Olwali
Ekitanda ekizuukusa akiriko kizze
Mu ggwanga lya Bungereza , waliwo ekitanda ekikoleddwa nga kino kikukasuka n’ogwa wansi ssinga obudde bw’okuzukuuka butuuka. Omusajja ayiiyiza ekitanda kino afulumizza akatambi ng’ekitanda kino nga kino kiriko akadde akavuga olwo nekikasuka akiriko.
Akyaaye mukyala we lwakubeera mubi
Omusajja alabye mukyala we nga teyekozeeko asazeewo bawukane. Omusajja ono takomye awo , omukazi ono agenda na kumuwaabira mu kkooti lw’okumubuzabuuza nti mulungi kyokka nga mubi. Bino biri mu ggwanga lya Australia, omusajja gy’abadde yakakuba mukyala we empeta kyokka mu kuzuuka ku makya , eriiso […]
Mubeere n’emikwano- kunonyereza
Obadde okimanyi nti emikwano gy’obeera nagyo giyinza okukuyamba okuwangaalira ku nsi. Kati bannasayansi bazuddenti omuntu gyakoma okubeera n’emikwano emisanyufu awangaala kubanga taba na budde bwewunika. Kyokka era bano bagamba nti ate emikwano bwegisisinkana mu bibinja gisanyuka era abantu abo bawangaala
Ajjiddeyo omupoliisi ebbeere akwatiddwa
Waliwo omukyala aggaliddwa lwakutulugunya mupoliisi ng’akozesa amabeere ge Omukyala ono Lai-ying ow’emyaka 30 okuva mu HongKong aggyeeyoa mabeere n’agalaga omupoliisi abadde amukutte mu ngeri gy’okumugulirira. Omupoliisi ono abadde agezaako okukwata omukazi ono akuttemu bbeere.
Aleese amaalo ku ggaali akwatiddwa
Omusajja eyemakulidde mu ggaali y’omukka n’atandika okukyaginga essimu mu ggaali empingi y’eramudde Bino bibadde mu kibuga London Omusajja ono agguddwaako misango gyakutatagaanya masanyalaze ga ggali ya mukka
Ono laavu emuyisa bubi
Waliwo omusajja akwatiddwa ng’ono ayiiridde mukyala we supu ayokya olwo n’amusiba ng’abadde ayagala kumuvumbika mu Oven. Joseph Anthony okuva mu kibuga Sandy asoose kufumita mukyala we biso, okumukuba ebikonde n’ensambaggere kko nokumufumita akaso mu lubuto Ekinyizizza omusajja ono mukyala we butagenda kumukyalirako ku mulimu gy’akolera […]
Abadde yemala eggoga akoze akabenje
Omukyala abadde ali mu kwemalako ejjakirizi ng’akozesa obusajja obujingiire akoze akabenje. Omukyala ono ali mu myaka nga 30 ng’abadde ayambadde enkunamyo atandise mpola okwekwatirira era ekiddiridde kusokooloya ekipiira kye ky’akozesa okwemalako ejjakirizi Bino byonna bikwatiddwa ku kamera
Akavubuka kafunye essomo
Omusajja ayise akavubuka nekamwanukula nga kamuvuma aguze ssabbuuni n’akanaaza mu kamwa ng’agamba nti kasusse Omusajja ono enzaalwa ye Bungereza akaana k’awadde essomo ka myaka mukaaga Wetwogerera nga naye awerennemba nga misango gyakutulugunya bbujje
Basibiddwa myaka 2 lwakwegadanga
Omusajja akaligiddwa emyaka ebiri mu kkomera lwakunyumiza kaboozi mu maaso g’omwana ow’emyaka 3 Jose Caballero ow’emyaka 40, Elissa Alvarez, 21, omukwano gwabalinnye okukkakkana nga bazze mu bigwo mu maaso g’ebbujje Bano baabadde ku lubalama lw’enyanja era ng’abakutte akatambi nebakawa poliisi beebavuddeko omusajja ono ne muganzi […]
Omukwano guberabizza omwana
Abazadde abagenze ku lubalama lw’enyanja n’omwana bamwelabidde n’asengejjera ku mazzi. Omwana ono ow’emyezi 10 abadde mu kibaya nga kino kyekirengeddwa abantu nga kisengejjera ku mazzi nebakigoberera okusanga nga mulimu omwana. Abazadde mu kubanoonya babasanze bali mu mukwano omuzibu ku lubalama lw’enyanja nga bweboota musana […]