Bya Prossy Kisakye,
Kamala byonna wa Buganda, Charlse Peter Mayiga asabye poliisi eyongerwe ebyetaasisa okunonyereza ku buzzi bwemisango.
Ono okwogera bino asinzidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, bwabadde ayogerako ne bannamawulire mukujjaguza nga bwawezeza emyaka 10 bukya Namunswa yasiima namuwa obwa katikkiro.
Mayiga agambye nti poliisi enonyereza ku buzzi bwemisango esanye okuweebwa abakozi abakugu mu kunonyereza…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kisabye gavumenti okutumbula embeera z’abakozi baayo naddala ab’ebyokwerinda.
Omulanga guno guddiridde ebigambibwa nti abadde minisita avunaanyizibwa ku bakozi, Charles Engola, yakubwa amasasi agaamuttirawo omukuumi we, olw’omusaala okulwawo okumuweebwa.
Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za NEED, e Rubaga, ssaabawandiisi w’ekibiina kino, Asuman Odaka agambye nti ebyenfuna byonna ebikulaakulana…
Bya Ritah Kemigisa. Poliisi egamba nti eriko abantu 3 bekutte ngebatebereza okubaako nekyebamanyi ku kuttibwa kwa Ismail Tusuubira abadde amanyiddwa nga Jajja Iculi abadde amanyiddwa ennyo ku mikutu gimugatta bantu.
Ismali yakubwa masasi ekiro ky’olunaku lw’omukaaga bweyali anatera okutuuka wasula mu bitundu by’e Kyanja.
Kati omwogezi wa Poliisi mu gwanga Fred Enanga agamba nti abase Iculi baabadde…
Bya Mike Sebalu. Waliwo bannakyewa abalwanilira eddembe ly’eby’obulamu abambalidde essiga eddamuzi olw’okuvaayo n’ensala ku teeka elyayisibwa Parliament gyebagamba nti egenderera kwongera kuteeka bulamu bw’abantu mu katyabaga nga benyigira mu kukomonta n’okufuweeta ebilagalalagala nga tewali abakuba ku mukono.
Ku lunaku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde, Kooti ya Ssemateeka yasazaamu etteeka elyayisibwa Parliament mu mwaka gwa 2016 elya Narcotic…
Bya Mike Sebalu. Abakugu mu bilwadde by’omutwe bawadde gavumenti amagezi okutuusa obujanjabi obusookerwako eri abantu abatawanyizibwa n’ekilwadde ky’omutwe eri ebitundu by’ebyaalo okukendeeza ku muwendo gw’abantu abavaayo okujja okufuna obujanjabi e Kampala.
Bano bagamba nti obulwadde bw’omutwe gulinga musujja nga bwebuba butandika, busobola okukorwako mu malwaliro agasookerwako, wabula eby’embi obujanjabi ekika kino mu bitundu by’omubyaalo tebuliiyo.
Bino byebimu…
Ritah Kemigisa. Ebitongole by’eby’okwerinda omuli amaggye ne Poliisi, biriko abantu 6 bebikutte mu bitundu by’e Nabweru ne Kazo mu Municipaali y’e Nansana oluvanyuma lwa bano okusangibwa n’ebintu ebikola bbomu enkolere.
Bano babakwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa mu kio ekikeesezza leero, oluvanyuma lw’okufuna amawulire okuva mu bantu ne ba mbega nga gekengera abantu bano n’emilimu gyebakola.
Bino webijidde nga…
Bya Moses Ndaye,
Okusazaamu etteeka eryali livunaana abakoseza ebiragalalagala, gamba ng’enjaga ne Khat, Bannayuganda abamu tebakisanyukidde.
Olunaku lweggulo kkooti ya Ssemateeka mu Kampala yasazizzaamu etteeka lyonna eryayisibwa palamenti okukangavula abakozesa ebiragalalagala erya bweyategezeza nti lyayisibwa ng’omuwendo gwa babaka mutono ku lunaku olwo.
Etteeka lyonna okukubaganyizibwako ebirowoozo n’okuyisibwa mu palamenti, waakiri kimu kya kusatu ku bammemba bonna abalina obuyinza…
Bya Julius Onen,
Enteekateeka z’okuziika minisita abadde avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, Charles Engola, ziri mu ggiya, ng’aba famire basuubira abakungubazi abasoba mu 10,000 ku mukolo guno.
Mu kiseera kino, amaka g’omugenzi gali mu ketalo nga abooluganda n’emikwano bateekateeka okuwa omugenzi okusibula okusaanira.
Jacob Okello, omukulembeze w’ekika ky’omugenzi agamba nti ebikolebwa mulimu; okuyonja ekibangirizi, okukung’aanya enku ez’okufumba n’okukungaanya ebyetaagisa…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina omwegatira abakulembeze babakyala okuva mu bibiina byobufuzi ekya Inter-party Women's Platform, kisabye gavumenti okusala ku mbalirira y'ebyokwerinda okusobola okufuna ensimbi ez'okusengula abantu abali mu bitundu ebyazingibwako amataba.
Omulanga guno guzze oluvannyuma lw’amataba okuddamu okusanyalaza e kitundu ky’e Kigezi ekiviiriddeko abantu okufiirwa obulamu n’okusaanyaawo ebintu.
Okusinzira ku bakungu, okubumbulukuka kwettaka kwakatta abantu 16 mu disitulikiti…
Bya Mike Sebalu,
Abantu 350 abakoseddwa amataba mu Disitulikiti y’e Kisoro bafunye obuyambi okuva mu kibiina kya Uganda Red Cross Society.
Abantu abayambibwa beebo abava mu maka agasunsuddwa agaasinga okukosebwa amataba n’okubumbulukuka kw’ettaka ennaku 3 eziyise.
Disitulikiti y’e Kisoro mu wiiki eziyise efunye enkuba esukkulumye kuya bulijjo eyavuddeko amataba amangi n’okubumbulukuka kw’ettaka, ekyaviiriddeko abantu 8 okufa,…