Amawulire
Omusango gw’omuserikale eyatulugunya bannamawulire gwongezeddwayo
Okuwulira omusango gw’omuserikale wa poliisi avunanibwa okutulugunya bannamawulire kwongezeddwayo okutuusa nga February 4th.
Joram Mwesigye nga y’aduumira poliisi ya Old Kampala amakya galeero alabiseeko maaso g’omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Sanyu Mukasa wabula munnamateeka wa gavumenti Lilian Omara n’ategeeza kkooti nga omujulizi omukulu bw’akayaali mu ddwaliro ly’e Nsambya gy’akyajanjabibwa.
Mwesigye agambibwa okukkakkana ku munnamawulire Andrew Lwanga n’abalala nga bakwata amawulire g’abavubuka abekalakaasa n’abawuttula wali ku Namirembe Road.