Omukubiriza w’olukiiko lw’eggwanga olukulu Rebecca Kadaga mwenyamivu olwa gavumenti okulwawo okwanja amateeka g’ebyokulonda okukubaganyizibwako ebirowoozo.
Nga agulawo olutuula olw’enjawulo okuteesa ku tteeka ly’ebyokulonda, ategezezza nga bwebali mu kupakuka ku tteeka lino kale nga gavumenti esaanye obutanyooma mirimu gya palamenti.
Sipiika agambye ababaka mu kiseera kino bali mu kunonya kalulu kale nga okubayita okujja ate okuteesa kitataganya enteekateeka…
File Photo: Police nga ekola ogwayo
Entiisa ebutikidde abatuuze ku muluka gwe Ogul mu disitulikiti ye Gulu maama bw’atemyeko mutabaniwe ow’emwaka ogumu omutwe omulambo n’agusuula mu kabuyonjo.
Betty Acan omusomesa ku ssomero lya Ogul Primary school kigambibwa nti y’akutte ejambiya n’atemako mutabaniwe Joshua Kipa omutwe mu nimiro.
Omwogezi wa poliisi mu bitundu bya Aswa Jimmy Patrick Okema akakasizza…
Omubaka wa Makindye West Hussein Kyanjo yenyonyoddeko ku by’okusimbawo mutabani we okudda mu kifo kye oluvanyuma lw’okulangirira nti ye tadda.
Gyebuvuddeko Kyanjo y’alagayo mutabaniwe Farouk Kyanjo naye ow’ekibiina kya JEEMA nga agenda okumuddira mu bigere ku bukiise bwa Makindye West.
Kyanjo agamba y’asoose kwebuuza ku bakulu mu kitundu n’ekibiina kye nebakkanya asimbewo mutabaniwe.
Kyanjo yu’omu ku banabyabufuzi abazze…
Entiisa ebuutikidde abatuuze ku kyalo Nkomangani mu Kyegegwa abaana 3 ababadde bagenze okusima Kamuuje wansi bwebabuutikiddwa ettaka omu n'afirawo.
Poliisi okuva e Kyegegwa ng'eyambibwako abatuuze basobodde okusimayo omulambo gw’omwana ono ategerekese nga SsandeMuseveni Sande ow'emyaka 14.
Kitaawe w’omwana ono Puluvisi Gamukama ategezeezza nga mutabani we bweyagaana okusoma 'natandika okupakasa ku kyalo nga okufa kwa mutabani we kumukubye…
Olwokaano lw’anakwatira omukago gw’ebibiina ebivuganya gavumenti gusigaddemu abantu babiri bokka.
Ssenkaggale w’ekibiina kya DP Nobert Mao n’eyali omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga Gilbert Bukenya bazze ebbali nebalekera DR Kiiza Besigye ne Amama .
Kaakati omwogezi w’omukago guno era akulira oludda oluvuganya gavumenti Wafula Oguttu agamba olwaleero bakwevumba akafubo wakati wa Besigye ne Mbabazi okulonda anakwatira omukago guno bendera.
Abesimbyewo abana…
Kkampuni eyazimba ekifo ekiwummulirwaamu okumpi ne kkanisa ya watoto eyagala KCCA egisasule obuwumbi musatu n’ekitundu lwakumenya ndagaano.
Kkampuni eno emanyiddwa nga Jevi Media Solutions Ltd egamba nti KCCA yagiwa omulimu mu mwaka 2012 , bano baali balina okufuna ensimbi eziva mu birango ebissibwa ku kifo kino kyokka nga ssi bweguli.
Kkampuni eno egamba nti yadde yamala emirimu,…
Mu ggwanga lya Kenya namasomero gaggaddwa nga ensonga za musaala gwa basomesa
Abasomesa kati babadde bamaze ssabbiiti ssatu nga tebasomesa nga bagaala kubongeza musaala.
Kooti mu ggwanga lino yalagidde nti abasomesa bongezebwe omusaala n’ebitundu 50 ku kikumi kyokka nga gavumentie gamba nti tewali ssente
Omukulembeze w’eggwanga lino Uhuru Kenyatta yategeeza dda ng’abasomesa bano bwebasasulwa obulungi ng’okubongeza kujja kukosa…
Ebadde ntiisa omusajja bw’atomedde nyina n’amuttira ewaka
Ekikangabwa kino kibadde ku kyaalo Kakutu mu disitulikiti ye Kibuku
Ayogerera poliisi mu bitundu bye Bukedi Michael Odongo ategeezezza nga Adam Mulabbi bw’akoonye nyina w’emyaka 70 ategerekese nga Hajati Aziza Nisemba.
Omusajja ono kigambibwa okuba nti abadde atuuse ewaka n’asimba emmotoka era n’avaayo okujja ebintu mu buutu kyokka nga tataddeemu buleeki…
Eyesimbyewo ku bukulembeze bw’eggwanga Venansius Baryamureeba akomezzaawo foomu ng’akungaanyizza emikono okuva mu disitulikiti 78
Wabula ono asanze obuzibu bwa maanyi olw’ebyuma ebiraga ensimbi ezisasuddwa okufa
Omuntu yenna okwekakasibwa mu lwokaano lw’omukulembeze w’eggwanga alina okuleeta emikono okuva mu distulikiti 75 n’okuwaayo obukadde munaana
Wabula Baryamureeba taweereddwa alisiiti yakuwaayo nsimbi zino olw’ebyuuma ebibabadde bitakola nga biraga nsimbi nfu
Ono nno agambye…
Meeya wa divizoni ye Kawempe Mubarak Munyagwa kyaddaaki ayimbuddwa
Munyagwa yakwatibwa n’aggalirwa poliisi ye Kabalagala oluvanyuma lw’okufuna amawulire nti ono yajja ku mugagga Francis Kakumba obukadde 60 ng’amusuubizza nti wakukozesa ekifo kye okumulonda ng;akulira olukiiko lwa disitulikiti e Kawempe.
Omwogezi wa poliisi Fred Enanga agamba nti munyagwa bamukozesezza sitatimenti , era nga kwebaggya okusinziira okunonyereza.
Enanga agamba nti…