File Photo: Akulira Aba ADF
Ebyokwerinda byongedde okunywezebwa mu disitulikiti ye Kasese oluvanyuma lw’abayeekera ba ADF okulumba enkambi y’amagye eye Rusese e Mpondwe ku ssande.
Omwogezi w’ekibinja ky’amagye ekyokubiri Maj. Ronald Kakurungu ategezezza nga bwewabaddewo okuwanyisiganya amasasi wakati w’abajaasi ba UPDF n’abayeekera abaabadde bagezaako okubba emmundu.
Kakurungu ategezezza nga omu ku balumbaganyi bweyatiddwa nga era abamu ku balumbaganyi…
File Photo: Mbabazi nga kutte omugo
Eyali ssabaminisita w’eggwanga Amama Mbabazi addukidde mu kkooti ku nsonga z’okumulemesa okwebuuza ku balonzi
Ono awaabye bakozi mu kakiiko ssekinnoomu okuli akakulira Eng Badru Kiggundu, omuwandiisi Sam Rwakoojo ,omwogezi w’akakiiko Jotham Taremwa n’omumyuka we Paul Bukenya
Munnamateeka wa Mbabazi Severino Twinobusingye agambye nti abantu bano babawaabye nga sekinoomu okubayigiriza nti tebalina kulemesa…
File Photo: Abo mukago gwa TDA ngabali mu kutuula lwa bwe
Ng’abavuganya bakyagenda mu maaso n’okukuta okulonda anakwata bendera yaabwe mu kulonda kw’omwaka ogujja, ababaka abamu batandise okwekengera.
Bano batudde olunaku lwajjo lwonna kyokka nebafundikira ng’era tebalonze yadde nga kati kyakakasiddwa nti olwokaano lwasigaddemu abantu babiri bokka.
Okusinziira ku babaka okuli Beatrice Anywar ,Oddo Tayebwa, ne Roland Mugume,…
File Photo: Abasilamu nga bagenda okusaala ebislolo ku Eid
Nga ebula olunaku lumu abayisiramu bakwate Eid enkulu ey’okusala ebisolo, abasuubuzi abatunda engoye z’ekiyisiramu bakaaba lwa baguzi abatalabikako.
Abasinga baayiye ekanzu ne Shariyah ku ngundo za Kampala wakati mu kulabiriza abasirikale ba KCCA.
Ku nguudo Shariyah zitandikira ku mutwalo okutuuka ku mitwaalo 3 ate nga mu maduuka ziva ku…
Omwana agwiridde nyina omuto n’amutuga katono kumutta lwakulemera mu maka ga kitaawe
Ivan Kisekka ow’emyaka 17 y’azze ku muka kitaawe Sarah Kayaga n’amutuga bw’amugwikirizza mu nyumba nga banne bagenze ku ssomero.
Kayaga asangiddwa mu ddwaliro e Mulago nga obulago buzimbye agambye nti omwana ono amulanga kulemera mu maka gaabwe nga kati myaka 3 nga kitaabwe agenze e…
File Photo: Ekizinga kye Kalangala
Obwakabaka bwa Buganda butandise okunonya bamusiga nsimbi abanakulakulanya ettaka lyokubizinga bye Funve mu disitulikiti ye Kalangala erifa otulo awatali alikolerako.
Minisita wa ssabasajja ow’ebyettaka , obulimi n’obutonde bw’esni Eng. Martin Kasekende ategezezza ga obwakabaka bwebulina ettaka eriwerako erisaana okukulakulanyizibwa.
Bino minisita Eng . Kasekende abyogedde alambula ettaka lino ne minsisita w’ebyobusuubuzi mu bwakabaka…
Abavubi ku mwalo gwe Lyabaana mu district ye Buvuma bavudde mu mbeera nebekalakaasa nga bawakanya envuba ya Early-Up ministry gyeyatongoza.
Abavubi okuva e Kiyindi bebasinga okukozesa envuba eno nga kati etuuse ne Lyabaana, abaayo gyebemulugunyako nti mbi ebuza ebyenyanja.
Bagamba abava e Kiyindi batega Mukene nenvuba eno nebakola ne ffujjo okuli okusala obutimba bwonna bwebasangawo.
Abavubi balayidde nti…
Entiisa ebutikidde abatuuze ku muluka gwe Ogul mu disitulikiti ye Gulu maama bw’atemyeko mutabaniwe ow’emwaka ogumu omutwe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo.
Betty Acan omusomesa ku ssomero lya Ogul Primary school kigambibwa nti y’akutte ejambiya n’atemako mutabaniwe Joshua Kipa omutwe mu nimiro.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema akakasizza ettemu lino n’ategeeza nga poliisi…
Ababaka ba palamenti batadde gavumenti ku ninga enyonyole lwaki eyagala kuwereza abakola emirimu gy’awaka mu ggwanga lya Saudi Arabia nga palamenti tenagikiriza.
Ababaka okuli Beatrice Anywar, Bernard Atiku ne Elijah Okupa bategezezza nga gavumenti bweyazimuula alipoota y’akakiiko ka palamenti ak’ekikula ky’abantu eyalaga nga abawala bangi oluwerezebwa mu mawanga g’abawarabu bwebakomekereza nga bakola bwamalaaya.
Ababaka bano bagamba nti…
Akakiiko k’ekibiina kya NRM ak’ebyokulonda tekayiguse ttama ku bamemba b’ekibiina abatiisatiisa okukyabulira.
Kino kiddiridde minisita omubeezi ow’ebyettaka nga era ye mubaka omukyala owa Kayunga Aidah Nantaba okutegeeza nga bweyavudde mu NRM olw’obubbi bw’obululu okweyolekedde mu kamyufu k’abakulembeze b’ekibiina ku disitulikiti gyebamumegedde.
Nantaba y’alangiridde nga bw’agenda okwesimba ku ky’omukiise omukyala nga atalina kibiina mu kulonda kw’omwaka ogujja.
Wabula nga…