Amawulire
Omusabiriza eyasangibwa ne mmundu addizibwayo mu Kkomera e Luzira
Bya Ruth Anderah, Omusabiriza w’okunguudo eyasangibwa n’emmundu omwezi oguwedde addizibwayo ku alimanda mu kkomera e Luzira kkooti olwomuwaabi wa gavumenti obutalabikako mu kkooti enkya ya leero. Ono avunaanibwa omusango gw’okusangibwa n’emmundu mu ngeri emenya amateeka n’okukoowa amagye. Kintu Mayambala ow’emyaka 43 amanyiddwa nga Mayambala Mugabi […]
Mayiga asabye Gavt okuwa CID eby’etaagisa mu kunonyereza ku buzi bwémisango
Bya Prossy Kisakye, Kamala byonna wa Buganda, Charlse Peter Mayiga asabye poliisi eyongerwe ebyetaasisa okunonyereza ku buzzi bwemisango. Ono okwogera bino asinzidde ku mbuga enkulu e Bulange e Mengo, bwabadde ayogerako ne bannamawulire mukujjaguza nga bwawezeza emyaka 10 bukya Namunswa yasiima namuwa obwa katikkiro. Mayiga […]
Aba NEED basabye Gavt okutumbula embeera zábakozi baayo
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyébyóbufuzi ekya National Economic Empowerment Dialogue-NEED, kisabye gavumenti okutumbula embeera z’abakozi baayo naddala ab’ebyokwerinda. Omulanga guno guddiridde ebigambibwa nti abadde minisita avunaanyizibwa ku bakozi, Charles Engola, yakubwa amasasi agaamuttirawo omukuumi we, olw’omusaala okulwawo okumuweebwa. Bwabadde ayogerako eri bannamawulire ku ofiisi za […]
Poliisi ekutte 3 bagiyambeko mu kunoonyereza ku by’okuttibwa kwa Isma Tusuubira aka Jjaja Iculi
Bya Ritah Kemigisa. Poliisi egamba nti eriko abantu 3 bekutte ngebatebereza okubaako nekyebamanyi ku kuttibwa kwa Ismail Tusuubira abadde amanyiddwa nga Jajja Iculi abadde amanyiddwa ennyo ku mikutu gimugatta bantu. Ismali yakubwa masasi ekiro ky’olunaku lw’omukaaga bweyali anatera okutuuka wasula mu bitundu by’e Kyanja. Kati […]
Abalwanirizi b’eby’obulamu sibasanyufu n’ensalawo ya Kooti ku teeka erikangavvula abakozesa ebilagalalagala
Bya Mike Sebalu. Waliwo bannakyewa abalwanilira eddembe ly’eby’obulamu abambalidde essiga eddamuzi olw’okuvaayo n’ensala ku teeka elyayisibwa Parliament gyebagamba nti egenderera kwongera kuteeka bulamu bw’abantu mu katyabaga nga benyigira mu kukomonta n’okufuweeta ebilagalalagala nga tewali abakuba ku mukono. Ku lunaku lw’okutaano lwa sabiiti ewedde, Kooti ya […]
Banakyewa ku bulwadde bw’omutwe baliko amagezi gebawadde wakati mu kujjukira omwezi gw’abalwadde b’emitwe mu nsi yonna
Bya Mike Sebalu. Abakugu mu bilwadde by’omutwe bawadde gavumenti amagezi okutuusa obujanjabi obusookerwako eri abantu abatawanyizibwa n’ekilwadde ky’omutwe eri ebitundu by’ebyaalo okukendeeza ku muwendo gw’abantu abavaayo okujja okufuna obujanjabi e Kampala. Bano bagamba nti obulwadde bw’omutwe gulinga musujja nga bwebuba butandika, busobola okukorwako mu malwaliro […]
Ekikwekweto kiyodde abateberezebwa okubeera abatujju mu bitundu eby’e Nabweru mu Kampala
Ritah Kemigisa. Ebitongole by’eby’okwerinda omuli amaggye ne Poliisi, biriko abantu 6 bebikutte mu bitundu by’e Nabweru ne Kazo mu Municipaali y’e Nansana oluvanyuma lwa bano okusangibwa n’ebintu ebikola bbomu enkolere. Bano babakwatidde mu kikwekweto ekikoleddwa mu kio ekikeesezza leero, oluvanyuma lw’okufuna amawulire okuva mu bantu […]
Abamu ku bannauganda tebasanyukidde nsala ya Kkooti ku Tteeka ly’ebiragalalagala
Bya Moses Ndaye, Okusazaamu etteeka eryali livunaana abakoseza ebiragalalagala, gamba ng’enjaga ne Khat, Bannayuganda abamu tebakisanyukidde. Olunaku lweggulo kkooti ya Ssemateeka mu Kampala yasazizzaamu etteeka lyonna eryayisibwa palamenti okukangavula abakozesa ebiragalalagala erya bweyategezeza nti lyayisibwa ng’omuwendo gwa babaka mutono ku lunaku olwo. Etteeka lyonna okukubaganyizibwako […]
Entekateeka ez’okuziika Minisita Engola ezigenda mu maaso
Bya Julius Onen, Enteekateeka z’okuziika minisita abadde avunaanyizibwa ku nsonga z’abakozi, Charles Engola, ziri mu ggiya, ng’aba famire basuubira abakungubazi abasoba mu 10,000 ku mukolo guno. Mu kiseera kino, amaka g’omugenzi gali mu ketalo nga abooluganda n’emikwano bateekateeka okuwa omugenzi okusibula okusaanira. Jacob Okello, omukulembeze […]
Gavt esabiddwa okusala kumbalirira y’e by’okwerinda esengule abantu abali mu bulabe
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina omwegatira abakulembeze babakyala okuva mu bibiina byobufuzi ekya Inter-party Women’s Platform, kisabye gavumenti okusala ku mbalirira y’ebyokwerinda okusobola okufuna ensimbi ez’okusengula abantu abali mu bitundu ebyazingibwako amataba. Omulanga guno guzze oluvannyuma lw’amataba okuddamu okusanyalaza e kitundu ky’e Kigezi ekiviiriddeko abantu okufiirwa […]