Amawulire
Bafulumizza ebibinja by’omupiira gw’amasaza nga bweganasamba omwaka guno
Bya Luke Mutesaasira. Akakiiko akavunanyiizbwa ku mpaka z’amasaza ga Buganda kataddewo ebibinja 3 eby’empaka z’amasaza ez’omwaka guno. Mu kukwata obululu okwabaddewo olunaku lwa ggyo e Mengo, mu kibinja kya Muganzirwazza mutereddwamu essaza lya Gomba, Busiro, Mawokota, Ssese, Mawogola, ne Kabula. Mu kibinja Masengere mulimu Buddu, […]
Okusabira Minisita Engola okutongole kwa leero mu kisaawe e Kololo
Bya Mike Sebalu. Government leero etegeseewo okusabira omwooyo gw’omugenzi Minister Engola. Okusaba kuno okutegekeddwa enkya ya leero ku kisaawe e Kololo nga ne President Museveni asuubirwa okukwetabako. Minister Engola yakubwa masasi omukuumi we Wilson Sabiiti namuttirawo ate naye oluvanyuma neyetta mu maka ga Minisita e […]
Bannabyamizannyo bakusisinkana akakiiko ka Palamenti akalondoola enkozesa y’ensimbi za Gavumenti
Bya Mike Sebalu. Abakulembeze b’ekibiina ekivunanyizibwa ku mizaanyo egy’enjawulo omuli eky’okumupiira gw’okubaka ki Uganda Netball Federation, Abazannyi ssaako n’abakulembeze b’ekyo ekivunanyizibwa ku bikonde ki Uganda Boxing Federation, leero basuubirwa okulabikako eri akakiiko ka Public Accounts committee aka Parliament ku nsonga z’ekibiina ekibagatta ki National Council […]
DP eyagala President Museveni ayogereko eri eggwanga ku nsonga z’obutebenkevu
Bya Prossy Kisakye. Ekibiina ky’eby’obufuzi ki Democratic Party kisabye omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni okuvaayo ayogereko eri eggwanga ku bigambo ebikwatagana n’eby’okwerinda ebilabika nga bizzeemu okuteeka obulamu bwa banna Uganda mu katayabaga. Kiddiridde ettemu elibaddewo sabiiti ewede elyalese nga Minisita Omubeezi avunanyizibwa ku nsonga z’abakozi […]
Abasawo abakugu leero batandise akediimo kaabwe
Bya Mike Sebalu. Abasawo abali ku daala lya ba Senior Medical Officer ng’olumu bayitibwa ba Medical Officers Special Grade ekilo ekikeesezza leero batandise okwekalakaasa kwabwe oluvanyuma lw’ennaku 07 ezawebwa gavumenti okukola ku bubaluma okuggwako nga mpawo kyetuukirizza wadde okubawuliza. Bano mu byebaagala bikorweko mwemuli okubongeza […]
Sipiika Among avumiridde ab’enyumiririza mu kufa kw’abalala
Bya Prossy Kisakye, Sipiika wa palamenti Anita Among avumiridde omuze ogweyongera mu bannayuganda ogw’okujaguza emikisa gy’abalala. Okwogera bino, sipiika abadde akubirizza olukiiko olw’enjawulo akawungeezi ka leero olutudde okusiima omugenzi abadde minisita w’eggwanga ow’abakozi Charles Engola eyakubiddwa amasasi omukuumiwe Wilson Ssabiiti, agaamuttirawo wiiki ewedde. Sipiika agambye […]
Palamenti ekungubagidde Engola
Bya Juliet Nalwooga, Palamenti akawungeezi ka leero etuuziza olutuula olw’enjawulo okusiima abadde minisita omubeezi avunanyizibwa ku bakozi Col. Charles Engola, eyattibwa gye buvudeko. Mu lutuula olukubirizibwa sipiika Anita Among, ababaka ba palamenti basiimye omugenzi ng’omukozi wa gavumenti ayagala eggwanga era omunyiikivu era nga yeewaayo okukola […]
Taata afiiridde mu kirombe kya Zaabu, abaanabe babiri nabo batusibwako obuvune
Bya Asuman Musobya, Aba Famire basatu okuli taata n’abaana be babiri babutikiddwa ettaka mu kilombe kya Zaabu, taata afiiridewo ate abaana basimatukidde ku bisago ebyamaanyi. Bino bibadde ku kyalo Budde ekisangibwa mu gombolola ye Budhaaya mu disitulikiti y’e Bugiri. Hamza Kyozira emyaka 50 yafudde ate […]
Aba DP bavumiridde obugayaavu bwa Gavt mu kulwanyisa obutemu bwémmundu
Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyébyobufuzi ekya Democratic Party-DP kyennyamivu olwa gavumenti okulemererwa okukomya ettemu ly’emmundu eryeyongera mu ggwanga wadde nga embalirira ye byensimbi mu kitongole kye byokwerinda ewerera ddala. Kino kiddiridde ettemu ery’emmundu eryakolebwa minisita ow’abakozi, Charles Engola, ne kanyumiza ku mikutu gyomutimbagano Ibrahim Tusubira […]
Abasawo ba kakensa balangiridde okuteeka wansi ebikola
Ritah Kemigisa. Abasawo abali ku daala lya ba Senior Medical Officer ng’olumu bayitibwa ba Midecal Officers Special Grade balangiridde nga bwebagenda okuteeka wansi ebikola okuva n’ekiro kya leero okutuusa nga omusaala gwabwe bagwongezza n’okukola enongosereza mu mannya agayitibwa offiisi zebakulembera. Bano kwekuli abakugu abebuzibwako ku […]