Bya Mike Sebalu,
Ekitongole kya Gavumenti ekivunanyizibw ku butnode ekya NEMA, kitegeezezza nga bwekigenda okukolaganira awamu n’ebbuga ebinene wonna mu gwanga okuteeka ebipipa ebikunayizibwamu kasasi ku nguudo ennene abantu mwebasobola okusuula kasasiro okusinga okumala gamumansa.
Ono y’omu ku kawefube eyatandikiddwako mu lutalo lw’okumalawo obukyafu mu bibuga nga Kampala yakulembeddemu okiwenda kino, nga nasangibwa ng’amala gasuula kasasira awatasaanira,…
Bya Ruth Anderah,
Kkooti y’ekinnamagye etuula eMakindye eyimbudde banna kibiina Kya NUP 4 kwabo 32 abavunanibwa ogwokusangibwa nebissi saako nebyambalo byekijaasi ngaate sibasirikale.
Abayimbudwa bakwatibwa mumwezi gwa May wa 2021 ng’eggwanga lyakava mukulonda kw’abonna okwalimu vvawo mpitewo.
Abayimbudwa kuliiko Richard Nyombi Shafiq Ngobi, Kenneth Kamya ne Ronald Mayinja.
Akulira Kkooti Eno Brigadier Freeman Mugabe ategezeza kkooti nti aba 4…
Bya Damali Mukhaye,
Ekibiina ekiri ku ludda oluvuganya gavumenti ekya Forum for Democratic Change kiwadde pulezidenti Museveni ne palamenti omulimu okunnyonnyola engeri Uganda gy’egenda okuganyulwa mu kuyiwa amaggye ga Uganda mu DR Congo.
Abajaasi ba UPDF 5,000 nga bakulembeddwamu Col Michael Walaka wiiki ewedde baasimbiddwa bendera okugenda ku misoni mu kitundu ky’e Rutshuru ekisangibwa mu ssaza lya…
Bya Mike Sebalu,
Omuddusi w'embiro empanvu Jacob Kiplimo alondeddwa bannamawulire bannabyamizannyo wansi w'ekibiina ekibataba ki Uganda Sports Press Association (USPA) nga munnabyamizannyo asinze banne omwezi oguwedde.
Mu lukungana lwabwe olutuula buli bbalaza esooka mu mwezi olutudde ku imperial Royale hotel wano mu Kampala, Jacob Kiplimo afunye obubonero 320 ng'ono amezze Yassin Nasser omuvuzi wa mmotoka z'empaka.
Kiplimo yawangula empaka…
Bya Abubaker Kirunda,
Laddu ekubye omukazi ow’emyaka 70 mu Disitulikiti y’e Mayuge n’afiirawo.
Omugenzi ye Walyonka Mutesi omutuuze ku kyalo Walumbe mu gombolola y’e Bukatube mu disitulikiti y’e Mayuge.
Ssentebe wa LC 1 mu kitundu kino Anthony Obwinyi agamba nti omugenzi Laddu emusanze mu nnyumba ye eyessubi era laddu bweyagikubye ne kwata muliro
Obwinyi ayongerako nti omulambo gw’omugenzi gutwaliddwa…
Bya Prossy Kisakye,
Ekibiina kuludda oluvuganya gavumenti ekya National Economic Empowerment Dialogue (NEED) kisiimye omukulembeze w’oludda oluvuganya gavumenti mu Kenya Raila Odinga olw’okuyimiriza okwekalakaasa okutaasa eggwanga okuva mu kavuyo.
Omwogezi wa NEED, Moses Matovu ategeezezza Dembe FM, nti wadde Odinga yalina ensonga entuufu lwaki yeekalakaasa wabula ensonga y’okutaasa ebyenfuna byeggwanga eryo obutadobonkana nyo n’abantu ba Kenya nayo…
Bya Ruth Anderah,
Omusajja omukunganya wa sikulapu avunanibwa nasindikibwa mu komera e Luzira ku misango gyobubbi.
Moses Kasimbi ow’emyaka 47 omutuuze w’e Nsangi mu disitulikiti y’e Wakiso yeeyanjudde mu kkooti y’e Buganda road wansi womulamuzi Fidelis Otwao n’awakanya omusango gw’okufuna ssente nga yeefudde obulimba ogumusomeddwa.
Oludda oluwaabi lugamba nti omuwawaabirwa n’abalala abakyalira kunsiko wakati wa 8th ne 9th…
Bya Gertrude Mutyaba,
Ekikangabwa kibuutikidde abatuuze mu kabuga ka Nyendo enkuba ekedde okutonnya obutasalako bwesudde ennyumba okukakkana nga esse omwana abalala mukaaga nebagendera ku bisago.
Omugenzi ategeerekese nga ye Mayimuna Nansamba nga abadde mutuuze mu Mukudde zone mu division ya Nyendo-Mukungwe mu kibuga Masaka.
Kinajjukirwa nti mu zone yemu eya ku lwokusatu lwa sabiiti eno ekisakaate kye ssomero…
Bya Mike Sebalu,
Aboludda oluvuganya gavt mu palamenti leero basomye embalirira yabwe gye basuubira nti gavt eri mu buyinza gyeyalyesigamyeko okuteekeratekeera eggwanga mu mwaka gwe byensimbi ogujja 2023/24.
Bano bawabudde nti mu kifo kya gavt okwagala okusasanya obusee 49 nobuwumbi 900 esannye esale ensimbi zino okudda ku busse 48 nobuwumbi 900 nga egyamu mu mbalirira ebintu ebitetagisa…
Bya Kiguli Diphas,
Ba ssentebe b’emiruuka okuva mu kibuuga Mukono balajanidde gavumenti okwanguyirizako enteekateeka zaayo okusobozesa abantu abalina okuganyulwa munteekateeka ya Parish Development Model okutandiika okufuna ensimbi zaabwe.
Bano bagamba nti bbo ogwabwe bagukola mu budde okusomesa abantu kunkozesa yensimbi zino basobole okwejja mu bwavu.
Bagamba ku bukadde ekikuumi ez’asuubizibwa bakafunako million 25 zokka newankubadde nga basigaza banga…