweyimilirwa kwe.
Omulamuzi wa Court Ento Aciro Joan ono amulagidde okusasula ensimbi obukadde 8 obwobuliwo…
Bya Ritah Kemigisa. Poliisi etegeezezza nga bwetandise okukola okunoonyereza ku ttemu elikedde okukolebwa ku abadde Minisita omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abakozi Charles Okello Engola.
Engola akubiddwa omukuumi we amasasi agamutiddewo enkya ya leero mu maka agasangibwa e Kyanja ku njego yego z'ekibuga Kampala.
Ng’ayogerako eri ab’amawulire ku kitebe kya Poliisi e Naguru, omwogezi wa Poliisi mu gwanga…